1Awo ne tukyuka ne twambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi, Kabaka wʼe Basani, nʼafuluma nʼeggye lye lyonna nʼajja okututabaala mu lutalo olwalwanirwa mu Ederei.
2Naye Mukama nʼaŋŋamba nti, “Tomutya, kubanga oyo mmugabudde mu mukono gwo ye nʼeggye lye lyonna nʼensi ye. Kale, mukole nga bwe wakola Sikoni Kabaka wʼAbamoli abaabeeranga mu Kesuboni.”
3Bwʼatyo Mukama Katonda waffe nʼagabula ne Ogi Kabaka wʼe Basani mu mukono gwaffe awamu nʼeggye lye lyonna. Ne tubatta bonna obutalekaawo muntu nʼomu.
4Era mu kiseera ekyo ne tuwamba ebibuga bye byonna ne tubitwala. Ebibuga enkaaga byonna tekwaliko kibuga na kimu kye tutaabatwalako, ne tutwala amatwale gonna aga Alugobu agʼobwakabaka bwa Ogi mu Basani.
5Ebibuga ebyo byonna byali bizimbiddwa mu bigo ebyʼebisenge ebiwanvu, nʼemizigo egyʼemitayimbwa, ngʼokwo kwʼogatta nʼobubuga obwʼomu byalo obutaaliko bisenge.
6Twabizikiririza ddala byonna nga bwe twakola ebya Sikoni kabaka wʼe Kesuboni, nga tuzikiriza buli kibuga nʼabasajja bonna abaakirimu nʼabakazi nʼabaana abato bonna.
7Naye ente ne tuzeetwalira awamu nʼomunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba.
8Bwe tutyo mu kiseera ekyo ne tutwala ebitundu byʼensi byonna ebyali ebya bakabaka bombi abʼAbamoli ebyali ku luuyi lwʼebuvanjuba olwʼomugga Yoludaani; okuva ku Kiwonvu Alunoni okutuuka ku Lusozi Kerumooni.
9Abasidoni nga Kerumooni baluyita Siriyooni, ate bo Abamoli nga baluyita Seniri.
10Twatwala ebibuga byonna ebyali mu kitundu ekya waggulu ekitereevu ne Gireyaadi yonna ne Basani yonna okutuuka ku Saleka ne Ederei, ngʼebyo byali bibuga ebyʼomu bwakabaka bwa Ogi mu Basani.
11Ogi kabaka wa Basani ye yali asigaddewo ku Balefa. Ekitanda kye kyakolebwa mu kyuma, nga kiriko mita nnya obuwanvu, nʼobugazi bwa mita emu nʼobutundu munaana. Kikyaliyo mu Raba ekyʼAbamoni.
12Bwe twamala okwetwalira ebitundu byʼensi ebyo bye twawangula mu kaseera ako, ne ngabira Abalewubeeni nʼAbagaadi ekitundu ekyo ekiri ku bukiikakkono okuva ku Aloweri nʼokugendera ku mukugiro gwʼEkiwonvu kya Alunoni, nʼekitundu ekyamakkati ekyʼensi yʼensozi eya Gireyaadi, awamu nʼebibuga byamu.
13Ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, nʼobwakabaka bwa Ogi obwa Basani omugendera ne Alugabu, ne mbigabira ekitundu kyʼekika kya Manase. Ekitundu kya Alugabu kyonna mu Basani, wonna nga wayitibwa nsi ya Balefa.
14Yayiri, ava mu Manase, yafuna ekitundu kyonna ekya Alugabu, era ye Basani, nga kyerambulula okutuukira ddala ku nsalo eyʼAbagesuli nʼAbamaakasi; nʼakibbulamu erinnya lye, nʼokutuusa leero ensi Basani eyitibwa Kavosu Yayiri.
15Gireyaadi nagigabira Makiri.
16Abalewubeeni nʼAbagaadi ne mbagabira ekitundu kyʼensi ekiva ku Gireyaadi okuserengeta mu Kiwonvu kya Alunoni, nga mu makkati gaakyo ye nsalo, nʼokutuukira ddala ku mugga Yaboki ogwʼensalo nʼAbamoni.
17Omugga Yoludaani nga ye nsalo eyʼebugwanjuba mu Alaba, okuviira ddala ku Kinneresi okutuuka ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja eyʼOmunnyo, wansi wʼolugulungujjo lwʼolusozi Pisuga ku luuyi olwʼebuvanjuba.
18Mu kiseera ekyo, mmwe abʼekika kya Lewubeeni, nʼekya Gaadi, nʼekitundu kyʼekika kya Manase, nabalagira nga mbagamba nti, “Mukama Katonda wammwe abawadde ekitundu kyʼensi kino okubeera obutaka bwammwe. Naye basajja bammwe bonna abʼamaanyi abazira nga beesibye ebyokulwanyisa, be balisooka baganda bammwe abaana ba Isirayiri okusomoka Yoludaani.
19Kyokka, bakazi bammwe, nʼabaana bammwe balisigala mu bibuga bye nabawa awamu nʼente zammwe ze mulina, ze mmanyi nga bwe ziri ennyingi,
20okutuusa nga baganda bammwe bamaze okwetwalira ensi eri emitala wʼomugga Yoludaani, Mukama Katonda wammwe gyʼabawa; Mukama alyoke awe baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bwe yakibawa. Oluvannyuma mulikomawo mu butaka bwammwe bwe nabagabira.”
21Mu kiseera ekyo ne ndagira Yoswa, ne mmugamba nti, “Ebyo byonna Mukama Katonda wammwe byakoze bakabaka abo ababiri obyerabiddeko nʼamaaso go gennyini. Bwʼatyo Mukama bwʼalikola obwakabaka bwonna obuli eyo gye mugenda.
22Temubatyanga; kubanga Mukama Katonda wammwe yennyini yʼanaabalwaniriranga.”
23Mu kiseera ekyo ne neegayirira Mukama nga njogera nti,
24“Ayi Mukama Katonda, otandise okundaga nze omuddu wo, omukono gwo ogwʼamaanyi nʼobukulu bwo obwʼekitiibwa. Kubanga katonda ki ali mu ggulu oba ali ku nsi asobola okukola ebyekyewuunyo bino byonna byʼokola, nʼemirimu egyʼamaanyi bwe gityo gyʼokola?
25Nkusaba, nsomoke omugga Yoludaani, ŋŋende ndabe ku nsi ennungi bwʼetyo eri emitala waagwo, ensi eyo eyʼensozi ezirabika obulungi, awamu ne Lebanooni.”
26Naye Mukama nʼansunguwalira nnyo ku lwa mmwe, bye namusaba nʼatabiwuliriza. Mukama Katonda nʼaŋŋamba nti, “Ebyo byʼoyogedde bikumale; toddayo kwogera gye ndi nate ku nsonga eyo.
27Yambuka waggulu ku ntikko yʼolusozi Pisuga, ositule amaaso go otunule ebugwanjuba, ne ku bukiikakkono, nʼebuvanjuba ne ku bukiikaddyo. Weerabireko ku nsi eyo nʼamaaso go gennyini, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yoludaani.
28Naye obuyinza bukwase Yoswa, omukuutire era omugumye afune amaanyi, kubanga yʼagenda okukulembera abantu bano nga basomoka, era ye alibasobozesa okulya ensi eyo gyʼojja okulaba, okubeera obutaka bwabwe.”
29Bwe tutyo ne tubeera awo mu kiwonvu okumpi ne Besu Peoli.