Ekyabalamuzi 8:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Awo abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watuyisa bwʼotyo, nʼototuyita bwe wagenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bamunenya nnyo.

2Naye nʼabaddamu nti, “Kiki kye nkoze okugeraageranya nammwe kye mukoze? Amakungula ga Efulayimu tegasinga ezabbibu Abiyezeeri zʼakungudde?

3 Katonda yagabula Olebu ne Zeebu abakulembeze ba Midiyaani mu mukono gwammwe. Kiki kye nandiyinzizza okukola okugeraageranya nammwe?” Awo bwe yabagamba ebigambo ebyo ne bakkakkana.

4Awo Gidyoni nʼabasajja be ebikumi bisatu, nga bakooye, naye nga bakyabawondera, ne batuuka ku Yoludaani ne basomoka.

5Nʼagamba abasajja abʼomu Sukkosi nti, “Muwe ku basajja bange, ekyokulya, bakooye. Mpondera Zeba ne Zalumunna bakabaka ba Midiyaani.”

6Naye abakungu abʼomu Sukkosi ne bamuddamu nti, “Eggye lyo limaze okuwamba Zeba ne Zalumunna tulyoke tubawe emmere?”

7Awo Gidyoni nʼabaddamu nti, “Kale olwʼekyo kye muŋŋambye, Mukama Katonda bwʼaligabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ndiyuza emibiri gyammwe nʼamaggwa agʼomu ddungu nʼemyeramannyo.”

8Bwe yava eyo, nʼayambuka nʼalaga e Penieri[7], nʼabasaba ekintu kye kimu. Naye abantu bʼe Penieri ne bamuddamu ngʼabasajja abʼomu Sukkosi bwe bamuddamu.

9Kyeyava agamba abantu bʼe Penieri nti, “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyaamenya omunaala guno.”

10Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli nʼeggye lyabwe eryʼabasajja ngʼomutwalo gumu nʼekitundu, nga be bantu abaasigalawo ku ggye lyonna eryʼabantu abʼobuvanjuba. Abasajja ngʼemitwalo kkumi nʼebiri abaasowolanga ebitala be baali bafudde.

11Awo Gidyoni nʼayambukira mu kkubo lyʼabo ababeera mu weema ku luuyi olwʼebuvanjuba olwʼe Noba nʼe Yogubeka nʼalumba eggye nga teritegedde.

12Zeba ne Zalumunna ne badduka, naye nʼabawondera, era nʼawamba bakabaka bombi aba Midiyaani, nʼawangulira ddala eggye lyabwe lyonna.

13Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi nʼakomawo okuva mu lutalo ngʼayitira mu Lukuubo lwa Keresi.

14Nʼasangiriza omuvubuka owʼoku bantu abʼomu Sukkosi, nʼabaako byʼamubuuza. Omuvubuka nʼamuwandiikira amannya gʼabakungu abʼomu Sukkosi, abakadde nsanvu mu musanvu.

15Gidyoni nʼalyoka ajja eri abasajja abʼomu Sukkosi nʼabagamba nti, “Zeba ne Zalumunna baabo be mwasinzirako okundulira nga muŋŋamba nti, temuyinza kuwa basajja bange abaali bakooye mmere, nga sirina Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange.”

16Nʼakwata abakadde bʼekibuga nʼaddira amaggwa agʼomu ddungu nʼemyeramannyo nʼabonereza abasajja abʼomu Sukkosi.

17Nʼagenda nʼe Penieri nʼamenyaamenya omunaala gwa Penieri, nʼatta nʼabasajja bʼomu kibuga.

18Nʼalyoka abuuza Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne bamuddamu nti, “ggwe nga bwʼoli nabo bwe baali. Buli omu yali afaanana abalangira.”

19Nʼabaddamu nti, “Abo baali baganda bange, abaana ba mmange. Mukama Katonda nga bwʼali omulamu, singa mwabalekawo, sandi basse mmwe.”

20Awo nʼagamba Yeseri mutabani we omubereberye nti, “Golokoka obatte.” Naye omuvubuka oyo nʼatasowolayo kitala kye okubatta. Yatya kubanga yali akyali mulenzi bulenzi.

21Zeba ne Zalumunna ne boogera nti, “Ggwe jjangu otutte, kubanga ngʼomusajja bwʼali, nʼamaanyi ge bwe genkana. Gidyoni nʼagolokoka nʼatta Zeba ne Zalumunna, nʼatwala nʼebyali bitimbiddwa mu bulago bwʼeŋŋamira zaabwe.”

22Awo abantu ba Isirayiri ne bagamba Gidyoni nti, “Tufugire ddala ggwe ne mutabani wo, kubanga otulokodde okuva mu mukono gwa Midiyaani.”

23Naye Gidyoni nʼabaddamu nti, “Nze sijja kubafuga, so ne mutabani wange tajja kubafuga, wabula Mukama yʼanaabafuganga.”

24Gidyoni nʼabagamba nti, “Mbasaba ekintu kimu; buli omu ku mmwe ampe empeta ze yanyaga ku Bayisimayiri.”

25Ne bamuddamu nti, “Okuzikuwa tujja kuzikuwa.” Ne bayalirira olugoye wansi, buli omu nʼateekako empeta ze yanyaga.

26Obuzito bwʼempeta eza zaabu ne buba sekeri lukumi mu lusanvu (nga kilo kkumi na mwenda nʼekitundu), obutabalirako bya kwewoomya, ebirengejja, nʼebyambalo ebya ffulungu, ebyayambalwanga bakabaka ba Midiyaani, nʼemikuufu egyateekebwanga mu bulago bwʼeŋŋamira zaabwe.

27Awo Gidyoni nʼaddira zaabu nʼamusaanuusa nʼamukolamu ekifaananyi ekyʼekkanzu (efodi), nʼakiteeka mu kibuga kye Ofula. Abayisirayiri bonna ne bakivuunamiranga ne bakisinzanga, era ne kifuukira Gidyoni nʼenju ye yonna omutego.

28Awo Midiyaani nʼewangulwa abaana ba Isirayiri, era nʼetaddayo kubalumba. Ensi nʼeba nʼemirembe okumala emyaka amakumi ana, Gidyoni gye yabalamula.

29Yerubbaali ye Gidyoni mutabani wa Yowaasi, nʼaddayo ewaabwe.

30Gidyoni yazaala abaana aboobulenzi nsanvu mu bakazi abangi be yalina.

31Nʼomuzaana we owʼomu Sekemu yamuzaalira omwana wabulenzi, era nʼamutuuma Abimereki.

32Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi nʼafa, ngʼakaddiye bulungi, nʼaziikibwa mu ntaana ya kitaawe Yowaasi mu Ofula ekyʼAbabiezeri.

33Gidyoni nga yʼakafa, abaana ba Isirayiri ne bakyuka okusinza babaali ne bafuula Baaluberisi[8] katonda waabwe.

34Abaana ba Isirayiri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe eyabalokola okuva mu mukono gwʼabalabe baabwe bonna ku njuyi zonna.

35Ne batalaga kusiima eri abʼenju ya Yerubbaali, ye Gidyoni, olwʼebirungi byonna bye yakolera Isirayiri.