Ekyamateeka Olwokubiri 28:1-68 LGCB2014 - Bible AI

1Bwʼonoogonderanga Mukama Katonda wo nʼokwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza nʼakuteeka waggulu wʼamawanga gonna agʼoku nsi.

2Emikisa gino gyonna onoogifunanga nʼobeeranga nagyo, bwʼonoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo nʼomugonderanga:

3Onooweebwanga omukisa bwʼonoobeeranga mu kibuga ne bwʼonoobeeranga mu kyalo.

4Abaana abʼomu nda yo banaaweebwanga omukisa, nʼebisimbe ebyʼomu ttaka lyo, nʼebisibo byo ebinaazaalibwanga, Ennyana zʼente ezʼamagana go, nʼobwana bwʼendiga ezʼebisibo byo.

5Ekibbo kyo mwʼonookuŋŋaanyizanga, nʼolutiba lwo mwʼonoogoyeranga nabyo binaabanga nʼomukisa.

6Onoobanga nʼomukisa ngʼoyingira era onoobanga nʼomukisa ngʼofuluma.

7Mukama anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa.

8Mukama anaawanga amawanika go omukisa, ne buli kyʼonookwatangako engalo zo okukikola anaakiwanga omukisa. Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ngʼoli mu nsi gyʼakuwa.

9Mukama agenda kukufuula eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakusuubiza nʼekirayiro, bwʼonookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo nʼotambuliranga mu makubo ge.

10Kale nno abantu abʼomu mawanga gonna agʼensi balitegeera nga bwʼoyitibwa erinnya lya Mukama era banaakutyanga.

11Mukama anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde eryʼenda yo, ne mu baana abʼebisibo byo byʼonoolundanga, ne mu bibala ebyʼomu ttaka lyo, ngʼoli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.

12Mukama alikuggulirawo eggwanika lye eryʼobugagga bwe eryʼeggulu, nʼatonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna kyʼonookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako nʼakatono.

13Mukama anaakufuulanga mutwe so si mukira. Bwʼonoogonderanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkutegeeza leero, nʼobigobereranga nʼobwegendereza, onoobanga ku ntikko waggulu, so tookooberenga.

14Tokyamanga kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, ngʼoleka ebiragiro bino bye nkutegeeza leero, nʼogobereranga bakatonda abalala nʼobaweerezanga.

15Awo olunaatuukanga bwʼotoogonderenga ddoboozi lya Mukama Katonda wo, nʼotokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe:

16Onookolimirwanga mu kibuga nʼokolimirwanga ne mu kyalo.

17Ekibbo kyo mwʼonookuŋŋaanyirizanga nʼolutiba lwo mwʼonoogoyeranga binaakolimirwanga.

18Abaana bʼenda yo banaakolimirwanga, nʼekibala kyʼettaka lyo, nʼennyana zʼamagana go, nʼobwana bwʼebisibo byo byonna binaakolimirwanga.

19Onookolimirwanga ngʼoyingira era onookolimirwanga ngʼofuluma.

20Mukama anaakusindikiranga ebikolimo, nʼokutabukatabuka, nʼokunenyezebwa mu buli kintu kyonna kyʼonoogezangako okukola, okutuusa lwʼolizikirizibwa nʼosaanawo mangu nnyo olwʼebikolwa byo ebibi, olwokubanga onoobanga omusenguse.

21Mukama alikulwaza olumbe olutawona olwʼolukonvuba, okutuusa lwe lulikumalawo mu nsi gyʼogenda okuyingiramu ogirye.

22Mukama alikulwaza akafuba, nʼomusujja nʼokubugujja. Era alikusindikira ebbugumu eryokya ennyo, nʼekyeya, nʼekitala, nʼokugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lwʼolizikirira.

23Eggulu waggulu wʼomutwe gwo liribeera ngʼekikomo, nʼettaka wansi wo liriba ngʼekyuma.

24Mukama alifuula enkuba yʼomu nsi yo olufufugge, nʼenfuufu yokka yʼeneekuyiikiranga okuva waggulu mu bire, okutuusa lwʼolizikirizibwa.

25Mukama anaakulekeranga abalabe bo ne bakuwangulanga. Onoobalumbiranga mu kkubo limu, kyokka nʼobadduka ngʼobunye emiwabo mu makubo musanvu. Olifuuka kyakikangabwa mu maaso gʼamawanga gonna agʼoku nsi.

26Omulambo gwo gulifuuka mmere ya nnyonyi zonna ezʼomu bbanga, nʼeri ensolo ezʼoku nsi, era tewaabeerengawo nʼomu anaazigugobangako.

27Mukama anaakulwazanga amayute gʼe Misiri, nʼebizimba, nʼamabwa, nʼobuwere, byʼotoowonyezebwenga.

