1Awo Gidyoni gwe baakazaako erya Yerubbaali, ne be yali nabo bonna, ne bakeera mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi; Olusiisira lwa Bamidiyaani lwali mu bukiika obwa kkono mu kiwonvu, kumpi nʼolusozi Mole.
2Mukama Katonda nʼagamba Gidyoni nti, “Abalwanyi bo basusse obungi; nze sibaganye kuwangula Abamidiyaani, Abayisirayiri baleme okwennyumiriza nti amaanyi gaabwe ge gabawanguzza.
3
4Mukama Katonda nʼagamba Gidyoni nti, “Era abalwanyi bo bakyasusse obungi, baserengese ku mugga, eyo gye naabayunguliramu abasaanidde okugenda naawe nʼabatasaanidde.”
5Awo Gidyoni nʼaserengesa abalwanyi ku mugga, Mukama Katonda nʼamugamba nti, “Buli mulwanyi anaasena amazzi nʼengalo ze era nʼaganywa ngʼembwa mwawule okuva mu abo abanaafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa ne banywa.
6Abo bonna abaasena amazzi nʼengalo zaabwe ne baganywa ngʼembwa baali ebikumi bisatu, naye abalala bonna baafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa okunywa.”
7Mukama Katonda nʼagamba Gidyoni nti, “Nzija kubanunula era mbawe nʼobuwanguzi ku ba Midiyaani nga nkozesa abalwanyi ebikumi ebisatu abaanywedde amazzi ngʼembwa, naye abo bonna abasigaddewo bagambe beddireyo ewaabwe.”
8Awo Gidyoni nʼasigaza abalwanyi be ebikumi ebisatu, bali abalala nʼabakuŋŋaanyaako emmere nʼamakondeere gaabwe, nʼabalagira ne beddirayo ewaabwe.
9Ekiro ekyo Mukama Katonda nʼamulagira nti, “Situkiramu olumbe eggye lyʼAbamidiyaani mu lusiisira kubanga mbawaddeyo mu mikono gyo.
10Naye obanga otya okubalumba genda ne Pula omuweerezaawo:
11era bwʼonoowulira bye boogera onoofuna obuvumu okubalumba. Gidyoni nʼomuweereza we Pula ne basemberera olusiisira lwʼAbamidiyaani.”
12Abamidiyaani, Abamaleki nʼAbamawanga amalala agʼebuvanjuba abaali mu kiwonvu, mu bungi baali ngʼenzige; era nʼeŋŋamira zaabwe mu bungi, nga ziri ngʼempeke zʼomusenyu oguli ku lubalama lwʼennyanja.
13Gidyoni aba atuuka bwʼati ku lusiisira nʼawulira omukuumi ngʼategeeza munne ekirooto nti, “Naloota nga omugaati gwa sayiri guyiringise, gutomedde eweema ne yevuunika.”
14Munne nʼamuddamu nti, “Ekyo si kirala wabula kitala kyʼomusajja Omuyisirayiri Gidyoni mutabani wa Yowaasi. Era oyo Katonda amuwadde obuwanguzi ku ba Midiyaani nʼeggye lyaffe lyonna.”
15Gidyoni bwe yamala okuwulira ekirooto ekyo nʼamakulu gaakyo, nʼavuunama nʼasinza Mukama Katonda; era nʼaddayo mu lusiisira lwʼAbayisirayiri nʼabalagira nti, “Musitukiremu; kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku ggye lyʼAbamidiyaani.”
16Awo Abasajja bali ebikumi ebisatu nʼabawulamu ebibinja bisatu, buli omu ku bo nʼamukwasa ekkondeere nʼensuwa ngʼerimu ekitawuliro.
17Nʼabagamba nti, “Munnekalirize, bwe tunaaba tunaatera okutuuka ku lusiisira buli kyennaakola nammwe nga mukikola.
18Nze nʼabo benaabeera nabo, bwe tunaafuuwa amakondeere gaffe, nammwe ne mufuuwa agammwe, ne muleekaanira waggulu nti, ‘Ku lwa Mukama Katonda ne ku lwa Gidyoni.’ ”
19Eyo mu ttumbi nga Abamidiyaani baakajja bakyuse ekibinja kyʼabakuumi, Gidyoni nʼabalwanyi ekikumi be yali nabo, ne basemberera olusiisira, ne bafuuwa amakondeere, ne baasa nʼensuwa ze baali bakutte.
20Ebibinja ebirala nabo ne bafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa zaabwe, ne bakwata ebitawuliro mu mikono gyabwe egya kkono, nʼamakondeere mu mikono gyabwe egya ddyo, ne bafuuwa nga bwe baleekaanira waggulu nti “Ekitala kya Mukama Katonda era nʼekya Gidyoni.”
21Buli mulwanyi nʼayimirira mu kifo kye okwetooloola olusiisira: eggye lyonna eryʼAbamidiyaani ne bafubutuka nga bwe baleekaanira waggulu.
22Awo amakondeere ebikumi ebisatu bwe gaafuuyibwa, Mukama Katonda nʼatabulatabula Abamidiyaani ne battiŋŋana bokka na bokka nʼebitala byabwe era nʼeggye lyabwe lyonna ne lifubutulwa okutuukira ddala e Besusitta okwolekera e Zerera, era nʼokutuukira ddala Aberumekola okumpi ne Tabbasi.
23Abalwanyi ba Isirayiri bonna okuva mu kika ekya Nafutaali nʼekya Aseri nʼekya Manase, ne bakoowoolebwa okuwondera Abamidiyaani.
24Gidyoni nʼasindika ababaka okubuna ekitundu kyonna ekya Efulayimu ekyʼensozi: babalagire nti, “Muserengete era muwondere Abamidiyaani, mubasooke okwekwata omugga Yoludaani era nʼenzizi okutuukira ddala e Besubata.”
25Ne bawamba Olebu ne Zeebu bombi abalangira ba Midiyaani; Olebu ne bamuttira ku lwazi olumanyiddwa nga “Olwazi lwa Olebu” ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero erimanyiddwa nga “essogolero lya Zeebu”, ne bongera okuwondera Abamidiyaani. Omutwe gwa Olebu nʼogwa Zeebu, Gidyoni ne bagimusanza emitala wa Yoludaani.