Ekyamateeka Olwokubiri 29:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Bino bye bigambo byʼendagaano Mukama Katonda gye yalagira Musa okukola nʼabaana ba Isirayiri nga bali mu nsi ya Mowaabu, ngʼegattibwa ku ndagaano gye yali akoze nabo ku Kolebu.

2Awo Musa nʼayita Abayisirayiri bonna nʼabagamba nti, Mwalaba nʼamaaso gammwe ebyo byonna Mukama Katonda bye yakolera mu nsi yʼe Misiri ku Falaawo ne ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna.

3Walaba nʼamaaso go ebigezo ebinene, nʼobubonero obwʼebyamagero, nʼebyewuunyisa ebikulu.

4Naye nʼokutuusa ku lunaku lwa leero Mukama tabawanga mutima ogutegeera, oba amaaso agalaba, oba amatu agawulira.

5Bwe nabakulembera okumala emyaka amakumi ana mu ddungu engoye zammwe tezaakaddiwako, nʼengatto yʼomu kigere kyo teyakaddiwa.

6Temwalya ku mugaati wadde okunywa ku wayini, oba ku kyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza. Ekyo nakikola mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.

7 Bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka wʼe Kesuboni, ne Ogi kabaka wʼe Basani, ne basituka okutulwanyisa, naye ne tubawangula.

8Twatwala ensi yaabwe, ne tugigabira Abalewubeeni, nʼAbagaadi, nʼekitundu kyʼekika ekyʼAbamanase, okuba obutaka bwabwe obwʼensikirano.

9Noolwekyo mukwatenga ebigambo byʼendagaano eno nʼobwegendereza, mulyoke muwangulenga mu buli kimu kye munaakolanga.

10Mukuŋŋaanye wano leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli nʼabakulembeze bʼebika byammwe, nʼabakulu bammwe abakulembeze, nʼabafuzi bammwe, nʼabasajja bonna aba Isirayiri,

11nʼabaana bammwe abato, ne bakazi bammwe, ne munnaggwanga asula awamu naawe mu lusiisira lwo, okukutyabira enku, nʼokukukimira amazzi.

12Oli wano okukola endagaano ne Mukama Katonda wo, ngʼekirayiro gyʼali, Mukama Katonda wo gyʼakola naawe leero;

13alyoke akukakase ngʼakunyweza leero okubeeranga eggwanga lye, naye nga ye Katonda wo, nga bwe yakusuubiza, era nga bwe yalayirira bakadde bo: Ibulayimu ne Isaaka.

14Endagaano eno gye nkola, ngʼeriko nʼekirayiro kyayo,

15sigikola nammwe abayimiridde wano naffe leero mwekka, wabula ngikola wamu nʼoyo atali wano naffe leero.

16Mujjukira bulungi nga bwe twali mu nsi yʼe Misiri, ne bwe twajjanga tuyita wakati mu mawanga okutuukira ddala wano.

17Mwalabanga ebintu ebyʼekikaafiiri, nga mwe mwalinga ebifaananyi ebibajje mu miti nʼebiwoole mu mayinja ne mu ffeeza ne mu zaabu.

18Mukakasize ddala leero nga mu maka gammwe oba mu bika byammwe temulinaamu musajja oba mukazi nʼomu akyamizza omutima gwe okuva ku Mukama Katonda waffe agende asinze bakatonda bali abalala abamawanga ago. Mukakasize ddala nga mu mmwe temuliimu kikolo okuyinza okukula obutwa obwʼengeri eyo obukaawa ngʼomususa.

19Omuntu owʼengeri ngʼeyo ngʼawulidde ebigambo ebyʼekikolimo kino nʼamala yeeyibaala, ne yeetukuza ku bubwe yekka, nʼalowooza munda ye nti, “Nzija kubeera bulungi newaakubadde nga mmaliridde okukwata ekkubo eryange eryʼobujeemu,” ekyo kinaaletanga akacwano ku ttaka erinnyogovu obulungi ne ku kkalu.

20Mukama taamusonyiwenga, kubanga obusungu bwa Mukama nʼekiruyi kye binaabuubuukiranga ku muntu oyo. Ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino binaamukkangako, era Mukama alisangula erinnya lye nʼaliggya wansi wʼeggulu.

21Mukama anaamwawulanga nʼamuggya mu bika byonna ebya Isirayiri nʼamubonereza nnyo, nga bwe kiri mu bikolimo byonna ebyʼendagaano ebiwandiikiddwa mu Kitabo kyʼAmateeka kino.

22Abaana bammwe abaliddawo ne bannamawanga abaliva mu nsi ezeewala baliraba ekibonerezo ekiriba kigudde ku nsi nʼobulwadde Mukama bwʼaliba aleese ku ttaka lyʼensi.

23Ettaka liriba lyonoonese nga lya munnyo nʼamayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako nʼekimerako, nga nʼomuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ngʼokuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza mu busungu bwe obungi.

24Amawanga galyebuuza nga geewunya nti, “Lwaki Mukama akoze ekintu kino, nʼakikola nʼobusungu obungi butyo?”

25Na kino kye kiriba ekyʼokuddamu nti, “Kubanga abantu bano basudde eri endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, endagaano gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi yʼe Misiri.

26Baagenda ne basinza bakatonda abalala, ne babaweereza, bakatonda be baali batamanyi, era Katonda waabwe be yali tabawadde.

27Bwe butyo obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku nsi eyo, nʼagireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino.

28Mukama nʼabasiguukulula mu nsi yaabwe ngʼaliko ekiruyi, era ngʼajjudde obusungu bungi, nʼabakasuka mu nsi endala, nga bwe kiri leero.”

29Ebintu ebyʼekyama bya Mukama Katonda waffe, naye ebyo ebyabikkulibwa bye byaffe nʼabaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tugonderenga ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.

>