Ekyamateeka Olwokubiri 14:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Muli baana ba Mukama Katonda wammwe. Temwesalangako misale oba enjola ku mibiri gyammwe, wadde okwemwangako enviiri ezʼomu bwenyi nga mufiiriddwa[4],

2kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Mu mawanga gonna agʼoku nsi, Mukama ggwe gwe yalondamu okuba eggwanga lye eddonde lye yeefunira.

3Temulyanga nnyama ya kisolo kyonna ekitali kirongoofu ekyʼomuzizo.

4Bino bye bisolo bye munaalyanga: ente, endiga, embuzi,

5enjaza, empeewo, ennangaazi, embulabuzi, entamu, enteŋŋo nʼendiga ezʼomu nsiko.

6Era munaayinzanga okulya ensolo ezirina ebinuulo ebyawulamu wabiri nga zizza nʼobwenkulumu.

7Naye nno ku ezo ezirina ebinuulo ebyawulamu oba nga zizza obwenkulumu, zino temuziryanga: eŋŋamira, akamyu, nʼomusu. Kubanga newaakubadde nga zizza obwenkulumu, ekinuulo kyazo sikyawulemu, si nnongoofu za muzizo gye muli.

8Embizzi nazo si nnongoofu, kubanga newaakubadde zirina ekinuulo ekyawulemu, naye tezizza bwenkulumu, noolwekyo zinaabanga za muzizo gye muli. Ennyama yaazo temugiryanga so temukwatanga wadde okukoma ku mirambo gyazo.

9Mu biramu ebibeera mu mazzi, munaalyanga ebyo ebirina amaggwa ku mugongo nʼamagalagamba.

10Naye ebyo byonna ebitalina maggwa na magalagamba temubiryanga, kubanga si birongoofu gye muli.

11Ennyonyi ennongoofu munaaziryanga.

12Naye zino temuuziryenga: empungu, ennunda, makwanzi,

13wonzi, eddiirawamu, kamunye nʼezʼekika kye,

14namuŋŋoona owa buli ngeri;

15ne maaya, nʼolubugabuga, olusove, enkambo nʼekika kyazo,

16ekiwuugulu, nʼekkukufu, ekiwuugulu ekyʼamatu;

17nʼekimbala, nʼensega, nʼenkobyokkobyo;

18ne kasiida, ne ssekanyolya, nʼekika kye, nʼekkookootezi, nʼekinyira.

19Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bigendera mu kibinja si birongoofu gye muli, temuubiryenga.

20Ekiramu kyonna ekirongoofu ekirina ebiwaawaatiro munaayinzanga okukirya.

21Ekintu kyonna kye munaasanganga nga kimaze okufa, temukiryanga. Onooyinzanga okukiwanga munnaggwanga anaabeeranga mu bibuga byo ye nʼakirya, oba onooyinzanga okukitunzanga munnaggwanga. Kubanga oli ggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo. Tofumbiranga kabuzi kato mu mata ga nnyina waako.

22Buli lwʼonookungulanga ebibala byo nga biva mu nnimiro yo buli mwaka, weegenderezanga nʼossangako wabbali ekitundu kyabyo ekyʼekkumi.

23Onoolyanga ekitundu ekyʼekkumi ekyʼemmere yʼempeke, nʼekya wayini omusu, nʼekyʼamafuta, nʼekyʼebibereberye ebyʼebisibo byo nʼebyʼamagana go. Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo kyʼanaabanga yeerondedde ekyʼokubeerangamu Erinnya lye, olyokenga oyige okutyanga Mukama Katonda wo bulijjo.

24Naye Mukama ngʼakuwadde omukisa, kyokka ngʼekifo ekyo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye kiri wala nʼewuwo, noolwekyo nga toosobolenga kwetikka ekitundu ekyʼekkumi okukituusangayo,

25kale nno, onookiwaanyisangamu omuwendo gwʼensimbi. Onoogendanga nʼensimbi ezo ngʼozinywezezza mu mukono gwo mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera.

26Ensimbi ezo onoozeegulirangamu ekintu kyonna kyʼonooyagalanga: gamba ente, oba endiga, oba wayini, oba ekyokunywa ekitamiiza, oba ekintu kyonna kyʼonooyagalanga. Ggwe awamu nʼabʼomu maka go bonna munaaliiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wo nga musanyuka.

27Naye nno, Omuleevi anaabeeranga naawe mu bibuga byo tomulagajjaliranga, kubanga ye talina mugabo wadde ebyobusika ebibye ku bubwe nga ggwe.

28Buli myaka esatu, ku buli nkomerero ya mwaka ogwokusatu, onooleetanga ebitundu ebyʼekkumi byonna ebyo ebyʼebibala byo byonna ebyʼomwaka ogwo, nʼobiterekanga mu mawanika mu bibuga byo.

29Kale nno, Omuleevi kubanga taabenga na mugabo wadde ebyobusika nga ggwe, ne bamulekwa abatalina bakitaabwe ne nnamwandu; abo bonna abanaabanga babeera mu bibuga byo, bajjenga balye okutuusa lwe banakkutanga; bwʼatyo Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu buli kimu kyonna kyʼonookolanga nʼemikono gyo.

>