1Abimereki mutabani wa Yerubbaali nʼagenda e Sekemu eri baganda ba nnyina nʼeri abʼekika bonna, abʼennyumba ya kitaawe, nʼennyumba ya nnyina nʼabagamba nti,
2“Mubuuze kaakano ngʼabatuuze bʼe Sekemu bonna bawulira nti, ‘Kiki ekisingako obulungi? Batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu okubafuganga oba omuntu omu yʼaba abafuganga?’ Mujjukire nti ndi wa musaayi gwammwe.”
3Awo baganda ba nnyina ne bategeeza abatuuze bʼe Sekemu ebintu ebyo byonna. Abʼe Sekemu ne basalawo okugoberera Abimereki nga bwe bagamba nti, “Muganda waffe.”
4Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza ebya sekeri nsanvu
5Nʼalaga mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula nʼaddira baganda be, batabani ba Yerubbaali nsanvu nʼabattira ku jjinja. Naye omu ku baana abo omuto ayitibwa Yosamu mutabani wa Yerubbaali, nʼadduka ne yeekweka.
6Awo abatuuze bonna abʼe Sekemu nʼe Besimiiro ne bakuŋŋaana ne batikkira Abimereki ngʼayimiridde okuliraana omuti omunene, ne bamufuula kabaka mu Sekemu.
7Awo Yosamu bwe baamugamba ebigambo ebyo, nʼalinnya ku ntikko yʼolusozi Gerizimu nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba nti, “Mumpulirize abatuuze bʼe Sekemu, Katonda alyoke abawulirize.
8Emiti gyʼagenda okulonda kabaka, ne gigamba omuzeyituuni nti, ‘Ba kabaka waffe.’
9Naye omuzeyituuni ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu amafuta agʼomuzeeyituuni agampeesa balubaale nʼabantu ekitiibwa, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’
10Awo ne giraga eri omutiini ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’
11Naye nagwo ne guddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu obuwoomi nʼekibala ekirungi, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’
12Awo ne giraga eri omuzabbibu ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’
13Naye omuzabbibu ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu wayini asanyusa balubaale nʼabantu, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’
14Awo emiti gyonna ne gigamba omweramannyo nti, ‘Jjangu obeere kabaka waffe.’
15Awo omweramannyo ne gugamba emiti nti, ‘Bwe muba nga ddala munnonda okuba kabaka wammwe, mujje mwewogome mu kisiikirize kyange. Naye bwe kitaba kityo, omuliro guve mu mweramannyo gusaanyeewo emivule gyʼomu Lebanooni.’
16“Kale nno obanga mwakola kya kitiibwa era mu mutima omulungi ne mufuula Abimereki kabaka, era bwe muba nga mwalaga obwenkanya eri Yerubbaali nʼennyumba ye, ne mumukola nga bwe kyamusaanira,
17kubanga kitange yabalwanirira, nʼawaayo obulamu bwe, nʼabawonya mu mukono gwa Midiyaani,
18naye mmwe ne mujeemera ennyumba ya kitange ne muttira batabani be nsanvu ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki omwana wʼomuddu omukazi, kabaka wʼabatuuze abʼomu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe,
19era bwe muba nga mwakola kya kitiibwa era nga mwakikola mu mutima omulungi ne muyisa Yerubbaali nʼennyumba ye bwe mutyo, kale Abimereki asanyuke, era nammwe abasanyuse.
20Naye bwe kitaba bwe kityo, omuliro guve mu Abimereki, gusaanyeewo abatuuze bʼomu Sekemu nʼabʼe Besimiiro, ate era omuliro guve mu batuuze abʼomu Sekemu ne mu Besimiiro gusaanyeewo Abimereki.”
21Oluvannyuma lwʼebyo, Yosamu nʼadduka nʼalaga e Seeri, nʼabeera eyo olwʼokutya muganda we Abimereki.
22Awo Abimereki nʼafuga Isirayiri okumala emyaka esatu.
23Katonda nʼakyawaganya Abimereki nʼabatuuze bʼomu Sekemu, ne balya mu Abimereki olukwe,
24Katonda ngʼawoolera eggwanga olwʼekikolwa ekyʼokutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, nʼomusaayi gwabwe ngʼaguteeka ku Abimereki muganda waabwe eyabatta ngʼayambibwako abatuuze bʼomu Sekemu.
25Abatuuze bʼomu Sekemu ne bassaawo abasajja ku nsozi babbenga era banyagululenga buli eyayitanga mu kkubo. Abimereki nʼategeezebwa.
26Awo Gaali mutabani wa Ebedi nʼajja ne baganda be mu Sekemu, abatuuze bʼomu Sekemu, ne batanula okumwesiga.
27Ne balaga mu nnimiro ne bakungula ezzabbibu zaabwe, ne basogola omubisi, nʼoluvannyuma ne bakola embaga mu ssabo lya katonda waabwe, ne balya ne banywa ne bakolimira Abimereki.
28Awo Gaali mutabani wa Ebedi nʼayogera nti, “Abimereki ye ani? Abʼomu Sekemu be baani okumuweereza? Si ye mutabani wa Yerubbaali, era Zebbuli si ye mumyuka we? Muweereze abantu ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu. Lwaki tuweereza Abimereki?
