1Bino bye bigambo Musa bye yategeeza Abayisirayiri bonna nga bali ku ludda olwʼebuvanjuba wʼomugga Yoludaani mu ddungu, mu Alaba okwolekera Sufu, wakati wa Palani ne Toferi, ne Labani, ne Kazerosi ne Dizakabu.
2Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu
3Awo ku lunaku olwʼolubereberye olwʼomwezi ogwʼekkumi nʼogumu, mu mwaka ogwʼamakumi ana, Musa nʼategeeza abaana ba Isirayiri ebyo byonna Mukama bye yamulagira okubabuulira.
4Mu kiseera ekyo Musa yali amaze okuwangula Sikoni kabaka wʼAbamoli eyabeeranga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka wʼe Basani eyabeeranga mu Asutaloosi ne mu Ederei.
5Ku ludda lwʼeyo olwʼebuvanjuba olwʼomugga Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa nʼatandika okulangirira amateeka gano ngʼayogera nti:
6“Mukama Katonda waffe yatugamba nga tuli ku Kolebu nti, ‘Ebbanga lye mumaze ku lusozi luno limala;
7kale musitule mukyuke, mutambule nga mwolekera ensi eyʼensozi eyʼAbamoli, ne mu baliraanwa baabwe yonna mu Alaba, mu nsozi, ne mu bisenyi, ne mu Negebu, ne ku lubalama lwʼennyanja, ne mu nsi ya Bakanani nʼeyʼAbalebanooni, okutuukira ddala ku mugga omunene, Omugga Fulaati.
8Mulabe, ensi eyo ngibawadde. Muyingire mwetwalire ensi eyo Mukama Katonda gye yeerayirira okugiwa bajjajjammwe: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo; okugibawa bo nʼezzadde lyabwe eririddawo.’ ”
9“Mu biro ebyo nabagamba nti, ‘Sisobola kubalabirira nzekka bwʼomu.
10Mukama Katonda wammwe abongedde nnyo obungi, ne muwera nnyo; era, laba, kaakano muli ngʼemmunyeenye ezʼoku ggulu mu bungi bwammwe.
11Nsaba Mukama Katonda wa bajjajjammwe abongereko obungi emirundi lukumi okusinga nga bwe muli leero, era abawenga omukisa nga bwe yabasuubiza.
12Kale, nze obwʼomu nzekka nnaasobola ntya okwetikka omugugu gwammwe ogwo oguzitowa bwe gutyo, nʼokubamalirawo ennyombo zammwe?
13Kale nno, mwerondemu, mu buli kika kyammwe, abʼamagezi, abategeevu era abalina obumanyirivu nga bassibwamu ekitiibwa, nange nnaabakuza ne mbafuula abakulembeze bammwe.’
14Nammwe mwanziramu nti, ‘Ekintu kyʼotuteeserezza ffe okukola kirungi tukisiima.’
15“Bwe ntyo ne nzirira abakulu bʼebika byammwe, nga basajja ba magezi, abalina obumanyirivu, era abassibwamu ekitiibwa, ne mbalonda okubeeranga abakulembeze bammwe; okubanga abafuzi bʼenkumi, nʼabalala abʼebikumi, nʼabalala abʼamakumi ataano, nʼabalala abʼekkumi, mu bika byammwe byonna.
16Mu biro ebyo ne nkuutira abaabalamulanga nti, ‘Muwulirizenga ensonga ezinaabaleeterwanga abooluganda, era musalengawo mu bwenkanya wakati wʼowooluganda ne munne, era ne wakati we ne munnaggwanga gwʼabeera naye.
17Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga nʼabaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika yʼomuntu tebatiisanga, kubanga Katonda yʼasala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’
18Mu biro ebyo ne mbakuutira ebintu byonna bye musaanira okukolanga.”
19Awo ne tusitula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu eddene eryʼentiisa mwenna lye mwalaba, ne tukwata ekkubo eryatutwala mu nsi eyʼensozi eyʼAbamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tulyoka tutuuka e Kadesubanea.
20Ne mbagamba nti, “Mutuuse mu nsi eyʼensozi eyʼAbamoli, Mukama Katonda waffe gyʼatuwadde.
21Laba, Mukama Katonda wo akuwadde ensi. Kale, yambuka ogyetwalire nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba. Totya, so toggwaamu maanyi.”
22Awo mwenna ne mujja gye ndi, ne muŋŋamba nti, “Kirungi tutume abantu basooke okutuukako eyo gye tulaga, bakebere ensi bagyetegereze nga bwʼeri; balyoke bakomewo batutegeeze ekkubo lye tusaanira okukwata, nʼebibuga bye tunaggukako.”
