Ekyamateeka Olwokubiri 2:1-37 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ne tukyuka ne tuddayo mu ddungu nga twolekera Ennyanja Emyufu, nga Mukama bwe yandagira. Ne tumala ennaku nnyingi nnyo nga tutambulira mu nsi eyʼensozi eyʼe Seyiri.

2Mukama nʼaŋŋamba nti,

3“Mu nsi eno eyʼensozi mutambuliddemu ekiseera kiwanvu, era kimala; kale kaakano mukyuke mulage mu bukiikakkono.

4Abantu bawe ebiragiro bino nti, ‘Muli kumpi okutuuka mu nsi ya baganda bammwe, abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri, bajja kubatya, kyokka mubeegendereza nnyo.

5Temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa ku ttaka lyabwe, wadde akatundu akatono awagya ekigere kyʼomuntu. Kubanga ensi eyʼensozi eya Seyiri nagiwa dda Esawu okuba obutaka bwe obwenkalakkalira.

6Mubagulangako emmere gye munaalyanga nga mugisasulira nʼensimbi, nʼamazzi agʼokunywa nago nga mugasasulira ensimbi.’ ”

7Mukama Katonda wo akuwadde omukisa mu mirimu gyonna gyʼokola nʼemikono gyo. Amanyi nti otambulira mu ddungu lino eddene ennyo bwe lityo. Era Mukama Katonda wammwe abadde akulabirira emyaka gino gyonna amakumi ana, ngʼabeera naawe, era nga buli kye weetaaga akikuwa.

8Bwe tutyo ne tweyongerayo mu lugendo lwaffe nga tuyita ku baganda baffe abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri. Ne tuleka ekkubo lyʼAlaba eririnnyalinnya okuva Erasi ne Eziyonigeba, ne tukwata ekkubo eriyita mu ddungu lya Mowaabu.

9Awo Mukama Katonda nʼaŋŋamba nti, “Abamowaabu temubasunguwaza wadde okubasosonkerezaako olutalo, kubanga sigenda mmwe kubawa ku ttaka lyabwe mu Ali, ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe.”

10Abemi be baabeeranga mu kitundu ekyo, nga basajja banene, nga ba maanyi, nga bangi nnyo, era nga bawanvu okwenkana nga Abanaki.

11Baayitibwanga Baleefa okufaanana nga Abanaki bwe baayitibwanga, naye Abamowaabu nga bo babayita Bemi.

12Mu biseera ebyʼedda Abakooli nabo baabeeranga mu Seyiri, okutuusa bazzukulu ba Esawu bwe baabasiguukulula ne babagobamu ne babazikiriza, ensi eyo ne bagyetwalira, bo ne bagibeeramu; okufaananako ngʼAbayisirayiri bwe balikola mu nsi Mukama Katonda gye yabawa eyʼobusika bwʼobutaka bwabwe obwʼenkalakkalira.

13Mukama nʼagamba nti, “Musituke musomoke akagga Zeredi.” Ne tusomoka.

14Olwo nga kasookedde tuva mu Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Ekiseera ekyo we kyaggweerako ngʼabasajja abalwanyi bonna mu lusiisira lwʼabaana ba Isirayiri, abʼomu mulembe ogwo, nga bafudde baweddewo, nga Mukama Katonda bwe yabalayirira.

15Kubanga Mukama Katonda yamalirira okubazikiriza nʼomukono gwe okutuusa ngʼabamaliddemu ddala mu lusiisira lwabwe.

16Awo olwatuuka abasajja abalwanyi bonna bwe baamala okufa, nga bazikiridde baweddewo mu bantu,

17Mukama Katonda nʼaŋŋamba nti,

18“Olwa leero munaasala ensalo ya Mowaabu mu Ali.

19Naye bwe musemberera Abamoni temubasunguwaza so temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sigenda kubawa ku ttaka lyʼAbamoni nʼakatono okuba obutaka bwammwe, kubanga ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe obwʼenkalakkalira.”

