Ekyabalamuzi 6:1-40 LGCB2014 - Bible AI

1Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda. Nʼabawaayo mu mikono gyʼAbamidiyaani[6] okumala emyaka musanvu.

2Abayisirayiri ne batulugunyizibwa nnyo Abamidiyaani. Kyebaava beesimira empuku ne beetoolooza ebibuga byabwe agasenge.

3Buli Abayisirayiri lwe baasiganga ensigo, Abamidiyaani, Abamaleki nʼabantu abʼebuvanjuba ne babalumbanga.

4Ne basiisira mu nsi eyo, ne bazikiriza ebirime byonna okutuusiza ddala e Gaaza. Ne bawemmenta endiga, ente, endogoyi era tebaalekera Bayisirayiri kantu konna.

5Kubanga baayiikanga ngʼenzige mu bungi nga tebabalika. Nga bajja nʼeweema, ente, nʼeŋŋamira zaabwe. Bwe batyo ne bazikiriza ensi.

6Abayisirayiri baajeezebwa nnyo Abamidiyaani, Abayisirayiri kyebaava balaajaanira Mukama Katonda.

7Awo Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama olwʼAbamidiyaani, Mukama,

8nʼatumira Abayisirayiri Nnabbi, nʼabagamba nti, “Mukama Katonda wʼAbayisirayiri agamba bwʼati, ‘Nabakulembera okuva mu Misiri, ne mbaggya mu nnyumba eyʼobuddu,

9ne mbanunula okuva mu mikono gyʼAbamisiri, ne mu mikono gyʼabo bonna abababonnyabonnyanga ne mbafuumuula ku lwammwe era ne mbawa mmwe ensi yaabwe;

10ne mbagamba nti Nze Mukama Katonda wammwe, temussanga kitiibwa mu bakatonda bʼAbamoli, bannannyini nsi gye mubeeramu; naye mmwe temugondedde ddoboozi lyange.’ ”

11Malayika wa Mukama Katonda nʼajja mu Ofula, nʼatuula wansi wʼomuti Omwera ogwali ogwa Yowaasi owʼomu ssiga lya Abiezeri: ne mutabani we Gidyoni yali akubira eŋŋaano mu ssogolero alyoke agikweke Abamidiyaani.

12Malayika wa Mukama Katonda nʼamulabikira, nʼamugamba nti, “Ggwe omusajja omulwanyi namige. Mukama ali wamu naawe.”

13Gidyoni nʼabuuza nti Ayi Mukama wange, obanga Mukama ali wamu naffe, kale lwaki bino byonna bitutuuseeko? Ebyʼamagero ebyʼekitalo bajjajjaffe bye baatubuulirako nti Mukama yatuggya mu Misiri, byo biruwa? Naye Kaakano Mukama Katonda atwabulidde era atuwaddeyo mu mikono gyʼAbamidiyaani.

14Mukama Katonda nʼamukyukira nʼagamba nti, “Ggenda nʼamaanyigo gʼolina, onunule Abayisirayiri mu mikono gyʼAbamidiyaani: si nze nkutumye?”

15Nʼamuddamu nti, “Ayi Mukama wange, nnyinza ntya okununula Abayisirayiri? Kubanga essiga mwe nva lye lisinga okunyoomebwa mu kika kya Manase ate nze nsembayo obuto mu maka ga kitaffe.”

16Mukama nʼamugamba nti, “Ndibeera wamu naawe, era olifufuggaza Abamidiyaani ngʼolinga akuba omuntu omu.”

17Gidyoni nʼamuddamu nti, “Obanga nsiimiddwa mu maaso go mpa obukakafu nga ddala ggwe wuuyo ayogera nange.

18Nkwegayiridde, tova wano, ka ŋŋende nkuleetere ekirabo kyange nkiteeke mu maaso go.” Mukama nʼagamba nti, “Kale kambeere wano okutuusa lwʼonookomawo.”

19Gidyoni nʼayingira mu nju ye, nʼatta omwana gwʼembuzi nʼateekateeka nʼemigaati egitazimbulukuswa ngʼakozesa kilo abiri ezʼobuwunga bwʼeŋŋaano. Ennyama nʼagiteeka mu kibbo; ne guleevi waayo ne bamussa mu kibya, nʼabimuleetera wansi wʼomwera nʼabimuwa.

20Naye malayika wa Mukama nʼamulagira nti, “Ddira ennyama nʼemigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino obifukeko guleevi.” Gidyoni nʼakola bwʼatyo.

21Awo malayika wa Mukama Katonda nʼakoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa nga yeeyambisa omuggo gwe yalina. Omuliro ne guva mu jjinja ne gububuuka ne gwokya ennyama nʼemigaati egitazimbulukuswa byonna ne bisaanawo. Amangwago malayika wa Mukama nʼabulawo.