23Ekirowoozo ekyo kyandabikira nga kirungi, ne nkisiima; ne nnonda mu mmwe abasajja kkumi na babiri; nga mu buli kika muvaamu omusajja omu omu.
24Baasitula ne bambuka mu nsi eyo eyʼensozi, ne batuuka mu kiwonvu Esukoli, ne bakiketta.
25Ne banoga ku bibala ebyʼomu nsi omwo ne babituleetera; ne batutegeeza bwe bati nti, “Ensi Mukama Katonda waffe gyʼatuwadde nnungi nnyo.”
26
27Ne mwemulugunyiriza mu weema zammwe nga mugamba nti, ‘Olwokubanga Mukama tatwagala, yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi yʼe Misiri alyoke atuweeyo mu mukono gwʼAbamoli batuzikirize.
28Wa eyo gye tunaayambuka? Ebigambo bya baganda baffe abaagenda okuketta biyongobezza emitima gyaffe, bwe bagambye nti, Abantu abali eri banene, era bawanvu okutusinga ffe; ebibuga byayo binene nnyo, nʼebigo byabyo biwanvu bituukira ddala waggulu mu bire. Ate ne batabani ba Anaki
29Naye ne mbaddamu nti, “Temutekemuka mitima, so temubatya.
30Mukama Katonda wammwe bulijjo abakulembera, ye yennyini agenda kubalwaniriranga, nga bwe yabalwanirira mu Misiri nga mulabira ddala nʼamaaso gammwe.
31Era ne mu ddungu walabira ddala nga Mukama Katonda wo bwe yakusitula, nga kitaawe wʼomwana bwʼasitula mutabani we, nʼakuyisa mu lugendo lwonna nʼokukutuusa nʼakutuusa mu kifo kino.”
32Newaakubadde ngʼebyo byonna byali bwe bityo, Mukama Katonda wammwe temwamwesiga,
33songa ye, yabakulemberanga mu lugendo lwammwe lwonna, nʼempagi eyʼomuliro ekiro, nʼekire mu budde obwʼemisana, nʼokubalaganga ekifo we munaasiisiranga.
34Mukama bwe yawulira ebigambo byammwe nʼasunguwala nnyo, nʼalayira nti,
35“Tewalibaawo nʼomu ku bantu bano, abʼomulembe guno omubi, aliraba ku nsi eyo ennungi gye nalayirira okuwa bajjajjammwe,
36okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune. Ye agenda kugiraba, era ndimugabira, awamu nʼezzadde lye, ensi gye yalinnyako ekigere kye; kubanga yagondera Mukama nʼomutima gwe gwonna.”
37Nange Mukama yansunguwalira ku lwammwe, nʼaŋŋamba nti, “Naawe toliyingira mu nsi omwo.
38Wabula omuweereza wo Yoswa mutabani wa Nuuni ye aligiyingiramu. Mumuwagire, kubanga ye alikulembera abaana ba Isirayiri ne basikira ensi eyo.
39Abaana bammwe abato be mwatiisanga nti bagenda kuwambibwa batwalibwe mu busibe, abaana bammwe abo, abaali batannayawulamu kirungi na kibi, be baliyingira mu nsi eyo. Ndigibawa, ne bagyetwalira ne bagyefunira.
40Naye mmwe, musitule mukyuke, mukwate olugendo olwʼomu ddungu nga mwolekera Ennyanja Emyufu.”
41Ne mulyoka munziramu nti, “Twonoonye eri Mukama. Tujja kwambuka tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.” Awo buli musajja ne yeesiba ebyokulwanyisa bye ebyʼolutalo, nga mulowooza nti kyangu okwambuka mu nsi eyʼensozi.
42Mukama nʼaŋŋamba nti, “Bategeeze nti, ‘Temwambuka kulwana, kubanga sijja kubeera nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’ ”
43Bwe ntyo ne mbagamba, naye ne mutawuliriza, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama, ne mujjula amalala ne mwambuka mu nsi eyʼensozi.
44Awo Abamoli abaabeeranga mu nsi eyo eyʼensozi, ne bavaayo ne babalumba, ne babagoba ngʼenjuki bwe zikola, ne babakubira mu Seyiri nʼokubatuusiza ddala e Koluma.
45Ne mukomawo, ne mukaabira mu maaso ga Mukama, naye Mukama nʼatabawuliriza era ne bye mwamukaabirira nʼatabibawa.
46Bwe mutyo ne musigala e Kadesi, okumala ebbanga eryo lyonna lye mwabeera eyo.