20Ekitundu ekyo era kyali kiyitibwa nsi ya Baleefa, kubanga Abaleefa be baabeerangamu naye Abamoni nga babayita Bazamuzumu.

21Baali basajja ba maanyi era nga bangi nnyo, nga bawanvu ngʼAbanaki. Naye Mukama Katonda nʼabawaayo eri Abamoni ne babazikiriza, ne batwala ensi yaabwe ne bagituulamu.

22Ne kifaananako nga Mukama bwe yazikiriza Abakooli abaalinga mu Seyiri, ensi yaabwe nʼagiwa bazzukulu ba Esawu okuba obutaka bwabwe obwʼenkalakkalira nʼokutuusa leero.

23Abavi abaabeeranga mu byalo ebyesuddeko okutuuka e Gaza, Abakafutoli abaava e Kafutoli bajja ne babazikiriza ne batwala ensi yaabwe bo ne bagibeeramu.

24“Musituke mutambule muyite mu kiwonvu ekya Alunoni. Otegeere kino nga Sikoni Omwamoli Kabaka wʼe Kesuboni mmugabudde mu mukono gwo nʼensi ye yonna. Kale tandika okumutabaala, nʼensi ye ogyetwalire efuukire ddala yiyo ya butaka bwo.

25Okutandika nʼolunaku lwa leero amawanga gonna agʼoku nsi nzija kugateekamu entiisa bakankane nga bawulidde ettutumu lyo babeere mu kutiitiira nʼokunyolwa ku lulwo.”

26Nga tuli mu ddungu lyʼe Kedemosi natumira Sikoni Kabaka wʼe Kesuboni nʼobubaka obwʼokuteesa emirembe nga mmugamba nti,

27“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka nga tetuwunjuseeko kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono.

28Onootuguzanga emmere gye tunaalyanga nga tugisasulira ensimbi, nʼamazzi ge tunaanywangako, nago nga tugasasulira ensimbi. Naye tuleke tuyite mu nsi yo nga tutambula nʼebigere,

29nga bazzukulu ba Esawu abaabeeranga mu Seyiri, nʼAbamowaabu abaabeeranga mu Ali bwe baatuleka, okutuusa lwe tulimala okusomoka Yoludaani ne tutuuka mu nsi Mukama Katonda waffe gyʼategese okutuwa.”

30Naye Sikoni Kabaka wa Kesuboni nʼatatukkiriza kuyitawo. Kubanga Mukama Katonda wammwe yali akakanyazizza omwoyo gwe era ngʼawaganyazizza omutima gwe, alyoke amugabule mu mukono gwammwe nga bwe kiri leero.

31Awo Mukama Katonda nʼaŋŋamba nti, “Laba, ntandise okugabula Sikoni nʼensi ye mu mukono gwo. Kale tandika okuwangula ensi ye yonna, olyoke ogyefunire okubeera obusika bwo era obutaka bwo obwʼenkalakkalira.”

32Kabaka Sikoni nʼeggye lye lyonna ne batulumba mu lutabaalo olwʼe Yakazi.

33Mukama Katonda waffe nʼagabula Sikoni nʼeggye lye lyonna, ne batabani be, mu mukono gwaffe ne tubawangula.

34Mu kaseera ako twawamba ebibuga bye byonna ne tubizikiriza nʼabantu bonna, abasajja, nʼabakazi, nʼabaana abato, tetwalekerawo ddala.

35Naye ente ne tuzeetwalira awamu nʼomunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba.

36Okuva ku Aloweri ekiri ku lukugiro lwʼEkiwonvu Alumoni, nʼokuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu ekyo, nʼokutuukira ddala mu Gireyaadi, tewaaliwo kibuga na kimu ekyatusukkirira amaanyi. Mukama Katonda waffe byonna yabitugabula mu mukono gwaffe.

37Naye ebifo, Mukama Katonda waffe bye yatulagira obutabisemberera, yʼensi yʼabazzukulu ba Amoni, ne ku mbalama zonna ezʼomugga Yaboki, nʼebibuga ebyʼomu nsi eyʼensozi; ebyo byo yatugaana okubikwatirako ddala.