1Bakabona, Abaleevi nʼekika kyonna ekya Leevi, tebaafunenga mugabo oba bya busika mu Isirayiri. Banaaweebwanga ku biweebwayo ebyokebwa ebinaaleetebwanga eri Mukama Katonda; ogwo gwe gunaabanga omugabo ogwʼobusika bwabwe.
2Tebaabeerenga na mugabo gwa busika nga bannaabwe abalala bonna mu Isirayiri, kubanga Mukama Katonda yabasuubiza nga yʼanaabanga obusika bwabwe.
3Bino bakabona bye banaagabananga ku biweebwayo ebyʼente za sseddume nʼendiga abantu bye banaabanga baleese: bakabona banaafunangako omukono nʼemba zombi, nʼebyʼomu lubuto.
4Era onoobawanga ebibala byo ebibereberye ebyʼemmere eyʼempeke, nʼebya wayini wo, nʼamafuta go, nʼebyoya ebisooka ebyʼendiga zo.
5Kubanga Mukama Katonda wo yeeroboza Leevi nʼezzadde lye mu bika byo byonna okuweerezanga mu linnya lya Mukama emirembe nʼemirembe.
6Omuleevi bwʼanaavanga mu kimu ku bibuga byo ebiri mu Isirayiri gyʼabadde atuula, nʼajja nga bwʼanaabanga yeeteeserezza, nʼajja mu kifo Mukama Katonda kyʼaneeronderanga,
7anaayinzanga okuweereza mu linnya lya Mukama Katonda we okufaanana nga Abaleevi banne abalala aba buli kiseera abanaabanga baweereza mu linnya lya Mukama Katonda mu kifo ekyo.
8Anaagabananga kyenkanyi ne banne abaabulijjo, ne bwʼanaabanga ngʼalina ensimbi ezize ku bubwe zʼanaabanga aggye mu byʼomu maka ge byʼatunze.
9Bwʼonooyingira mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa, weekuume obutayiga kukopperera mpisa embi ezʼabantu abʼomu mawanga gʼolisanga mu nsi omwo.
10Tewabeerangawo omuntu nʼomu alirabika ngʼayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ngʼekiweebwayo, oba ngʼakola ngʼomulaguzi, oba omulogo, oba omusawo wʼekinnansi, oba avvuunula ebyʼomu biseera ebijja,
11oba asuula abantu eddalu, oba emmandwa, oba omusamize, oba omulubaale, oba ayogera nʼemizimu, oba eyeebuuza ku baafa.
12Omuntu yenna anaakolanga ebintu ngʼebyo, anaabanga kivume era ekyomuzizo eri Mukama. Era olwokubanga abʼomu mawanga ago bakola ebyomuzizo ebyo, Mukama Katonda wo kyanaava abagoba mu nsi omwo ngʼogiyingira.
13Kikugwanira obenga muwulize nnyo, atuukiridde mu maaso ga Mukama Katonda wo.
14Newaakubadde ngʼabantu abʼomu mawanga ago bʼogenda okulyako ensi yaabwe, bagondera nnyo abalaguzi nʼabasamize, naye ebyo Mukama Katonda wo, ggwe, takukkiriza kubikola.
15Mukama Katonda wo agenda kukuyimusiza Nnabbi ali nga nze, ngʼamuggya mu bantu bo. Nnabbi oyo mumuwulirizanga era mumugonderanga.
16Kubanga ekyo kye wasaba Mukama Katonda wo ku lunaku olwʼokukuŋŋaana ku lusozi Kolebu ngʼogamba nti, “Sisaanidde kuddayo nate kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wange wadde okuddayo okulaba omuliro guno omungi, nneme okufa.”
17Mukama Katonda kwe kunnyanukula nti, “Kye bagambye kirungi era kituufu.
18Nzija kubayimusiza Nnabbi ali nga ggwe okuva wakati mu bo; Nze nnaasanga ebigambo byange mu kammwe ke, ye nʼabategeezanga bye nnaamulagiranga.
19Omuntu yenna ataagonderenga bigambo Nnabbi byʼanaayogeranga mu linnya lyange, Nze kennyini, Nze nnaamwekolerangako.
20Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti Ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.”
21Oyinza okwebuuza nti, “Tunaamanyanga tutya ngʼebigambo ebyo Mukama Katonda si yʼanaabanga abyogedde?”
22Ebigambo nnabbi byʼanaayogeranga mu linnya lya Mukama bwe bitaatuukirirenga oba bwe bitaabenga bya mazima, ngʼebigambo ebyo Mukama Katonda si yʼabyogedde. Nnabbi oyo byʼanaabanga ayogedde anaabanga abiyiiyizza buyiiya. Ebyo tebibatiisanga.