1Abantu babiri bwe banaabanga nʼenkaayana, ensonga zaabwe ne bazitwala mu mbuga zʼamateeka, abalamuzi ne babasalirawo, banaalangiriranga asinze nʼoyo gwe gusinze.
2Singa oyo gwe gunaasiŋŋanga anaabanga asaanira okukubwangamu obuga, omulamuzi anaamugalamizanga wansi nʼakubirwa mu maaso ge omuwendo gwʼobuga obuggya mu musango gwʼanaabanga azzizza,
3
4
5
6Omwana owoobulenzi gwʼanaasookanga okuzaala yʼanaasikiranga erinnya lya muganda we omugenzi, bwe lityo erinnya lyʼomugenzi ne litasangulwawo mu Isirayiri.
7Naye omusajja bwʼanaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga eri abakulembeze abakulu abʼomu kibuga kye, ku wankaaki, nʼabagamba nti, “Muganda wa baze agaanye okuwangaaza erinnya lya muganda we mu Isirayiri. Kubanga agaanye okutuukiriza gye ndi obuvunaanyizibwa bwʼalina ku muganda we.”
8Abakulembeze abakulu bʼomu kibuga banaayitanga omusajja oyo ne boogera naye. Bwʼanaakakanyalanga nʼagamba nti, “Saagala kumuwasa,”
9kale, nnamwandu wa muganda we anaatambulanga nʼalaga awali omusajja oyo mu maaso gʼabakulembeze abakulu bʼomu kibuga, anaamwambulangamu engatto mu kigere kye ekimu, era anaamuwandiranga amalusu mu maaso nʼayogera nti, “Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku musajja atazimba lunyiriri lwa luggya lwa muganda we.”
10Oluggya lwʼomusajja oyo lunaamanyibwanga mu Isirayiri ngʼOluggya lwʼOmwambule Engatto.
11Bwe wanaabangawo abasajja babiri abalwana, mukazi wʼomu bwʼanajjanga okutaasa bba ku mulabe we nʼamukwata ebitundu bye ebyʼekyama,
12omutemangako omukono gwe. Tomusaasiranga.
13Tossanga mu nsawo zo mayinja gapima ga ngeri bbiri ezʼenjawulo, ngʼerimu lizitowa, kyokka nga linnaalyo liwewuka.
14Tobeeranga na bipima bya ngeri bbiri ebyʼenjawulo, ngʼekimu kinene, kyokka nga kinnaakyo kitono.
15Kikugwanira obeerenga nʼamayinja agapima obuzito obutuufu, era nʼebipima ebirala ebya mazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ngʼoli mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa.
16Kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala abo bonna abakola ebyo ebitali bya bwesigwa.
17Teweerabiranga Abamaleki bye baakukola bwe wali mu lugendo lwo ngʼova mu Misiri.
18Bwe wali okooye nnyo nga nʼamaanyi gakuweddemu, baakusanga mu lugendo lwo olwo, ne balumba abo bonna abaali basembyeyo emabega wo ne babatta; Katonda nga tebamutya.
19Bwʼolimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa okubeera obusika bwo obwʼenkalakkalira, ngʼakumazeeko nʼabalabe bo bonna ku njuyi zonna, ngʼowummudde, ozikiririzanga ddala Abamaleki nʼobamalirawo ddala bonna wansi wʼeggulu, ne watabaawo baliddayo kubajjukira nti baali babaddewo. Ekyo tokyerabiranga.