1Bwʼolabanga ente ya munno, oba endiga ye, ngʼebula okuva ewaabayo, togirekanga bulesi ne weesuulirayo ogwa nnaggamba naye ogikwatanga nʼogizzaayo ewa nnyiniyo.
2Nannyiniyo bwʼabanga tasula kumpi naawe, obanga nannyiniyo tomumanyi, ogireetanga mu maka go nʼobeeranga nayo okutuusa nannyiniyo lwʼalijja ngʼaginoonya; olwo nno nʼolyoka ogimuddiza.
3Okolanga bwʼotyo ngʼosanze endogoyi ya munno, obanga olonze ekyambalo kya munno, oba ekintu kyonna ekirala munno kyʼanaabanga abuliddwa kyokka ggwe nʼokironda. Tolemanga kuyamba munno ngʼali mu buzibu, ate nga wandisobodde okumuyamba. Obusobozi bwʼonoobanga nabwo okuyamba munno tobumukwekanga.
4Bwʼonoolabanga endogoyi ya munno, oba ente ye, ngʼegudde ku kkubo, togiyitangako buyisi, wabula omuyambanga okugiyimusa.
5Omukazi taayambalenga ngoye za kisajja, so nʼomusajja taayambalenga ngoye za kikazi; kubanga abakola ebyo Mukama Katonda wammwe abakyayira ddala.
6Temutwalanga Nnyonyi Nzadde. Bwe munaalabanga ekisu kyʼennyonyi ku muti, oba ku mabbali gʼekkubo, nga kirimu amagi oba obwana obuto, nga ne nnyina waabwo abumaamidde, oba atudde ku magi, bwe munaatwalanga obwana obuto, nnyina waabwo temumutwalirangako.
7Obwana obuto munaayinzanga okubutwala, kyokka nnyina waabwo mumulekanga nʼagenda, mulyoke mufunenga emirembe mu mutima awamu nʼobuwangaazi.
8Bwe muneezimbiranga enju empya eyʼakasolya akatereevu
9Wakati wʼennyiriri zʼemizabbibu temusimbangamu mmere ya ngeri ndala, bwe munaakikolanga, ebibala byʼemizabbibu nʼebyʼemmere gye munaabanga musimbyemu, byombi munaabifiirwanga.
10Ente nʼendogoyi temuzigattanga wamu ne muzisibanga ku kikoligo kye kimu ekyʼekyuma kye munaabanga mulimisa.
11Temwambalanga ngoye ezinaabanga zirukiddwa nʼewuzi zʼebyoya byʼendiga nga zigattiddwa wamu nʼewuzi eza linena.
12Mutunganga emijunga ku buli nsonda ennya ezʼeminagiro gyammwe gye munaayambalanga.
13Omusajja bwʼaneewasizanga omukazi, kyokka oluvannyuma lwʼokusula naye, nʼamukyawa,
14nʼamuwaayiriza ngʼamukonjera ngʼagamba nti, “Nawasa omukazi ono, naye bwe nasula naye saamusanga nga mbeerera,”
15Kitaawe wʼomuwala oyo ne nnyina banaaleeteranga abakulembeze abakulu abʼekibuga ekyo, nga bali ku wankaaki waakyo, obujulizi obunaalaganga ngʼomuwala waabwe yali mbeerera.
16Kitaawe wʼomuwala anaategeezanga abakulembeze abakulu nti, “Nagabira omusajja ono omwana wange omuwala amuwase, naye omusajja amukyaye.
17Kaakano wuuno amuwaayiriza ngʼamukonjera ngʼamwogerako nti, Muwala wo namusanga nga si mbeerera.” Naye obujulizi buubuno obulaga ngʼomwana wange ono omuwala yali mbeerera. Abazadde bʼomuwala banaayanjululizanga essuuka yʼobuliri mu maaso gʼabakulembeze abakulu abʼekibuga ekyo.
18Abakulembeze abakulu bʼekibuga ekyo banaatwalanga bba wʼomuwala, banaasookanga okumukubamu.
19Ate ne bamusalira omutango gwa sekeri za ffeeza kikumi
20Naye singa omusajja nga byʼanaabanga ayogedde bya mazima, nga nʼobujulizi obukakasa ngʼomuwala yali mbeerera bunaabanga bubuze,
21kale nno omuwala oyo anaaleetebwanga ku muzigo gwʼennyumba ya kitaawe, era abasajja abʼomu kibuga kyʼomuwala oyo banaamukubiranga awo amayinja nʼafa. Kubanga anaabanga akoze ekikolwa kya bugwenyufu nnyo ekyʼokumanya abasajja ngʼakyali mu luggya lwa kitaawe. Ekibi musaananga mukimalemu mu Isirayiri.
22Omusajja bwʼanaakwatibwanga nga yeebase nʼomukyala wʼomusajja omulala, kale, omusajja akwatiddwa nʼomukyala gwʼanaabanga yeebase naye, bombi baakuttibwanga. Ekibi musaana mukimalengamu mu Isirayiri.
23Bwe wanaabangawo omuwala embeerera ayogerezebwa afumbirwe, omusajja nʼamusanga mu kibuga ne yeebaka naye,
24munaabaleetanga bombi ku wankaaki wʼekibuga ekyo ne mubakuba amayinja ne bafa; omuwala, bwe kibanga nga yali munda mu kibuga naye nʼatakuba nduulu kufuna buyambi; omusajja, kubanga yayonoona omuwala ajja okufumbirwa omusajja we. Bwe mutyo bwe munaamalangamu ekibi mu mmwe.
25Naye omusajja bwʼanaasanganga omuwala ayogerezebwa ku ttale nʼamukwata ne yeebaka naye olwʼempaka, kale nno omusajja anaabanga yeebase nʼomuwala oyo yʼanattibwanga.
26Omuwala oyo temumukolangako kintu kyonna, kubanga anaabanga talina kibi kyonna kyʼakoze ekinaamusaanyizanga okufa. Ensonga ezo zifaanana ngʼezʼomuntu anaabanga alumbaganye muliraanwa we nʼamutemula.
27Olwokubanga omuwala ono anaabanga ayogerezebwa okufumbirwa yasangibwa omusajja ku ttale etali bantu, anaayinzanga okuba nga yeekubira enduulu naye ne watabaawo amudduukirira okumuyamba.
28Omusajja bwʼanasisinkananga omuwala embeerera naye nga taliiko amwogereza, nʼamukwata ne yeebaka naye, ne bakwatibwa nga bali mu kikolwa ekyo,
29omusajja anaabanga yeebase nʼomuwala oyo anaasasulanga kitaawe wʼomuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano
30Omusajja taawasenga mukyala wa kitaawe aleme kuweebuulanga kitiibwa kya buliri bwa kitaawe.