1Omusajja bwʼanaawasanga omukazi, naye oluvannyuma nʼamukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bwʼatyo nʼamuwandiikira ebbaluwa eyʼokumugoba, nʼagimukwasa, nʼamugoba mu nnyumba ye,
2omukazi oyo anaayinzanga okwefunira omusajja omulala nʼamufumbirwa.
3Omusajja ono owookubiri naye bwʼanaamukyawanga nʼamuwandiikira ebbaluwa eyʼokumugoba, nʼagimukwasa, nʼamugoba mu nnyumba ye, oba omusajja oyo owookubiri bwʼanaafanga;
4bba eyasooka, eyali amugobye takkirizibwenga kuddamu kumuwasa kuba mukazi we, kubanga omukazi oyo anaabanga amaze okwebaka nʼomusajja omulala. Ekyo kinaabanga kya kivve mu maaso ga Mukama. Totwalanga kibi mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa okubeera obutaka bwo obwʼenkalakkalira.
5Omusajja bwʼanaabanga yaakawasa taalondebwenga kugenda kutabaala oba okuweebwa omulimu omulala omunene ngʼogwo. Anaasigalanga mu maka ge okumala ebbanga lya mwaka mulamba ngʼasanyusa mukazi we gwʼanaabanga awasizza.
6Omuntu bwʼawolanga munne nʼamusaba omusingo, oba akakalu, tamuggyangako lubengo oba enso ngʼomusingo oba akakalu, kubanga mu musingo ngʼogwo, aba atwaliddemu obulamu bwa munne.
7Omuntu bwʼanaakwatibwanga ngʼawamba, obanga atunda Omuyisirayiri munne mu buddu, kale omuwambi anattibwanga. Bwʼotyo bwʼonoomalangamu ekibi wakati mu mmwe.
8Bwe wanaagwangawo obulwadde obwʼolususu ngʼobwʼebigenge, weegenderezanga nnyo, nʼogonderanga ebyo Abaleevi, bakabona, bye banaabalagiranga okukola, nga bwe mbalagidde.
9Ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Miryamu nga muli mu lugendo lwammwe nga muva mu Misiri.
10Bwʼowolanga munno ekintu ekyʼengeri yonna, toyingiranga mu nnyumba ya munno oyo okunonamu omusingo.
11Ggwe awoze onaabeeranga wabweru nʼolindirira oyo gwʼonoobanga owoze, okukuleetera omusingo ogwo.
12Gwʼowoze bwʼanaabanga omwavu, ekyambalo kyʼanaabanga akuwadde ngʼomusingo, tosulanga nakyo.
13Enjuba bwʼeneebanga yaakagwa, onookiddizanga munno oyo alyoke akyebikke ekiro nga yeebase. Bwʼatyo anaakwebazanga era kinaabanga kikolwa kya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda wo.
14Toyiikirizanga mwavu nʼomupakasi ali mu kwetaaga, nʼolwawo okumusasula empeera ye; ne bwʼanaabanga Omuyisirayiri munno oba owʼokubannamawanga abanaabeeranga mu nsi yo nga basula mu kimu ku bibuga byo.
15Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ngʼenjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu nʼomutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bwʼonoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira Mukama Katonda nʼakuloopayo, bwʼotyo onoogwanga mu musango ogwʼekibi.
16Bakitaabwe bʼabaana tebattibwenga nga babalanganga abaana baabwe, nʼabaana tebattibwenga nga babalanganga bakitaabwe; buli omu anattibwanga ngʼalangibwanga ekibi kye ye yennyini.
17Bannamawanga bʼonoobeeranga nabo, nʼabaana bamulekwa, obasaliranga emisango gyabwe nʼobwenkanya, era totwalanga kyambalo kya nnamwandu ngʼomusingo.
18Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu Misiri, naye Mukama Katonda wo nʼakununulayo. Kyenva nkulagira okukolanga bwʼotyo.
19Bwʼonookungulanga ebibala mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa mu nnimiro, toddangayo kukikima. Onookirekeranga omunnaggwanga oba omwana omufuuzi oba nnamwandu; bwʼatyo Mukama alyoke akuwenga omukisa mu byonna byʼonookolanga.
20Bwʼonookubanga emizeeyituuni okuva ku miti gyo, toddangayo ku matabi mulundi gwakubiri okumalirako ddala ebibala ebinaabanga bisigaddeko. Ebyo binaabanga bya bannamawanga, nʼabaana bamulekwa ne bannamwandu.
21Bwʼonookungulanga emizabbibu okuva mu nnimiro yo, toddangamu mulundi gwakubiri. Ebibala ebinaabanga bisigaddeko onoobirekeranga bannamawanga, ne bamulekwa ne bannamwandu.
22Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi eyʼe Misiri; kyenva nkulagira okukolanga bwʼotyo.