22Gidyoni nʼategeera ngʼoyo abadde malayika wa Mukama; Gidyoni nʼagamba nti Zinsanze, Ayi Mukama Katonda, kubanga tulabaganye ne malayika wa Mukama maaso ku maaso.

23Naye Mukama Katonda nʼamugamba nti, “Emirembe gibe ku ggwe tootya tojja kufa.”

24Gidyoni nʼazimbira Mukama Katonda ekyoto mu kifo ekyo; nʼakituuma erinnya Yakuwasalumu (Mukama gyʼemirembe); nʼokutuusa kaakano kikyaliyo mu Ofula ekyʼabʼomu ssiga lya Abiezeri.

25Ekiro ekyo Mukama Katonda nʼagamba Gidyoni nti, “Mmennya ekyoto kwe basinziza Baali, ofuneyo ente eya sseddume ensava eddirira esinga obulungi okuva mu kiraalo kya kitaawo; otemeeteme ekifaananyi ekibajje ekya Asera ekiriraanye ekyoto kya Baali:

26mu kifo ekyo kungulu ozimbireko Mukama Katonda wo ekyoto mu nzimba entuufu eyalagirwa, oddire ente eyo eya sseddume gyʼoggye mu kiraalo kya kitaawo ogiweeyo ngʼekiweebwayo ekyokebwa ngʼogyokya nʼebibajjo byʼekifaanannyi kya Asera.”

27Awo Gidyoni nʼatwala kkumi ku baddu be, nʼakola nga Mukama Katonda bwe yamulagira, naye kino yakikola kiro olwʼokutya abʼomu nju ya kitaawe nʼabantu abalala abʼomu kibuga.

28Abantu bʼomu kibuga baagenda okugolokoka ku nkya mu makya, nga ekyoto kwe baasinzizanga Baali kimenyeddwamenyeddwa, nʼekifaananyi kya Asera ekyakiri okumpi nga nakyo kitemeddwatemeddwa, nʼente eya ssava ngʼeweereddwayo ku kyoto ekiggya.

29Ne beebuuza nti ani akoze kino? Awo bwe babuuliriza, ne bategeezebwa nti Gidyoni mutabani wa Yowaasi yʼakikoze.

30Abantu bʼomu kibuga ne bagamba Yowaasi nti, “Ffulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyeemenye ekyoto kwetusinziza Baali; ate era nʼatemaatema nʼekifaananyi kya Asera ekibadde kikiriraanye.”

31Yowaasi nʼaddamu ekibinja kyʼabantu abaali bamulumbye nti, “Mwagala kulwanirira Baali? Mwagala kuwagira bigendererwa bye? Omuntu yenna ayagala okumulwanirira wakuttibwa nga obudde tebunakya; obanga ddala Baali ye Katonda, yerwanirire yekka, kubanga ekyoto kye kyamenyeddwamenyeddwa.”

32Okuva ku olwo Gidyoni ne bamukazaako erya Yerubbaali ekitegeeza nti, “Baali amulwanyise.” Kubanga yamenyaamenya ekyoto kya Baali.

33Awo Abamidiyaani, Abamaleki nʼabantu bʼebuvanjuba ne beegatta bonna ne basomoka omugga Yoludaani ne basiisira mu kiwonvu kyʼe Yezuleeri.

34Omwoyo wa Mukama Katonda nʼakka ku Gidyoni; nʼafuuwa ekkondeere ngʼayita abʼessiga lya Abiyezeeri bamugoberere.

35Nʼatuma ababaka eri abʼekika kya Manase nabo bamugoberere. Nʼatuma nʼababaka abalala eri abʼekika kya Aseri, nʼekya Zebbulooni nʼekya Nafutaali bamusisinkane.

36Awo Gidyoni nʼagamba Katonda nti, “Obanga olinunula Abayisirayiri ngʼoyita mu nze nga bwe wasuubiza,

37ka nteeke ebyoya byʼendiga mu kifo awakubirwa eŋŋaano; bwe binaatoba omusulo naye ngʼettaka eribyetoolodde lyo kkalu, ne ndyoka nkakasa ddala ngʼolinunula Abayisirayiri ngʼoyita mu nze nga bwe wasuubiza.”

38Ddala bwe kityo bwe kyali; kubanga Gidyoni bwe yagolokoka enkeera mu makya ebyoya byʼendiga nʼabikamulamu omusulo ne muvaamu ekibya kiramba ekyʼamazzi.

39Gidyoni nʼagamba Katonda nti, “Nkwegayiridde tonsunguwalira, kankusabe obukakafu omulundi omulala gumu gwokka. Ku luno njagala ebyoya byʼendiga bye biba bibeera ebikalu, ettaka eribyetoolodde litobe omusulo.”

40Ekiro ekyo Katonda nʼakola nga Gidyoni bwe yamusaba, ebyoya byʼendiga ne biba bikalu, lyo ettaka eribyetoolodde ne litoba omusulo.