Ekyamateeka Olwokubiri 30:1-20 LGCB2014 - Bible AI

1Emikisa nʼebikolimo ebyo byonna bye nkutegeezezza, bwe binaakutuukangako nʼojjukiranga ngʼoli eyo mu nsi ezo zonna Mukama Katonda wo gyʼanaabanga akusaasaanyizza,

2nʼokyuka nʼodda eri Mukama Katonda wo, nʼomugonderanga, nʼabaana bo bonna, nʼomutima gwo gwonna, nʼemmeeme yo yonna, nga bwe nkulagira leero,

3kale Mukama Katonda wo anaakusaasiranga nʼakuzza mu mbeera yo ennungi eneekweyagazanga, ngʼakuwumbyewumbye okukuggya eyo gyʼanaabanga akusaasaanyirizza.

4Newaakubadde onoobanga owaŋŋangusiriddwa mu nsi esinga okubeera eyʼewala ennyo wansi wʼeggulu, Mukama Katonda wo anaakukuŋŋaanyangayo, nʼakuggyayo nʼakukomyawo.

5Mukama Katonda wo anaakukomyangawo mu nsi bajjajjaabo gye baafuna, naawe onoogifunanga. Alikugaggawaza era nʼakwaza nnyo okukira bajjajjaabo.

6Mukama Katonda wo alikomola omutima gwo, nʼomutima gwa bazzukulu bo, bwʼotyo oyagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼemmeeme yo yonna, olyoke obeerenga omulamu.

7Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo ne ku abo abanaakuyigganyanga.

8Bwʼotyo nʼoddamu okugonderanga Mukama Katonda ngʼokwata amateeka ge, ge nkulagira leero.

9Bwʼatyo Mukama Katonda wo alikugaggawaza mu buli kintu kyonna kyʼonookolanga, mu bibala ebyʼomubiri gwo, ne mu bibala ebyʼebisolo byo, ne mu bibala ebyʼettaka lyo. Mukama alisanyuka nnyo okukugaggawazanga nʼobeeranga bulungi, nga bwe kyamusanyusanga okugaggawazanga bajjajjaabo,

10ngʼogondeddenga Mukama Katonda wo, nʼokwatanga amateeka ge nʼebiragiro bye ebiwandiikiddwa mu Kitabo ekyʼAmateeka kino, nʼodda eri Mukama Katonda wo nʼomukyukiranga nʼomutima gwo gwonna, nʼemmeeme yo yonna.

11Etteeka lye nkulagira leero terisaana kukukaluubirira, kubanga terikuli wala nnyo.

12 Teriri mu ggulu, nʼokugamba ne kikugambisa nti, “Ani anaatulinnyirayo mu ggulu nʼatulireeterayo tulyoke tuliwulire tuligonderenga?”

13So teriri mitala wa nnyanja, olyoke ogambe nti, “Ani anaatusomokera ennyanja, alituleetere tuwulire bye ligamba, tuligondere?”

14Nedda, ekigambo kiri kumpi ddala ne wʼoli, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo, olyoke okigondere.

15Kale laba, olwa leero ntadde mu maaso go obulamu nʼokufa.

16Kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, awamu nʼokukwatanga amateeka ge nʼokugobereranga ebiragiro bye byonna. Bwʼonookolanga bwʼotyo ojjanga kuba mulamu era oyale, ne Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ngʼoli mu nsi gyʼoyingira okugifuna.

17Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga nʼotowulira, era bwʼonoosendebwasendebwanga okusinzanga bakatonda abalala nʼokubaweerezanga,

18mbalangirira leero nti, Mugenda kuzikirizibwa; era temuliwangaala mu nsi gyʼogenda okusomokera omugga Yoludaani okugiyingira okugifuna.

19Ku lunaku lwa leero nkoowoola eggulu nʼensi nga be bajulirwa bange, ku mmwe, abategedde nga ntadde mu maaso gammwe, obulamu nʼokufa; nʼemikisa nʼebikolimo. Kale nno londawo obulamu, olyoke obeerenga mulamu, ggwe nʼezzadde lyo:

20ngʼoyagalanga Mukama Katonda wo, ngʼowuliranga eddoboozi lye, era nga weekwatira ddala ku ye. Kubanga Mukama bwe bulamu bwo nʼokuwangaala; alyoke akuwenga emyaka mingi mu nsi Mukama gye yalayirira okugiwa bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo.

>