Ekyamateeka Olwokubiri 13:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mmwe bwe mulabikangamu nnabbi oba omuntu nʼakutegeeza ebyʼomu maaso nga yeeyambisa ebirooto, nʼalangirira ebyamagero oba ebyewuunyisa ebijja okubeerawo,

2era ebyamagero ebyo, oba ebyewuunyisa ebyo byʼanaabanga alangiridde ne bituukirira, nʼalyoka akugamba nti, “Ka tugoberere bakatonda abalala era tubaweerezenga” (bakatonda ggwe bʼotomanyangako),

3towulirizanga bigambo bya nnabbi oyo, oba omuloosi wʼebirooto oyo. Kubanga Mukama Katonda wammwe anaabanga abagezesa bugezesa ategeere obanga munaabanga mumwagala nʼomutima gwammwe gwonna nʼemmeeme yammwe yonna.

4Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era nʼeddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.

5Kale nno nnabbi oyo, oba omuloosi wʼebirooto oyo anattibwanga, kubanga anaabanga abasasamaza mujeemere Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi eyʼe Misiri, nʼabanunula mu nnyumba eyʼobuddu, nnabbi oyo ngʼakusasamaza, ove mu kkubo ettuufu Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bwʼotyo ekibi ekiri mu mmwe, bwʼonookimalangamu.

6Omuntu yenna, ne bwʼabanga muganda wo oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukazi wo omuganzi ennyo, oba mukwano gwo gwʼoyagala ennyo owʼokulusegere, nʼakusendasendanga mu kyama ngʼagamba nti, “Jjangu tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda ggwe bʼotomanyangako, ne bakadde bo be batamanyangako,

7bakatonda abʼabantu ababeetoolodde, abʼoku muliraano, oba abeewala, okuva ensi gyʼetandikira ne gyʼekoma,

8tomuwulirizanga, so byʼanaakugambanga tobikolanga. Tomusaasiranga era tomuzibiikirizanga wadde okumusonyiwanga.

9Omuttiranga ddala. Gwʼomusokangako ngʼattibwa nʼabantu bonna ne bassa okwo.

10Onoomukubanga amayinja nʼomutta, kubanga anaabanga agezezzaako okukukyusa akuggye ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi eyʼe Misiri mu nnyumba eyʼobuddu.

11Kale Isirayiri yonna banaakiwuliranga banaatyanga, era tewaabeerengawo mu mmwe nʼomu anaddangayo okukola ekibi ngʼekyo.

12Bwʼowuliranga mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo byʼakuwa okubeerangamu,

13nga mulimu abantu abali mu mmwe abasituse ne basikiriza abantu bʼomu kibuga kyabwe ekyo nga babagamba nti, “Ka tugende tusinze bakatonda abalala,” bakatonda be mutamanyangako,

14kale nno kikusaanira obuulirizenga nnyo ku kintu ekyo, okyekebejjenga, okyekkaanyizenga ddala. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, nga wakati mu mmwe waliwo abakoze ekintu ekibi bwe kityo,

15kale, abantu bonna abanaabeeranga mu kibuga onoobattanga nʼekitala, awamu nʼebisolo byabwe bye balunda byonna.

16Omunyago gwonna onoogukuŋŋaanyizanga wakati mu kibangirizi ekyʼomu kibuga, era onooyokyanga ekibuga kyonna nʼomunyago gwako nʼomuliro, ngʼekiweebwayo ekiri awamu ekyokebwa eri Mukama Katonda wo. Ekibuga ekyo kinaasigalanga awo nga kifunvu ekyʼolubeerera, tekiddibwengamu kuzimbibwa.

17Tewaabeerengawo kintu na kimu ku ebyo ebinaabanga bimaze okukolimirwa kyʼonoosangibwanga nakyo, bwe butyo obusungu bwa Mukama obunaabanga obungi ennyo bunakkakkananga; anaakukwatirwanga ekisa, nʼakulaganga okwagala kwe, nʼakwongeranga okwala, nga bwe yalayirira bajjajjaabo,

18kubanga onoogonderanga eddoboozi lya Mukama Katonda wo nʼokwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, nʼokolanga ebisaanidde mu maaso ga Mukama Katonda wo.

>