Ekyamateeka Olwokubiri 12:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1Gano ge mateeka nʼebiragiro bye musaana okukwatanga nʼobwegendereza, nga muli mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjaabo gyʼakuwadde okubeera obutaka bwo ebbanga lyonna lye mulimala ku nsi.

2Muzikiririzanga ddala ebifo byonna ebiri ku gasozi ne ku nsozi, ne wansi wʼagati aganene,

3bannaggwanga be mugenda okutwalako ensi yaabwe gye basinziza; nʼamayinja gaabwe mugaasaayasanga, nʼempagi zaabwe eza Asera mulizimenyaamenya ne muzookya mu muliro; nʼebibajje ebya bakatonda baabwe mubitemaatemanga nʼamannya gaabwe mu bifo ebyo ne mugasanguliramu ddala.

4Mukama Katonda wammwe, ye temumusinzanga mu ngeri eyo nga bali bwe bakola.

5Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe kyʼalibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye eyʼokubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza;

6awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, nʼebitundu byammwe ebyʼekkumi, nʼebirabo ebyʼenjawulo, nʼobweyamo bwammwe, nʼebiweebwayo ebya kyeyagalire, nʼebibereberye ebyʼomu bisibo byammwe nʼebyʼomu biraalo byammwe.

7Mmwe nʼabʼomu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze nʼemikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.

8Temukolanga nga bwe tukola wano leero, nga buli omu akola nga bwʼalaba ekisaanidde,

9kubanga temunnatuuka mu kiwummulo ne mu busika Mukama Katonda wammwe bwʼabawa.

10Naye bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ne mubeera mu nsi Mukama Katonda wammwe gyʼabawa nga bwe busika bwammwe, ngʼabawadde nʼokuwummula, nga temukyataataaganyizibwa balabe bammwe abanaabanga babeetoolodde nʼokutuula ne mutuulanga mu mirembe;

11kale nno, mu kifo ekyo Mukama Katonda wammwe kyanaabanga yeerondedde okutuuzanga omwo Erinnya lye, omwo mwe munaaleetanga buli kintu kyonna kye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, nʼebiweebwayo ebirala, nʼebitundu byammwe ebyʼekkumi, nʼebirabo ebyʼenjawulo, nʼebirabo ebisinga obulungi mu bintu byammwe bye munaabanga mweyamye okuwaayo eri Mukama.

12Munaasanyukiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, nʼabaweereza bammwe abasajja, nʼabaweereza bammwe abakazi, nʼAbaleevi abʼomu bibuga byammwe, kubanga bo ku bwabwe tebalifuna mugabo oba obusika okufaanana nga mmwe.

13Weekuumanga nʼotaweerayo biweebwayo byo mu buli kifo kyonna kyʼonoolabanga.

14Obiweerengayo mu kifo ekyo ekimu kyokka Mukama kyʼanaakulonderanga okuva mu kimu ku bika byo; era omwo mwʼonookoleranga ebyo byonna bye nkulagira.

15Naye onettiranga ku bisolo ebinaabanga mu bibuga byo, oba mpeewo oba njaza, nʼolya ennyama nnyingi nga bwʼonooyagalanga, ngʼomukisa bwe guli Mukama Katonda wo gwʼanaakuwanga. Abalongoofu mu byʼemikolo nʼabatali balongoofu, bonna banaalyanga.

16Wabula omusaayi temugulyanga; munaaguyiwanga wansi ku ttaka ngʼamazzi.

17Mu bibuga byo toliirangamu kitundu ekimu ekyʼekkumi ekyʼemmere yo eyʼempeke, oba ekya wayini wo, oba ekyʼamafuta go; oba ebibereberye ebyʼomu bisibo byo nʼebyʼomu biraalo byo, oba nʼobweyamo bwo oba nʼebiweebwayo ebya kyeyagalire; wadde nʼebirabo ebitali bya bulijjo.

18Onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ekyo Mukama Katonda wo kyʼanaabanga akulondedde; ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, nʼomuweereza wo omusajja nʼomuweereza wo omukazi, nʼOmuleevi anaabanga mu bibuga byo, era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu buli kintu kyonna kyʼonoobanga okoze nʼemikono gyo.

19Weekuumanga nnyo obutalagajjaliranga Muleevi ebbanga lyonna lyʼolimala ngʼoli mulamu ku nsi.

20Mukama Katonda wo bwʼaligaziya amatwale go, nga bwe yakusuubiza, nʼoyoyanga okulya ku nnyama ngʼogamba nti, “Nandiyagadde okulya ku nnyama.” Kale, onoolyanga ennyama ennyingi nga bwʼonooyagalanga.

21Ekifo, Mukama Katonda wo kyʼanaabanga akulondedde okuteekamu Erinnya lye, bwe kinaabanga kiri wala nʼewuwo kale onooyinzanga okutta ku zimu ku nsolo ezʼomu bisibo byo ne mu biraalo byo Mukama byʼanaabanga akuwadde, nga bwe nkulagidde; era mu bibuga byo onooyinzanga okulya ennyama ennyingi nga bwʼonooyagalanga.

22Onoogiryanga nga bwʼonoolyanga empeewo nʼenjaza. Abalongoofu nʼabatali balongoofu bonna banaalyanga.

23Naye weekuumenga obutalyanga musaayi; kubanga omusaayi bwe bulamu, ate nga tekikugwaniranga kulyanga bulamu ngʼolya ennyama.

24Togulyanga; oguyiwanga wansi ku ttaka ngʼamazzi.

25Togulyanga, olyoke obeerenga mu ddembe, ggwe, nʼabaana bo, ngʼokoze ebituufu mu maaso ga Mukama.

26Naye ebintu byo ebitukuvu ne byonna byʼoneeyamanga okuwaayo, onoobiddiranga nʼobitwalanga mu kifo Mukama kyʼanaabanga akulondedde.

27Onooleetanga ebiweebwayo byo ebyokebwa, ennyama nʼomusaayi, ku Kyoto kya Mukama Katonda wo. Omusaayi gwʼebiweebwayo byo ebirala gunaafukibwanga ku Kyoto kya Mukama Katonda wo, naye ennyama onooyinzanga okugirya.

28Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, nʼabaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo.

29Amawanga ago gʼogenda okulumba ogatwaleko ensi yaabwe, Mukama agenda kugazikiriza nga naawe olaba. Naye bwʼobanga omaze okubagoba mu nsi yaabwe, nʼokugibeeramu nʼogibeeramu,

30era ngʼamawanga ago gamaze okuzikirizibwa nga naawe olaba, weekuumanga nʼotabuuliriza ku bya bakatonda baabwe ngʼogamba nti, “Abʼomu mawanga ago baasinzanga batya bakatonda baabwe, nange njagala nkole bwe ntyo?”

31Mukama Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ngʼeya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi Mukama byʼatayagala, byʼakyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.

32Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.

>