Ekyamateeka Olwokubiri 21:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Bwʼolimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda gyʼakuwa okugirya, omuntu nʼasangibwa mu nsiko ngʼattiddwa, kyokka ngʼeyamusse tamanyiddwa,

2bakadde bo, abakulembeze, nʼabalamuzi bo banaafulumanga ne bagenda bapima obuwanvu bwʼebbanga okuva ku mulambo okutuuka ku bibuga ebinaabanga bigwebulunguludde.

3Kale nno abakadde abakulembeze bʼekibuga ekinaabanga kisinga okuliraana nʼomulambo ogwo, banaaddiranga ente enduusi etakozesebwangako mulimu gwonna, etassibwangamu kikoligo,

4ne bagiserengesa mu kiwonvu ekirimu akagga akakulukuta; ekitalimwangamu wadde okusimbwamu emmere. Mu kiwonvu omwo mwe banaanyoleranga ensingo yʼente eyo ne bagimenya.

5Kale nno batabani ba Leevi, bakabona, banaavangayo ne basembera, kubanga Mukama Katonda wo yabalonda okumuweerezanga, nʼokusabiranga emikisa mu linnya lya Mukama nʼokutereezanga empaka zonna nʼobulumbaganyi.

6Awo abakadde abakulembeze bonna abʼomu kibuga ekinaasinganga okuliraana omulambo ogwo, banaanaabiranga engalo zaabwe ku nte eri enduusi eyamenyebbwa ensingo mu kiwonvu[8],

7ne boogera nti, “Emikono gyaffe si gye gyayiwa omusaayi guno, ne bwe gwali guyiyibwa amaaso gaffe tegaagulaba, tetwaliwo nga guyiyibwa.

8Osonyiwe abantu bo, Isirayiri, be wanunula Ayi Mukama Katonda, oleme kuleka wakati mu bantu bo, Isirayiri, omusango ogwʼokuyiwa omusaayi, gwe batazzanga.” Bwe batyo banaasonyiyibwanga omusango gwʼomusaayi ogwo.

9Bwʼotyo bwʼonoggyangawo omusango wakati wammwe ogwʼokuyiwa omusaayi ogutaliiko nsonga, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda.

10Bwʼogendanga okutabaala balabe bo, Mukama nʼabagabula mu mikono gyo nʼonyagayo abantu,

11mu abo abanyagiddwa bwʼonoolabangamu omukazi alabika obulungi nʼomwagala, nʼoyagala okumuwasa,

12omutwalanga mu maka go, nʼomulagira okumwa omutwe gwe, nʼokusalako enjala ze,

13nʼengoye ze mwe yawambirwa azeeyambulangamu. Bwʼanaamalanga mu nju yo omwezi mulamba ngʼakungubagira kitaawe ne nnyina, onoogendanga gyʼali nʼobeera bba, naye anaabeeranga mukazi wo.

14Kyokka bwʼanaabanga takusanyusizza, omuwanga eddembe nʼagenda so tomutundanga nsimbi. Tomuyisanga nga muddu, kubanga ggwe wamumalamu ekitiibwa kye.

15Omusajja bwʼanaabanga nʼabakazi babiri, omu nga muganzi naye omulala nga mukyawe, bombi ne bamuzaalira abaana aboobulenzi, naye ngʼomwana omubereberye ye wʼomukyawe;

16bwʼanaabanga agabira batabani be abo ebintu bye mu ddaame lye, takkirizibwenga kuyisa mwana wa muganzi ngʼomubereberye, singa omwana wʼomukyawe ye mubereberye.

17Anaasaaniranga okukkiriza nti Omwana wʼomukyawe ye mubereberye, era anaamuwanga emiteeko ebiri egyʼebintu bye byonna byʼalina, kubanga oyo ge maanyi ga kitaawe amabereberye. Ye nannyini ddembe eryʼobwebange eryʼomwana omubereberye.

18Omuntu bwʼanaabanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu atagondera biragiro bya kitaawe wadde ebya nnyina, atabafaako bwe bamubonerezaamu olwʼobutawulira,

19kitaawe ne nnyina banaamukwatanga ne bamuleeta eri abakulu abakulembeze abʼomu kibuga kye waabwe nga bali wabweru wʼomulyango gwʼekibuga ekyo.

20Banaategeezanga abakulu abakulembeze bʼomu kibuga kye waabwe nti, “Mutabani waffe ono mukakanyavu era mujeemu. Tatuwulira. Wa mulugube nnyo era mutamiivu.”

21Kale nno abasajja bʼomu kibuga ekyo banaamukubanga amayinja ne bamutta. Bwʼotyo bwʼonoomalangawo ekibi wakati wo. Isirayiri yenna anaakiwuliranga, nʼatya.

22Omuntu bwʼanaasingibwanga ogwʼokufa nʼattibwa, nʼawanikibwa ku muti,

23omulambo gwe teguulekebwenga ku muti ne gusulako ekiro kyonna; onoomuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikibwa ku muti, Katonda aba amukolimidde. Togwagwawazanga nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa okugirya okubeera obusika bwo obwʼenkalakkalira.

>