1Bwʼonoobanga ogenze okutabaala abalabe bo, nʼolaba embalaasi nʼamagaali nʼeggye eddene okukira eriryo, tobatyanga; kubanga Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi yʼe Misiri, anaabanga naawe.
2Bwe munaabanga muli kumpi okutandika okulwana, kabona anajjanga nʼayogera eri eggye lyʼabaserikale,
3nʼabagamba nti, “Wulira, Ayi Isirayiri! Olwa leero mugenda okutandika okulwana nʼabalabe bammwe. Temuggwaamu mutima, so temutiitiira wadde okubatya.
4Kubanga Mukama Katonda wammwe yʼanaagendanga nammwe okubalwanirira ngʼalwanyisanga abalabe bammwe, nʼokubawanga mmwe obuwanguzi.”
5Abaami banaayogeranga eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe alina ennyumba empya gye yeezimbira naye nga tennatukuzibwa? Kimusanidde addeyo mu nnyumba ye, si kulwa ngʼafiira mu lutalo, omulala nʼagitukuza.
6Waliwo mu mmwe eyalima ennimiro yʼemizabbibu naye nga tannatandika kulya ku bibala byamu? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ngʼafiira mu lutalo, omuntu omulala nʼalya ebibala byamu.
7Waliwo mu mmwe eyali ayogereza omukazi, naye nga tannamuwasa? Kimugwanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ngʼafiira mu lutalo, omuntu omulala nʼawasa omukazi oyo.”
8Abaami banaayongeranga okwogera eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe omutiitiizi, oba aweddemu amaanyi mu mutima? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ngʼaleetera banne omutima omutiitiizi.”
9Abaami bwe banaamalanga okwogera eri eggye, banaalondanga abakulu mu balwanyi abanaakulemberanga eggye eryo.
10Bwʼonoosembereranga ekibuga ngʼogenda okukirwanyisa, osookanga kulangirira mirembe eri abantu baamu.
11Bwe banakkirizanga emirembe, ne bakuggulirawo emiryango gyʼekibuga kyabwe, kale abantu baamu bonna banaafuukanga baweereza bo, okukukoleranga byonna nga bwʼonooyagalanga.
12Naye ekibuga ekyo bwe kinaagaananga okukkiriza emirembe, ne kisalawo okukulwanyisa, onookyebungululanga nʼokizingiza.
13Mukama Katonda wo bwʼanaakigabulanga mu mukono gwo, onottanga nʼekitala buli musajja yenna.
14Kyokka abakazi nʼabaana abato, nʼebisibo byʼensolo, nʼebintu byonna ebinaabanga mu kibuga omwo, onoobyetwaliranga ngʼomunyago gwo. Era onookozesanga nga bwʼonooyagalanga omunyago gwonna ogunaavanga mu balabe bo Mukama Katonda wo gwʼanaabanga akuwadde.
15Bwʼotyo bwʼonookolanga ebibuga byonna ebinaakubeeranga ewala ennyo, ebitaabenga bibuga bya mawanga gano.
16Naye mu bibuga bino Mukama Katonda wo byʼakuwa okuba obusika bwo obwʼenkalakkalira, tewaabeerengawo kintu nʼekimu kyʼonoolekangamu nga kissa omukka, byonna onoobizikiririzanga ddala.
17Abakiiti, nʼAbamoli, nʼAbakanani, nʼAbaperezi, nʼAbakiivi, nʼAbayebusi, onoobamalirangawo ddala, nga Mukama Katonda wo bwʼakulagidde,
18balemenga kubayigiriza bikolobero bye bakola nga basinza bakatonda baabwe, bwe mutyo nammwe ne mwonoonanga eri Mukama Katonda wammwe.
19Bwʼonoozingizanga ekibuga, ngʼolwana nakyo, okumala ebbanga eddene olyoke okiwangule, toddiranga mbazzi nʼozikiriza emiti gyakyo gyonna, kubanga ojjanga kwetaaga okulyanga ku bibala byagyo. Togitemanga. Emiti egyʼomu nnimiro nagyo bantu olyoke ogizingize?
20Naye emiti gyʼomanyi nga si gya bibala, egyo onoogitemanga olyoke ogikozesenga okuzimba ekisenge kwʼonoosinziiranga okulwananga nʼekibuga kyʼonoobanga ozingizza, okutuusa lwe kinaagwanga.