28Mukama anaakusuulanga eddalu, anaakuzibanga amaaso, nʼokukutabulatabulanga mu ndowooza yo.

29Mu ttuntu onoowammantanga ngʼomuzibe wʼamaaso abeera mu kizikiza obudde bwe bwonna. Buli kyʼonookolanga onoolemwanga okukituukiriza; onoovumibwanga era onoobbibwanga buli kakedde, naye nga tewaabengawo akudduukirira.

30Onooyogerezanga omukazi, nʼosembereranga nʼokumuwasa, naye omusajja omulala anaakumutwalangako nʼasulanga naye. Oneezimbiranga ennyumba naye toogisulengamu. Oneesimbiranga ennimiro zʼemizabbibu, naye toolyenga ku bibala byamu.

31Sseddume zo zinattirwanga mu maaso go, naye toolyenga ku nnyama zaazo. Endogoyi zo zinabbirwanga mu maaso go, so tebaazikuddizenga. Endiga zo zinaaweebwanga abalabe bo, ne watabaawo adduukirira okuzikuddiza.

32Batabani bo ne bawala bo banaagabibwanga mu baamawanga amalala ngʼolaba; onoobanoonyanga buli lunaku okutuusa nʼamaaso lwe ganaakumyukanga, naye nga tolina maanyi kubaako na kya kukola.

33Abʼeggwanga lyʼotomanyi banaalyanga ebibala byʼettaka lyo byʼonoobanga weerimidde, toobengako na kya kukola wabula okutulugunyizibwanga buli kiseera.

34Amaaso go bye ganaalabanga binaakusuulanga eddalu.

35Mukama anaakulwazanga amayute ku maviivi ne ku magulu, agataayinzenga kuwonyezebwa, era ne gasaasaananga okuva mu bigere okutuuka ku kawumpo kʼomutwe.

36Mukama alikuleka, ggwe ne kabaka wo gwʼonoobanga weerondedde nʼotwalibwa mu ggwanga eddala lyʼotowulirangako, ne bajjajjaabo lye bataamanya, nʼoweererezanga eyo bakatonda abalala abʼemiti nʼamayinja.

37Olifuuka ekintu ekyesisiwaza, ekinaanyoomebwanga era ekinaasekererwanga mu mawanga gonna Mukama gyʼanaabanga akulazizza.

38Onoosiganga ensigo nnyingi mu nnimiro yo, kyokka onookungulangamu katono, kubanga enzige zinaalyanga ebibala byo byonna.

39Onoosimbanga essamba zʼemizabbibu nʼogisaliranga bulungi, naye toonywenga ku wayini wadde okukuŋŋaanya ebibala bya zabbibu, kubanga ensiriŋŋanyi zinaabiryanga.

40Onoobeeranga nʼemiti egyʼemizeeyituuni mu nsi yo yonna, naye togenda kukozesanga ku mafuta gaagyo, kubanga emizeeyituuni gyo ginaakunkumukanga ne gigwa wansi.

41Olizaala abaana aboobulenzi nʼaboobuwala, naye toosigalenga nabo, kubanga banaatwalibwanga mu busibe.

42Enzige zineefuganga emiti gyo gyonna nʼebibala ebyʼomu ttaka lyo.

43Bannamawanga bʼonoobeeranga nabo bagenda kukulaakulananga balinnye waggulu okukusinganga, nga ggwe weeyongeranga kukka bussi wansi.

44Banaakuwolanga, naye ggwe toobawolenga. Be banaabanga omutwe naye ggwe onoobanga mukira.

45Ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga ne bikulondoolanga ne bikutuukako okutuusa lwe binaakuzikirizanga olwʼobutagonderanga Mukama Katonda wo, nʼotokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye yakulagiranga.

46Binaabeeranga mu ggwe ngʼakabonero era ekyewuunyisa gyʼoli nʼeri bazzukulu bo emirembe gyonna.

47Kubanga bwe wabeeranga obulungi nʼebintu ebingi, tewaweerezanga Mukama Katonda wo nʼomutima ogujjudde essanyu.

48Noolwekyo ngʼoli mu njala ne mu nnyonta, ngʼoli bwereere, ngʼoli mwavu lunkupe, ojjanga kuweerezanga balabe bo, Mukama bʼanaakusindikiranga okulwana naawe! Anaakwambazanga mu bulago bwo ekikoligo ekyʼekyuma okutuusa lwʼalikuzikiririza ddala.

49Mukama alikuleetera eggwanga eririva ewala ennyo, ku nkomerero yʼensi, ne likulumba, nga likukkako ngʼempungu bwʼeva waggulu nʼekka nʼamaanyi ku nsi; liriba eggwanga ngʼolulimi lwalyo tolutegeera.

