1Toleetanga kiweebwayo eri Mukama Katonda wo ekyʼente oba ekyʼendiga ngʼeriko akamogo oba ekikyamu kyonna, kubanga ebiri ngʼebyo Katonda wo abikyayira ddala.
2Omuntu yenna omusajja oba omukazi abeera mu mmwe, mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo byʼakuwa, bwʼanaakwatibwanga ngʼakoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo, ngʼamenye endagaano ya Mukama,
3era ngʼajeemedde ekiragiro kyange nʼasinza bakatonda abalala, ngʼenjuba, oba omwezi, oba emmunyeenye ezʼoku ggulu, bye siragiranga okubisinzanga,
4ekikolwa ekyo ne kikutegeezebwangako; kale onookinoonyerezangako nʼobwegendereza. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, ngʼekibi ekyo kikoleddwa mu Isirayiri,
5onoofulumyanga omusajja oyo, oba omukazi oyo, akoze ekibi ekyo, wabweru wa wankaaki wʼekibuga nʼomukuba amayinja, nʼafa.
6Omuntu anattibwanga nga wamaze kulabikawo obujulizi bwʼabantu babiri oba basatu, naye omuntu tattibwenga ku bujulizi bwʼomuntu omu yekka.
7Abajulizi be banaasookanga okukasuukirira omuntu oyo amayinja, nʼabalala ne bagoberera. Kinaakusaaniranga okwemalangako ebibi ebinaabeeranga wakati mu mmwe.
8Bwe wanaabangawo emisango egireeteddwa mu mbuga yo nga mizibu gikukaluubiridde okusala, oba nga gya kuyiwa musaayi, oba gya kuwozaŋŋanya, oba kukubagana, oba ensonga endala zonna ezinaabangamu enkaayana mu bibuga byo, ensonga ezo zonna onoozitwalanga mu kifo Mukama Katonda wo kyʼanaabanga yeerondedde.
9Bwʼonootuukanga eyo oneebuuzanga ku bakabona, be Baleevi, ne ku mulamuzi anaabanga akola omulimu ogwo mu kiseera ekyo. Banaakutegeezanga ensala yaabwe.
10Onookoleranga ku nsala yaabwe eyo gye banaakuwanga mu kifo ekyo Mukama kyʼanaabanga yeerondedde. Weegenderezanga nnyo nʼokola ebyo bye banaabanga bakulagidde.
11Kinaakugwaniranga okukola ngʼamateeka ge banaabanga bakunnyonnyodde bwe gagamba, nʼensala yaabwe nga bwʼeneebanga gye banaakutegeezanga. Bye banaakutegeezanga tobivangako kulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono.
12Omuntu yenna anaanyoomanga omulamuzi oba kabona eyateekebwawo okuweereza Mukama Katonda wo, omuntu oyo wa kufa. Bwʼotyo bwʼonoomalangamu ekibi mu Isirayiri.
13Abantu bonna banaabiwuliranga ne batya, ne bataddayo nate kukola bya kyejo.
14Bwʼolimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa, nʼogirya, nʼobeera omwo, oliyinza okugamba nti, “Leka neeteekerewo kabaka ananfuganga okufaanana ngʼamawanga amalala gonna aganneebunguludde;”
15Weegenderezanga nʼossaawo kabaka oyo Mukama Katonda wo gwʼanaakulonderanga. Kikugwanira okumuggyanga mu bantu bo bennyini. Tokkirizibwenga kwessizangawo kabaka omunnaggwanga anaabanga tavudde mu baganda bo bennyini, okukufuganga.
16Kabaka oyo tateekwa kwefuniranga mbalaasi nnyingi, wadde okutumanga abantu mu Misiri bamufunirengayo embalaasi endala okwongeranga ku zʼalina obungi; kubanga Mukama yagamba nti, “Temuddangayo kukwata kkubo eryo,”
17Tawasanga bakazi bangi kubanga bagenda kumukyamyanga. So tekimugwanira kwetuumangako zaabu nʼeffeeza ennyingi ennyo.
18Bwʼanaamalanga okutebenkera ku ntebe eyʼobwakabaka bwe, anaakoppololeranga amateeka gano mu kitabo ngʼagaggyanga ku ga bakabona, Abaleevi.
19Ekitabo ekyo anaabeeranga nakyo bulijjo, era anaakisomanga ennaku zonna ezʼobulamu bwe, alyokenga ayige okutyanga Mukama Katonda we, ngʼagobereranga nʼobwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ne mu biragiro,
20nga teyeekulumbaza kusukkirira ku bannansi banne, era nga takyama kuva ku mateeka gano okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. Bwʼanaakolanga bwʼatyo, ye, nʼezzadde lye banaafuganga mu bwakabaka bwe, mu Isirayiri, okumala ennaku nnyingi.