29Ani ayinza okumpa obuyinza okukulembera abantu bano, olwo ndyoke nziggyewo Abimereki? Era nzija kumusoomooza nga mugamba nti, ‘Kuŋŋaanya eggye lyo, otulumbe.’ ”
30Awo Zebbuli omukulu wʼekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, nʼasunguwala nnyo.
31Nʼaweereza ababaka eri Abimereki mu kyama okumugamba nti, “Laba Gaali mutabani wa Ebedi, ne baganda be bazze mu Sekemu. Basekeeterera ekibuga okukulwanyisa.
32Kaakano, ggwe jjangu mu kiro nʼabasajja bo muteegere mu nnimiro.
33Mu makya enjuba ngʼevaayo, onoogolokoka nʼolumba ekibuga. Onoomulumba ye nʼabantu abali naye abajja okukulumba, ggwe olyoke obakole ekyo omukono gwo kye guteekeddwa okukola.”
34Awo Abimereki nʼabasajja be ne bagolokoka mu kiro ne bagenda ne beekweka mu bibanja bina okumpi nʼe Sekemu.
35Gaali mutabani wa Ebedi nʼafuluma nʼayimirira mu mulyango gwa wankaaki wʼekibuga, ne Abimereki nʼabasajja be nabo ne bavaayo gye baali beekwese.
36Awo Gaali bwe yabalaba, nʼagamba Zebbuli nti, “Laba abantu nga bava ku nsozi waggulu!” Zebbuli nʼamuddamu nti, “Ebisiikirize ebyʼensozi byʼolaba ngʼabantu.”
37Naye Gaali nʼayogera nate nti, “Laba, abantu bajja nga bayitira mu muwaatwa gwʼensi, nʼekibinja ekimu kifuluma mu kkubo eryʼomwera ogwʼabafumu.”
38Awo Zebbuli nʼalyoka amugamba nti, “Biki bye wali oyogera bwe wagamba nti, ‘Abimereki ye ani ffe okumuweereza?’ Abo si be bantu be wanyooma? Kaakano genda obalwanyise.”
39Awo Gaali nʼakulembera abatuuze bʼomu Sekemu okulwanyisa Abimereki.
40Abimereki nʼamugoba, ne Gaali nʼamudduka, era bangi ne batuusibwako ebiwundu, era ne bagwa ku mulyango gwa wankaaki.
41Abimereki nʼabeera mu Aluma. Zebbuli nʼagoba Gaali ne baganda be mu Sekemu baleme kubeerangamu.
42Ku lunaku olwaddirira, Abimereki nʼategeezebwa ngʼabantu bwe bagenda okulima.
43Awo nʼaddira abasajja be nʼabaawulamu ebibinja bisatu, nʼateegera abantu mu nnimiro. Bwe yalaba ngʼabantu bafuluma ekibuga balage mu nnimiro, nʼabalumba.
44Abimereki nʼekibinja kye yali nakyo ne banguwa okuwamba omulyango gwa wankaaki wʼekibuga, ate ebibinja ebibiri byo ne byanguwa okulaga mu nnimiro ne batta abaaliyo.
45Abimereki nʼazibya olunaku olwo ngʼalwanyisa abʼomu kibuga, nʼakiwamba, nʼabaalimu nʼabatta, nʼekibuga nʼakizikiriza, nʼakiyiwamu nʼomunnyo.
46Olwawulira ebyo, abatuuze abaali mu kigo kya Sekemu, ne baddukira mu ssabo lya Eruberisi.
47Awo bwe baategeeza Abimereki nti abatuuze bʼomu Sekemu baali bakuŋŋaanidde mu kigo kya Sekemu,
48ye nʼabasajja be ne balinnya ku lusozi Zalumoni, nʼakwata embazi nʼatema ettabi nʼalyetikka ku kibegabega. Nʼalagira nʼabasajja be yali nabo ngʼabagamba nti, “Mwanguwe, mukole nga bwe nkoze.”
49Buli omu ku bo nʼatema ettabi nʼalyetikka, ne bagoberera Abimereki. Ne bagatuuma ku kigo, ne bakikumako omuliro. Abantu bonna abaali mu kigo kya Sekemu, be basajja nʼabakazi nga lukumi ne bafiiramu.
50Awo Abimereki nʼagenda e Sebezi, nʼasiisira okwetooloola ekibuga ekyo era nʼakiwamba.
51Mu kibuga ekyo mwalimu ekigo ekyʼamaanyi, era abantu bonna abasajja nʼabakazi abʼomu kibuga ne baddukira omwo ne beggaliramu. Ne balinnya ku kasolya kʼekigo.
52Abimereki nʼalumba ekigo, naye bwe yali ngʼakisemberedde, akume omuliro ku mulyango gwakyo,
53
54Amangwago Abimereki nʼagamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onzite, si ku lwa nga kinjogerwako nti nattibwa mukazi.” Omuddu we nʼamufumita ekitala nʼafa.
55Awo abantu ba Isirayiri bwe baalaba nga Abimereki afudde, buli omu nʼaddayo ewuwe.
56Katonda bwʼatyo nʼawalana eggwanga olwʼobutali butuukirivu bwa Abimereki, olwa Abimereki okutta abaana ba kitaawe, abooluganda nsanvu.
57Katonda nʼabonereza nʼabantu bʼomu Sekemu olwʼobutali butuukirivu bwabwe bwonna, nʼatuukiriza nʼekikolimo Yosamu mutabani wa Yerubbaali kye yabakolimira.