1
2Nzija kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka, bye wayasa; olyoke obiteeke mu Ssanduuko.”
3
4Mukama Katonda nʼawandiika ku bipande ebyo ebigambo bye yali awandiise ku bipande biri ebyasooka, ge Mateeka Ekkumi ge yali abalangiridde ku lusozi ngʼali wakati mu muliro, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako. Mukama Katonda nʼabinkwasa.
5Bwe ntyo ne nkyusa obuwufu ne nzikirira okuva ku lusozi, ebipande ne mbiteeka mu Ssanduuko gye nabajja, nga Mukama Katonda bwe yandagira, ne kaakano mwe biri.
6Abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Beeru Beneyaakani ne batuuka e Mosera. Awo Alooni we yafiira era we yaziikibwa. Mutabani we Eriyazaali nʼamusikira nʼatandika okukola emirimu gya Alooni egyʼObwakabona.
7Bwe baava awo ne batambula okutuuka e Gudugoda; bwe baava e Gudugoda ne batuuka e Yotubasa, nga mu nsi eyo mulimu emigga egyali gikulukuta amazzi.
8Mu kiseera ekyo Mukama nʼayawula ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko eyʼEndagaano ya Mukama, nʼokuyimiriranga mu maaso ga Mukama Katonda, nʼokwatulanga emikisa gye mu linnya lye, nga bwe bakyakola nʼokutuusa leero.
9Noolwekyo Abaleevi tebaafuna mugabo wadde ekitundu ekyʼobusika mu nsi ensuubize nga baganda baabwe abʼebika ebirala bwe baafuna; kubanga Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wo bwe yabagamba.
10Nabeerayo ku lusozi ne mmalayo ennaku amakumi ana, emisana nʼekiro, ngʼomulundi guli ogwasooka. Ne ku mulundi guno Mukama yampuliriza. Mukama Katonda yali tayagala kukuzikiriza.
11Mukama nʼaŋŋamba nti, “Genda okulembere abantu, bakwate olugendo lwabwe, bayingire mu nsi gye nalayirira bajjajjaabwe okugibawa, bagyefunire.”
12Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo kyʼakwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, nʼokumwagalanga, nʼokuweerezanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna nʼemmeeme yo yonna,
13nʼokugonderanga amateeka ga Mukama nʼebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olwʼobulungi bwo?
14Laba, Mukama Katonda wo ye nannyini ggulu, era nʼeggulu erisinga okuba waggulu ennyo nalyo lirye, nʼensi ne byonna ebigirimu.
15Kyokka era Katonda yakwana bajjajjaabo nʼabaagala nnyo, ne yeerondera mmwe, bazzukulu baabwe, okubeera ku ntikko yʼamawanga gonna nga bwe kiri leero.
16Noolwekyo mukomole emitima gyammwe, era mukomye okubeera nʼamawagali.
17Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wʼabakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi.
18Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ngʼabawa emmere nʼebyokwambala.
19Kale nno, mwagalenga bannamawanga kubanga nammwe mwaliko bannamawanga mu nsi eyʼe Misiri.
20Otyanga Mukama Katonda wo era muweerezenga. Munywererengako, era mu linnya lye mwʼonoolayiriranga.
21Oyo, lye ttendo lyo era ye Katonda wo, eyakukolera ebyamagero ebyo byonna ebikulu ggwe kennyini bye weerabirako nʼamaaso go.
22Bajjajjaabo bwe baaserengeta e Misiri, bonna awamu baali bawera abantu nsanvu; kaakano Mukama Katonda wo abafudde bangi nnyo ngʼemmunyeenye ezʼoku ggulu.