Ekyamateeka Olwokubiri 27:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Musa ngʼali nʼabakulu abakulembeze ba Isirayiri nʼalagira abantu nti, “Ebiragiro byonna bye mbategeeza leero mubikuumenga.

2 Bwe mumalanga okusomoka omugga Yoludaani nʼoyingira mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa, oddiranga amayinja amanene nʼogategeka nʼogakubako omuyiko ogwʼennoni ngʼetabuddwamu omusenyu.

3Ogawandiikangako ebigambo bino byonna ebyʼamateeka, ngʼomaze okusomoka, ngʼoyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa, yʼensi omukulukutira amata nʼomubisi gwʼenjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.

4Bwʼotyo, bwʼolimala okusomoka omugga Yoludaani, otegekanga amayinja ago ku Lusozi Ebali nga bwe mbalagira kaakano, era ogakubangako omuyiko ogwʼomusenyu nga gutabuddwamu ennoni.

5 Era Mukama Katonda wo olimuzimbira eyo ekyoto nʼamayinja amalamba agatali matemeko na kyuma.

6Olizimbira eyo Mukama Katonda wo ekyoto nʼamayinja amalamba nʼoweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo.

7Oliwaayo ebiweebwayo olwʼemirembe, nʼobiriira eyo ngʼosanyukira mu maaso ga Mukama Katonda wo.

8Era ku mayinja ago gʼoliba otegese oliwandiikako nʼobwegendereza ebigambo byonna ebyʼamateeka gano.”

9Awo Musa ngʼali nʼAbaleevi, bakabona, nʼagamba Abayisirayiri bonna nti, “Sirika owulire ggwe Isirayiri! Ku lunaku lwa leero lwennyini ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo.

10Noolwekyo ogonderanga Mukama Katonda wo nʼokwatanga amateeka ge nʼebiragiro bye, bye nkulagira leero.”

11Ku lunaku lwe lumu Musa yakuutira abantu bwʼati nti,

12 Bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, abʼomu bika bino baliyimirira ku Lusozi Gerizimu ne basabira abantu omukisa: Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini.

13Ate abʼomu bika bino baliyimirira ku Lusozi Ebali ne balangirira ebikolimo: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni, ne Ddaani, ne Nafutaali.

14Awo Abaleevi balirangirira nʼeddoboozi ddene eri abantu bonna Abayisirayiri nti,

15“Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ngʼekyo kyonna Mukama kyʼakyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo nʼabaako ne wakiyimiriza mu kyama.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

16“Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

17“Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

18“Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe wʼamaaso mu kkubo ettuufu nʼamubuza.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

19“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

20“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.” Abantu bonna ne baddamu nti “Amiina.”

21“Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba nʼensolo.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

22“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

23“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

24“Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

25“Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

26 “Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.” Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

>