1Awo Musa nʼagenda nʼabuulira Isirayiri yonna ebigambo bino, nʼagamba nti,
2“Olwa leero mpezezza emyaka kikumi mu abiri egyʼobukulu; sikyalina maanyi kusobola kufuluma na kuyingira nga bwe njagala. Sikyasobola kubakulembera. Mukama Katonda antegeezezza nti, ‘Togenda kusomoka mugga guno Yoludaani.’
3Mukama Katonda wo yennyini yʼajja okukukulembera mu kusomoka. Ajja kuzikiriza amawanga ago agali emitala, nga naawe olaba, olyoke obatwaleko ensi yaabwe. Yoswa yennyini naye yajja okukukulembera mu kusomoka, nga Mukama bwe yagambye.
4Era nga Mukama Katonda bwe yakola Sikoni ne Ogi, bakabaka bʼAbamoli nʼensi yaabwe, nʼabazikiriza, ne bano bwʼalibakola.
5Mukama Katonda agenda kubagabula gye muli, era kiribagwanira okubakolako nga mugobererera ddala ebiragiro byange bye mbawadde nga bwe biri.
6Beera nʼamaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli wʼonoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga.”
7Awo Musa nʼatumya Yoswa nʼamugambira mu maaso ga Isirayiri yenna nti, “Beera wa maanyi era ogume omwoyo; kubanga gwʼojja okugenda nʼabantu bano mu nsi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjaabwe okugibawa; era gwʼogenda okugibasalirasaliramu ogibakwase okuba obusika bwabwe obwʼenkalakkalira.
8Mukama Katonda yennyini yʼajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka.”
9Awo Musa nʼawandiika amateeka ago, nʼagakwasa batabani ba Leevi, bakabona, abaasitulanga Essanduuko eyʼEndagaano eya Mukama Katonda, era nʼawaako nʼabakadde bonna abakulembeze bʼabaana ba Isirayiri.
10Musa nʼabalagira bwʼati nti, “Ku buli nkomerero ya myaka musanvu, mu mwaka omutegeke ogusonyiyirwamu amabanja, era nga yʼEmbaga eyʼEnsiisira,
11Isirayiri yenna nga bazze okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo kyʼaneeronderanga, onoosomeranga Isirayiri yenna amateeka gano gonna nga bawulira.
12Okuŋŋaanyanga
13Bwe batyo abaana baabwe abataamanyanga mateeka gano, balyoke bagawulire bayigenga okutyanga Mukama Katonda wammwe, obulamu bwammwe bwonna bwe mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugirya.”
14Awo Mukama nʼagamba Musa nti, “Obudde bwo obwʼokufa busembedde. Yita Yoswa, mujje mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.”
15Awo Mukama Katonda nʼalabikira mu Weema ngʼali mu mpagi eyʼekire; empagi eyʼekire nʼeyimirira waggulu wʼomulyango gwʼEweema.
16Mukama Katonda nʼagamba Musa nti, “Mu bbanga ttono ojja kugalamira ne bajjajjaabo. Olwo abantu bano nga batandika okusinzanga bakatonda abalala abalibeera mu bo, nga be bakatonda abʼomu nsi eyo mwe bajja okuyingira. Bagenda kunvaako bamenye endagaano gye nakola nabo.
17Ku lunaku olwo obusungu bwange bulibabuubuukirako, nange ndibakisa amaaso gange, ne babeera bangu okuzikirizibwa, era ebizibu bingi nʼemitawaana biribajjira. Ku lunaku olwo balyebuuza nti, ‘Emitawaana gino tegitutuseeko lwa kubanga Katonda waffe tali wakati mu ffe?’
18Ku lunaku olwo ndikwekera ddala amaaso gange olwʼebibi byonna bye banaabanga bakoze nga bakyukidde bakatonda abalala.
19“Kale nno kaakano wandiika oluyimba luno oluyigirize abaana ba Isirayiri, olubayimbisenga, lulyoke lubeerenga omujulizi wange ku baana ba Isirayiri.
20Kubanga bwe ndimala okubaleeta mu nsi omukulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki, gye nasuubiza bajjajjaabwe nga ngibalayirira, ne balya ne bakkuta ne bagejja, balikyukira bakatonda abalala ne babasinza nga babaweereza, ne bannyooma ne bamenya endagaano yange.
21Obubenje obwʼakabi bwe bunaabajjiranga, oluyimba luno lunaabasoomozanga ngʼomujulizi nga lubalumiriza, kubanga bazzukulu baabwe banaabanga bakyalulina mu kamwa kaabwe nga tebannalwerabira. Kubanga mmanyi bye balowooza okukola nga nʼokubatuusa sinnaba kubatuusa mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira.”
22Bwʼatyo, ku lunaku olwo, Musa nʼawandiika oluyimba luno nʼaluyigiriza abaana ba Isirayiri.
23
24Musa bwe yamala okuwandiika mu Kitabo ebigambo ebyʼamateeka gano, okubiggya ku ntandikwa okubituusa ku nkomerero,
25Musa nʼalagira Abaleevi abaasitulanga Essanduuko eyʼEndagaano eya Mukama, ngʼagamba nti,
26“Mutwale Ekitabo kyʼAmateeka kino mukiteeke awali Essanduuko eyʼEndagaano eya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga awo ngʼomujulirwa gyʼoli.
27Kubanga nkumanyi nga bwʼoli omujeemu era alina ensingo enkakanyavu. Obanga mubadde mujeemera Mukama Katonda nga nkyaliwo nammwe, kale nga mmaze okufa okujeema kwammwe tekuusingewo nnyo!
28Munkuŋŋaanyize wano abakadde bʼebika byammwe abakulembeze bammwe bonna, njogere ebigambo bino mu matu gaabwe nga bawulira; era mpita eggulu nʼensi bibeere abajulirwa okubalumiriza.
29Kubanga mmanyi nga bwe nnaamala okufa mujja kwefaafaaganyiza ddala nga mukyama okuleka ekkubo lye mbalagidde okukwatanga. Mu biseera ebijja emitawaana gijjanga kubajjira, nga mukoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda mulyoke mumusunguwaze olwʼebyo emikono gyammwe bye ginaabanga gikoze.”
30Awo Musa nʼayogera, ebigambo byʼoluyimba luno okuluggya ku ntandikwa yaalwo nʼokulutuusa ku nkomerero ngʼekibiina kya Isirayiri yenna kiwulira.