Ekyamateeka Olwokubiri 26:1-19 LGCB2014 - Bible AI

1Awo olulituuka bwʼomalanga okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wo gyʼakuwa okubeera obusika bwo obwʼenkalakkalira, ngʼomaze okugyefunira era ngʼotebenkedde bulungi,

2oddiranga ebimu ku bibala ebibereberye byʼoliggya mu makungula agalisooka okuva mu ttaka eryʼoku nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa, nʼobiteeka mu kibbo. Kale nno obireetanga mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye.

3Ogambanga kabona alibeera mu kisanja mu kiseera ekyo nti, “Njatula leero eri Mukama Katonda wo nti Ntuuse mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.”

4Kabona aliggya ekibbo mu mikono gyo nʼakitereeza mu maaso gʼekyoto kya Mukama Katonda wo.

5Kale nno oliyatula mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Jjajjaffe[13] yali mutambuze Omusuuli, nʼaserengeta mu Misiri nʼabantu be yali nabo abatono, ne babeera eyo, ne bafuukamu eggwanga ekkulu eryʼamaanyi era nga lirimu abantu bangi nnyo.

6Naye Abamisiri ne batuyisa bubi, ne batubonyaabonya, nga batukozesa emirimu emikakanyavu.

7Bwe tutyo ne tukaabirira Mukama, Katonda wa bajjajjaffe; Katonda nʼawulira eddoboozi lyaffe, nʼalaba okubonaabona kwaffe, nʼokutegana kwaffe, nʼokunyigirizibwa kwaffe kwonna.

8Bwʼatyo Mukama nʼatuggya mu Misiri nʼomukono gwe ogwʼamaanyi gwe yagolola, nʼobuyinza bwe obwʼentiisa, nʼobubonero, nʼebyamagero ebyʼekitalo.

9Yatuleeta mu kifo kino nʼatuwa ensi eno, ensi omukulukutira amata nʼomubisi gwʼenjuki.

10Bwe ntyo ndeese gyʼoli ebibala ebibereberye ebiva mu ttaka eryʼomu nsi gyʼompadde, Ayi Mukama.” Olibiteeka mu maaso ga Mukama Katonda wo nʼovuunama mu maaso ge.

11Kale nno, ggwe awamu nʼAbaleevi, ne bannamawanga abanaabeeranga mu mmwe, onoojaguzanga ngʼosanyukira ebirungi byonna, Mukama Katonda wo byʼanaabanga akuwadde ggwe nʼamaka go gonna.

12Mu mwaka ogwokusatu bwʼonoomalanga okuggyako ku makungula go ekitundu ekyʼekkumi nʼokissa wabbali, kubanga ogwo gwe mwaka ogwʼekitundu ekyʼekkumi, onoddiranga ekitundu ekyo nʼokiwa Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, ne baliiranga mu bibuga byo ne bakkuta.

13Awo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Ekitundu ekimu ekyʼekkumi ekyatukuzibwa nkiggyayo mu maka gange ne nkigabira Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga byonna bye wandagira bwe biri. Sikyamyeko kuva ku biragiro byo newaakubadde okwerabira nʼekimu ku byo.

14Ekitundu ekyo sikiriddeeko nga ndi mu biseera ebyʼokukungubaga, wadde okukikwatako nga siri mulongoofu, era sikitoddeeko ne mpaayo eri abafu. Ŋŋondedde Mukama Katonda wange, ne nkola nga bwe yandagira.

15Otutunuulire ngʼosinziira mu kifo kyo ekitukuvu gyʼobeera mu ggulu, otuyiweko omukisa gwo ffe abantu bo Abayisirayiri nʼensi gyʼotuwadde nga bwe walayirira bajjajjaffe, nga yʼensi omukulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki.”

16Mukama Katonda wo akulagira leero okugonderanga amateeka ago gonna nʼebiragiro ebyo; noolwekyo obigonderanga byonna nʼomutima gwo gwonna nʼemmeeme yo yonna.

17Ku lunaku lwa leero oyatudde nga Mukama bwʼali Katonda wo, era nga naawe bwʼonootambuliranga mu makubo ge, era ngʼonookuumanga ebiragiro bye nʼamateeka ge gonna, era ngʼonoomugonderanga.

18Ku lunaku lwa leero Mukama alangiridde nga bwʼoli owuwe, eggwanga lye ku bubwe eryʼomuwendo omungi nga bwe yasuubiza, era nga ojjanga kukwatanga ebiragiro bye byonna.

19Alangiridde nga bwʼanaakujjuzanga ettendo nʼokwatiikirira nʼekitiibwa okusukkirira amawanga gonna ge yatonda, era ngʼolibeera eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yasuubiza.

>