Ekyamateeka Olwokubiri 11:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga ebigambo bye byʼakukuutira, nʼebiragiro bye, nʼamateeka ge ennaku zonna.

2Mutegeere nga ku lunaku lwa leero soogera na baana bammwe abataamanya era abataalaba ku kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, nʼekitiibwa kye nʼomukono gwe ogwʼamaanyi, era ogwʼobukuumi;

3era abataalaba ku byamagero bye yakola nʼebintu byonna bye yakolera wakati mu Misiri, ku Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri nʼeri ensi ye yonna;

4ne bye yakola eggye lya Misiri nʼembalaasi zaalyo nʼamagaali gaalyo; era nga amaggye ago bwe yagazikiririza mu mazzi agʼomu Nnyanja Emyufu bwe gaali nga gabagoberera, nʼagamalirawo ddala nʼokutuusa leero.

5Abaana bammwe si be baalaba ebyo byonna Mukama bye yabakolera okuva nga muli mu ddungu nʼokutuuka wano mu kifo kino,

6era ne kye yakola Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, mutabani wa Lewubeeni, ettaka bwe lyayasamya akamwa kaalyo, wakati mu baana ba Isirayiri bonna, ne libamira nʼabʼomu maka gaabwe bonna, nʼeweema ezʼensiisira zaabwe zonna, ne buli kiramu kyabwe kyonna kye baalinako obwannannyini.

7Naye mmwe bennyini mwe mwabiraba nʼamaaso gammwe, ebintu ebyo ebikulu Mukama byʼazze akola.

8Noolwekyo mukwatenga amateeka gonna ge mbalagira leero, mulyoke mubeere nʼamaanyi okuyingira mu nsi gye mujja okwefunira, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani,

9bwe mutyo mulyoke muwangaalenga nga muli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa awamu ne bazzukulu baabwe, ngʼeyo ye nsi omukulukutira amata nʼomubisi gwʼenjuki.

10Kubanga ensi gyʼogenda okuyingira, ogyefunire, tefaanaana ngʼensi yʼe Misiri, gye mwava, gye wasimbanga ensigo zo nʼozifukiriranga nʼebbomba gye wasambyanga ekigere, ngʼafukirira ennimiro yʼenva.

11Naye ensi gye mugenda okwefunira nga musomose omugga Yoludaani, ye nsi eyʼensozi nʼebiwonvu, enywa amazzi gʼenkuba agava mu ggulu.

12Ye nsi Mukama Katonda wo gyʼalabirira. Amaaso ga Mukama Katonda wo gabeera ku nsi eyo bulijjo, okuva ku ntandikwa yʼomwaka okutuuka ku nkomerero yaagwo.

13Bwe munaagonderanga amateeka gano ge mbalagira leero: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, nʼokumuweerezanga nʼomutima gwammwe gwonna, nʼemmeeme yammwe yonna,

14kale, anaatonnyesanga enkuba mu nsi yammwe mu biseera byayo: enkuba eya ddumbi nʼeya ttoggo, olyoke okungulenga emmere yo eyʼempeke, weefunire ne wayini omusu nʼamafuta.

15Era anaakuzanga omuddo mu malundiro go ente zo gwe zinaalyanga; naawe onoolyanga emmere nʼokkuta.

16Mwegenderezenga nnyo, mulemenga okukyama ne mubula, ne muweerezanga bakatonda abalala era ne mubavuunamiranga.

17Kale obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirangako, nʼaggalangawo eggulu, enkuba ne tetonnyanga, nʼettaka ne litabalangako bibala, ne muzikiriranga ne muggwaawo mangu ku nsi ennungi Mukama gyʼabawa.

18Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ngʼakabonero akʼokubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe.

19Mubiyigirizenga abaana bammwe, ngʼobinyumyako bwʼonoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bwʼonoobanga otambula mu nguudo; ne bwʼonoogalamirangako, era ne bwʼonoositukanga.

20Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi,

21mmwe nʼabaana bammwe mulyoke muwangaalenga nnyo, mumale ennaku nnyingi nga ebbanga eggulu lye lirimala nga liri waggulu wʼensi, nga muli mu nsi Mukama gye yasuubiza bajjajjammwe okugibawa.

22Bwe muneegenderezanga, ne mugonderanga ebiragiro bino byonna bye mbawa okubikolanga: kwe kwagalanga Mukama Katonda wammwe, nʼokutambuliranga mu makubo ge gonna, nʼokumunywererangako;

23kale, Mukama anaagobangamu amawanga ago gonna aganaabanga mu maaso gammwe, ne mwefunira ensi zʼamawanga ago agabasinga mmwe obunene era nʼamaanyi.

24Buli we munaalinnyanga ekigere kyammwe, ekifo ekyo kinaabeeranga kyammwe; okuva ku ddungu okutuuka ku Lebanooni, nʼokuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nnyanja eyʼebugwanjuba.

25Tewaabengawo muntu nʼomu anaasobolanga okubaziyiza. Mukama Katonda wammwe aliteeka entiisa nʼekikangabwa mu bannansi bonna, buli we munaagendanga, nga bwe yabasuubiza.

26Mulabe, ku lunaku lwa leero nteeka mu maaso gammwe omukisa nʼekikolimo.

27Omukisa, bwe munaagonderanga amateeka ga Mukama Katonda wammwe ge mbalagira leero;

28ekikolimo, bwe mutaagonderenga mateeka ga Mukama Katonda wammwe, ne mukyamanga okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne mugobereranga bakatonda abalala be mwali mutamanyi.

29Mukama Katonda wo bwʼalikutuusa mu nsi gyʼogenda okuyingiramu ogyetwalire ngʼobutaka bwo obwʼenkalakkalira, omukisa oguteekanga ku lusozi Gerizimu, nʼekikolimo ku lusozi Ebali.

30Ensozi ezo ziri mitala wa Yoludaani ku ludda olwʼebugwanjuba obwʼoluguudo ngʼoyolekedde enjuba gyʼegwa, okumpi nʼemiti eminene egyʼe Mole, mu nsi yʼAbakanani ababeera mu Alaba ku miriraano gya Girugaali.

31Muli kumpi okusomoka omugga Yoludaani mwefunire ensi Mukama Katonda wammwe gyʼabawa. Bwe mulimala okugyetwalira, nga mwe mubeera,

32mwegenderezenga nnyo mugonderenga amateeka gonna, nʼebiragiro bye nteeka mu maaso gammwe leero.

>