1Ku buli nkomerero yʼomwaka ogwʼomusanvu, amabanja gonna onoogasonyiwanga.
2Okusonyiwa okwo kunaabeeranga bwe kuti: buli muntu eyawola munne ebbanja, anaasazangamu ebbanja eryo lye yamuwola. Temubanjanga Bayisirayiri bannammwe, kubanga ebiro Mukama byʼanaabanga ataddewo ebyʼokusonyiwagana amabanja binaabanga bimaze okulangirirwa.
3Onooyinzanga okubanja munnaggwanga akusasule
4Naye tewaabeerengawo mwavu mu mmwe kubanga ngʼotuuse mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa okugyefunira ngʼobutaka bwo obwʼenkalakkalira nʼakuyiwangako emikisa gye emingi,
5kasita onoogonderanga ddala Mukama Katonda wo, nʼogoberera nʼobwegendereza ebiragiro bino byonna bye nkuwa leero.
6Kubanga Mukama Katonda wo agenda kukuyiwako emikisa gye nga bwe yakusuubiza. Amawanga mangi onoogawolanga naye ggwe tojjanga kugeewolako. Onoofuganga amawanga mangi, naye go tegaakufugenga.
7Bwʼonoobanga oli mu bibuga byo mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu.
8Omwanjululizanga engalo zo, nʼomuwolanga nʼokwagala kyonna kyʼanaabanga yeetaaga okumuwewulako obuzibu bwe.
9Weekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogwʼomusanvu ogwʼokusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo nʼomukwatirwa ettima nʼotobaako kyʼomuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri Mukama nʼosangibwanga ngʼogudde mu kibi.
10Muwenga nʼokwagala nʼobutajuliriranga, kubanga olwʼomwoyo ngʼogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu kyʼonootuusangako engalo zo.
11Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti Muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.
12
13Era bwʼonoomutanga tomusiibulanga ngalo nsa.
14Omuwangako, nga teweebalira, ku magana go, ne ku mmere yo eyʼempeke, ne ku wayini wo. Omuwanga nga Mukama Katonda wo bwʼanaabanga akuwadde omukisa.
15Ojjukiranga nga wali muddu mu nsi yʼe Misiri, Mukama Katonda wo nʼakununulayo. Noolwekyo kyenva nkuwa ekiragiro kino leero.
16Naye omuddu bwʼanaakugambanga nti, “Sijja kuva wano,” kubanga akwagala nnyo ggwe nʼabali mu maka go, era nga bwʼabeera naawe aba bulungi;
17kale nno, onoomulazanga awali oluggi, nʼoddira olukato nʼolufumitanga
18Tolowoozanga nti omukwatiddwa ekisa kubanga akuweerezza okumala emyaka mukaaga, nga buli mulimu gwʼakola gwandikoleddwanga abaweereza abʼempeera babiri balamba. Era mu byonna byʼonookolanga, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa.
19Buli bibereberye ebisajja ebinaazaalibwanga mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, onoobitukuzanga era binaabanga bya Mukama Katonda wo. Ente zo ennume embereberye tozikozesanga mirimu, nʼendiga zo embereberye tozisalangako byoya.
20Ebibereberye ebyo onoobiryanga buli mwaka, buli mwaka, ggwe nʼabʼomu nju yo bonna, nga mubiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo Mukama kyʼanaabanga yeerondedde.
21Ekisolo bwe kinaabeerangako akamogo, gamba nga kirema, oba nga kizibe kya maaso, oba nga kiriko ekikyamu kyonna ekinene, tokireetanga ngʼekiweebwayo eri Mukama Katonda wo.
22Onookiriiranga mu bibuga byo. Omulongoofu nʼatali mulongoofu mwenna munaabiryanga nga bwe munaalyanga empeewo oba enjaza.
23Naye omusaayi togulyanga, oguyiwanga wansi ku ttaka ngʼayiwa amazzi.