Ekyamateeka Olwokubiri 23:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1“Omuntu yenna ngʼebitundu byʼomubiri gwe ebyʼekyama byabetentebwa oba nga byasalibwako, taayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.

2“Abantu bonna abanaazaalibwanga mu bufumbo obutaabenga butukuvu tebaayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda. Bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogwʼekkumi, nabo tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.

3“Abamoni nʼAbamowaabu ne bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogwʼekkumi tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.

4Kubanga bwe mwali muva mu nsi yʼe Misiri, tebajja kubaaniriza nʼokubaleetera ku mmere ne ku mazzi; ate ne bapangisa Balamu mutabani wa Byoli nga bamuggya e Pesoli ekyʼomu Mesopotamiya, okubakolimira.

5Kyokka Mukama Katonda wo nʼalemesa Balamu; ekikolimo nʼakikufuuliramu omukisa, kubanga Mukama Katonda wo akwagala nnyo.

6Tokolanga nabo endagaano eyʼomukwano nʼokubayamba mu mbeera yaabwe ebbanga lyonna lyʼolimala ngʼoli mulamu.

7“Omwedomu tomukyawanga kubanga omulinako oluganda. Tokyawanga Mumisiri nʼomu kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe.

8Abaana baabwe abʼomulembe ogwokusatu banaakkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.

9“Bwʼonoogendanga okutabaala abalabe bo weewalenga obutali bulongoofu mu lusiisira lwammwe.

10Bwe wanaabangawo omusajja mu mmwe eyeeroteredde ekiro, bwʼatyo nʼaba atali mulongoofu, anaafulumanga mu lusiisira nʼabeera ebweru.

11Naye obudde bwe bunaawungeeranga anaanaabanga nʼamazzi; enjuba bwʼeneemalanga okugwa anaayinzanga okukomawo mu lusiisira.

12“Onootegekanga ekifo ebweru wʼolusiisira kyʼonoolagangamu okweteewuluza.

13Onoogendangayo nʼebyʼokukozesa. Onootwalanga ekifumu, bwʼonoomalanga okweteewuluza onoosimanga ekinnya nʼoziikamu ebyo ebivudde mu nda yo.

14Kubanga Mukama Katonda wo anaatambulanga naawe, mu lusiisira lwo ngʼakulabirira nʼokukuyamba okuwangula abalabe bammwe. Noolwekyo olusiisira lwo kirusaanira lubeerenga lutukuvu, Mukama alemenga kusangamu kintu kyonna ekitali kirongoofu mu ggwe ne kimuleeteranga okukuvaako.

15“Omuddu omugule bwʼanaabombanga nʼava ku mukama we mu nsi endala, nʼajja ne yeekweka gyʼoli, tomuzzangayo wa mukama we.

16Omulekanga nʼabeera naawe wakati mu mmwe, mu kimu ku bibuga byo kyʼaneerobozanga. Tomujooganga.

17“Mu bawala ba Isirayiri temukkirizibwenga kubeerangamu bamalaaya abʼomu masabo, nʼabasajja abalya ebisiyaga nabo tebakkirizibwenga mu Isirayiri.

18Toleetanga nsimbi, bamalaaya ze banaabanga bafunye mu bwamalaaya, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo okusasulira obweyamo, wadde ensimbi zʼabasajja abalya ebisiyaga; kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala ebikolwa ebyo byombi.

19“Omuyisirayiri bwʼanaawolanga Muyisirayiri munne ensimbi, oba emmere, oba ebintu ebirala byonna, bwʼanaabanga asasulwa tasabirangako magoba gaabyo.

20Bwʼonoowolanga bannaggwanga onoobasabirangako amagoba gaako; Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa ku buli kyʼonookwatangako engalo ngʼotuuse mu nsi gyʼoli okumpi okuyingira nʼokugyefunira.

21“Bwʼoneeyamanga obweyamo eri Mukama tolwangawo kubutuukiriza, kubanga ddala ddala Mukama Katonda wo agenda kukikulagira olyoke weewonye omusango olwʼekibi ekyo.

22Naye bwʼoteeyamanga bweyamo toobeerengako musango.

23Ebyo byonna akamwa ko bye kanaayogeranga kikugwanira okubikolanga, mu ngeri yʼemu nga bwʼonoobanga weeyamye obweyamo eri Mukama Katonda wo nʼakamwa ko.

24“Bwʼonooyingiranga mu nnimiro ya munno eyʼemizabbibu, onooyinzanga okwenogeranga ku birimba byʼemizabbibu nʼolya nga bwʼoneetaaganga nʼokkuta, naye tossangako mu kibbo okwetwalirako eka.

25Bwʼonooyingiranga mu nnimiro ya munno eyʼemmere eyʼempeke, onooyinzanga okwekungulirangako nʼengalo zo, naye toddiranga kambe nʼosala emmere yʼempeke eyo eneebanga tennaba kusalibwa.”

>