50Liribeera eggwanga erijjudde obukambwe mu maaso, eritassaamu kitiibwa bantu bakulu wadde okusaasira abato.

51Balirya abaana bʼebisolo byʼomu malundiro go, nʼebibala ebyʼomu ttaka lyo okutuusa lwʼolizikirizibwa. Tebalikulekerawo ku mmere ya mpeke, wadde ku wayini oba ku mafuta, wadde ku nnyana ezʼebiraalo byo, oba ku baana bʼendiga abʼebisibo byo, okutuusa lwʼolizikirira.

52Banaazingizanga ebibuga byo byonna mu nsi yo yonna okutuusa ebisenge ebiwanvu ebyʼebigo bye weesiga lwe birigwa wansi. Banaazingizanga ebibuga byonna mu nsi yonna Mukama Katonda wo gyʼakuwa.

53Olwʼokubonaabona abalabe bo kwe banaakutuusangako nga bakuzingizza, onoolyanga ebibala byʼolubuto lwo, ennyama ya batabani bo ne bawala bo Mukama Katonda wo bʼanaabanga akuwadde.

54Omusajja asingira ddala obuntubulamu era omuwombeefu mu mmwe, taasaasirenga na muganda we yennyini, oba mukyala we omwagalwa, oba abaana be abanaabanga bakyasigaddewo;

55taawengako nʼomu ku nnyama yʼabaana be bʼanaabanga alya. Kubanga nga takyalina kyʼasigazza kyonna mu kubonaabona okungi omulabe wo kwʼanaabanga akutuusizzaako ngʼakuzingirizza mu bibuga byo byonna.

56Omukazi asinga obuntubulamu nʼeggonjebwa mu mmwe, nga mwenaanyi nnyo, ataŋŋanga na kulinnyisa kigere kye ku ttaka nga kyereere, taamanyisenga bba omwagalwa, wadde mutabani we, oba muwala we,

57 ku mwana gwʼanaabanga yʼakazaala owʼomu lubuto lwe, nʼabaana bʼanaazaalanga. Kubanga anaabanga ategese okubalyanga mu nkukutu olwʼokubulwako ekyokulya ekirala mu biseera ebyʼokuzingizibwa era ebyʼennaku enzibu ennyo, omulabe wo byʼanaabanga akutuusizzaako mu bibuga byo.

58Bwʼotoogonderenga na bwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino, nʼototya era nʼotossaamu kitiibwa erinnya lino eryʼettendo era eryʼentiisa, eriyitibwa: MUKAMA KATONDA WO,

59kale nno, Mukama anaakuweerezanga endwadde enkambwe ennyo, eri ggwe nʼeri ezzadde lyo; endwadde ezʼolutentezi era enkambwe ennyo ezʼolukonvuba.

60Anaakuleeteranga endwadde zonna ezʼe Misiri, ezaakutiisa ennyo, ne zikwezingangako.

61Era Mukama anaakuleeteranga endwadde eza buli ngeri, nʼebibonoobono ebitawandiikiddwa mu Kitabo ekyʼAmateeka gano, okutuusa lwʼolizikirizibwa.

62Era mulisigala ngʼomuwendo gwammwe gusse nnyo wansi, songa mwali ngʼemmunyeenye ezʼoku ggulu olwʼobungi bwammwe; lwa kubanga tewagonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wo.

63Nga bwe kyasanyusanga ennyo Mukama okubagaggawazanga nʼokubaazanga mweyongerenga obungi, bwe kityo kinaamusanyusanga okubaavuwazanga nʼokubazikirizanga. Olisimbulwa nʼoggibwa mu nsi gyʼogenda okuyingira okugirya.

64Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olwʼensi gyʼetandikira, okutuuka ku ludda olulala gyʼekoma. Eyo gyʼonoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako.

65Mu mawanga ago togenda kuweereraweererangayo wadde ebigere byo okufunirangayo ekiwummulo. Eyo, Mukama anaakuweerangayo omutima ogujugumira, nʼamaaso agaagala okuziba olwʼokujulirira, nʼemmeeme eweddemu essuubi.

66Onoobanga mu kubuusabuusa buli kaseera, ngʼojjudde okutya emisana nʼekiro, ngʼobulamu bwo tobwekakasa.

67Mu makya onoogambanga nti, “Singa nno bubadde kiro!” Ate ekiro ngʼogamba nti, “Singa nno bubadde makya!” olwʼokutya okunajjulanga mu mutima gwo, nʼebyo amaaso go bye ganaalabanga.

68Mukama anaakuzzangayo mu Misiri mu kyombo, ku lugendo lwe nakugaana okuddayo okutambula. Ngʼoli eyo oneewangayo weetunde ngʼomuddu omusajja oba ngʼomuddu omukazi, naye toofunengayo muntu nʼomu akugula.

>