Ekyamateeka Olwokubiri 16:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Ojjukiranga omwezi ogwa Abibu ngʼogukwatiramu Okuyitako kwa Mukama Katonda wo, kubanga ekiro mu mwezi gwa Abibu, Mukama Katonda wo mwe yakuggyira mu nsi yʼe Misiri.

2Onooleetanga ekiweebwayo eri Mukama ekyʼOkuyitako, ngʼokiggya mu ggana lyo, ne mu kisibo kyo mu kifo Mukama kyʼanaabanga yerondedde nga kye kyʼokubeerangamu Erinnya lye.

3Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ngʼemigaati gyʼolya si mizimbulukuse, gye migaati egyʼokulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bwʼotyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ezʼobulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ngʼova mu nsi yʼe Misiri.

4Tewaabeerengawo asangibwa na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumalanga ennaku musanvu. Ennyama gyʼonooteekateekanga, eyʼekiweebwayo, akawungeezi ku lunaku olwʼolubereberye teesigalengawo kutuusa nkeera.

5Tokkirizibwenga kuweerangayo mu bibuga byo Mukama Katonda wo byʼakuwa, ekiweebwayo ekyʼOkuyitako,

6wabula onookiweerangayo mu kifo Mukama kyʼanaabanga yeerondedde ekyʼokubeerangamu Erinnya lye. Eyo gyʼonooweerangayo Okuyitako akawungeezi ngʼenjuba egwa, ngʼojjukiranga olunaku lwe wasitulirako ngʼova mu nsi yʼe Misiri.

7Onoofumbanga okuyitako okwo nʼokuliira mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. Enkeera onoddangayo mu weema yo.

8Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, kyokka ku lunaku olwʼomusanvu kunaabanga kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda wo okumusinza; tolukolerangako mulimu gwonna.

9Onoobalanga wiiki musanvu okuva ku kiseera lwʼonookungulanga emmere eyʼempeke okuva mu nnimiro yo omulundi ogusooka.

10 Kale nno onookwatanga Embaga ya Wiiki ezo ngʼoleetera Mukama Katonda wo ekiweebwayo ekya kyeyagalire ekinaavanga mu ngalo zo, ngʼemikisa bwe ginaabeeranga Mukama Katonda wo gyʼanaabanga akuwadde.

11Onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo kyʼanaabanga yeerondedde okubeerangamu Erinnya lye. Onoosanyukanga ne batabani bo, ne bawala bo, nʼabaweereza bo abasajja, nʼabaweereza bo abakazi, nʼOmuleevi anaabeeranga mu bibuga byo, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abanaabeeranga mu mmwe.

12Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi eyʼe Misiri, osaana ogonderenga ebiragiro ebyo nʼobwegendereza.

13Onookwatanga Embaga eyʼEnsiisira okumala ennaku musanvu ngʼomaze okuyingiza ebyamakungula byo okubiggya mu gguuliro, ne wayini ngʼomuggye mu ssogolero lyo.

14Onoojaguzanga ngʼoli ku Mbaga eyo, ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, nʼomuweereza wo omusajja, nʼomuweereza wo omukazi, nʼOmuleevi, nʼomunnaggwanga, ne mulekwa, ne nnamwandu, abanaabeeranga mu bibuga byo.

15Onoomalanga ennaku musanvu ngʼojaguza ku Mbaga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama kyʼaneeronderanga. Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byonna ebyʼamakungula go, ne mu mirimu gyo gyonna gyʼonootuusangako engalo zo, essanyu lyo bwe lityo linaabanga lijjuvu.

16 Abasajja bonna mu mmwe banaakuŋŋaananga emirundi esatu buli mwaka, mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo kyʼaneeronderanga, ku Mbaga yʼEmigaati Egitali Mizimbulukuse, ne ku Mbaga eya Wiiki Omusanvu, ne ku Mbaga eyʼEnsiisira. Tewaabengawo nʼomu anajjanga engalo enjereere awali Mukama.

17Buli omu anaaleetanga ekirabo kye ngʼobusobozi bwe bwe bunaabanga, nga bwesigamizibwa ku mikisa Mukama Katonda wo gyʼanaabanga akuwadde.

18Onoolondanga abalamuzi nʼabakozi mu bantu, mu bika byo byonna, mu bibuga byo byonna, Mukama Katonda wo byʼakuwa, baweerezenga abantu nga babasalirawo ensonga zaabwe nga tebasaliriza.

19 Obeeranga nʼobwenkanya, era tobanga na kyekubiira ngʼosala emisango. Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso gʼomugezi era ebuzaabuza ebigambo byʼabatuukirivu.

20Ogobereranga bwenkanya bwokka olyoke olye ensi Mukama Katonda wo gyʼakuwa.

21Tosimbanga miti gya kusinza okumpi nʼekyoto kyʼonoozimbiranga Mukama Katonda wo;

22wadde okuyimirizangawo empagi eyʼamayinja eyʼokusinzanga; kubanga ebyo byonna Mukama Katonda wo tabyagala abikyayira ddala.

>