Ekyamateeka Olwokubiri 19:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama Katonda wo bwʼalimala okuzikiriza amawanga kaakano agali mu nsi gyʼakuwa, nʼogyefunira, ne weetwalira ebibuga byabwe, nʼamaka gaabwe nʼobeera omwo,

2weeyawulirangako ebibuga bisatu[7] nga biri wakati mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa okugirya.

3Okolanga enguudo eziraga mu bibuga ebyo; ensi Mukama Katonda wo gyʼakuwa okubeera obusika bwo obwʼenkalakkalira, ogyawulangamu ebitundu bisatu, kale buli anattanga omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyʼomu bitundu ebyo.

4Etteeka lino likwata ku muntu anattanga munne nga tagenderedde kubanga anaabanga tamulinaako bulabe bwonna, oyo eyasse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo awonye obulamu bwe.

5Ekyokulabirako kiikino: Singa omuntu agenda ne munne okutema omuti mu kibira nʼembazzi, naye ngʼabadde agiwuuba ateme omuti, embazzi nʼewanguka mu kiti kyayo, nʼetema munne nʼafa, eyasse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, nʼatattibwa.

6Ebibuga ebyo tebisaanira kuba wala nnyo, kubanga oli ayagala okuwalanira omufu eggwanga bwʼanaafubanga okugoba eyasse embiro okutuusa ngʼamukutte, aleme kusobola kumukwata, naye nʼamutta, songa eyasse oli yali tagenderedde kutta munne, kubanga ku bombi tekwaliko mulabe wa munne.

7Kyenva nkulagira okweyawulirangako ebibuga bisatu.

8Mukama Katonda wo bwʼanaakugaziyirizanga amatwale go, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, nʼakuwa ettaka lyonna lye yasuubiza bajjajjaabo, kasita onookwatanga amateeka gonna ge nkulagira leero, kwe kwagalanga Mukama Katonda wo, nʼokutambuliranga mu makubo ge,

9kale ku bibuga bino ebisatu onooyongerangako ebirala bisatu.

10Ekyo onookikolanga okuziyiza omusaayi gwʼomuntu ataliiko musango okuyiikira obwereere mu nsi yo Mukama Katonda wo gyʼakuwa okubeera obusika bwo obwʼenkalakkalira, omusaayi oguyiise gulemenga kubeera ku ggwe.

11Naye omuntu bwʼanaabanga nʼekiruyi ku munne, nʼamwekwekerera nʼamutta, nʼalyoka addukira mu kimu ku bibuga ebyo,

12abakulembeze abakulu abʼomu kibuga kyʼomutemu, banaamutumyangayo ne bamuggyayo, ne bamukwasa anaabanga agenda okuwoolera eggwanga eryʼomusaayi gwʼomufu, omutemu nʼalyoka attibwa.

13Tomusaasiranga. Kikugwanira okumalirawo ddala mu Isirayiri okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, olyoke obeerenga bulungi nʼemirembe.

14Tosimbulanga bituuti ebiri mu mpenda eziraga ensalo ya buli muntu ne muliraanwa we, ebyasimbibwawo abʼomu mirembe egyasooka, ebiraga ettaka lyʼonoogabana mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa okugirya.

15Omujulizi omu taamalenga, okusinzisa omuntu omusango gwʼanaabanga azzizza, oba olwʼekikolwa ekibi kyʼanaabanga akoze nga kyekuusa ku musango gwʼanaabanga azzizza. Wanaamalanga kubeerawo obujulizi bwʼabantu babiri oba basatu, olwo nno ekivunaanwa omuntu oyo ne kiryoka kinywezebwa.

16Omujulizi owʼobulimba bwʼaneesowolangayo nʼavunaana omuntu nti musobya,

17abantu bombi abawozaŋŋanya banajjanga mu maaso ga Mukama Katonda awali bakabona nʼabalamuzi abanaabanga ku mulimu mu kiseera ekyo.

18Abalamuzi kinaabagwaniranga okubuulirizanga ennyo nʼobwegendereza. Omujulizi oyo bwʼanaakakasibwanga nga mulimba, ngʼobujulizi bwʼawadde ku munne bugingirire,

19munaamukolangako nga naye bwʼabadde ayagala munne akolweko. Bwʼatyo nʼomalirawo ddala ebikolwa ebibi ebiri wakati mu mmwe.

20Abalala bwe banaakiwuliranga banaatyanga, ngʼolwo mu mmwe temukyali baddayo kuzzanga musango gufaanana ngʼogwo.

21Tobasaasiranga; obulamu busasulwenga na bulamu, eriiso olwʼeriiso, erinnyo olwʼerinnyo, omukono olwʼomukono nʼekigere olwʼekigere.

>