Ekyamateeka Olwokubiri 32:1-52 LGCB2014 - Bible AI

1Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera, wulira ebigambo byʼomu kamwa kange.

2Okuyigiriza kwange ka kutonnye ngʼenkuba, nʼebigambo byange bigwe ngʼomusulo, bigwe ngʼobufuuyirize ku muddo, ngʼoluwandagirize ku bisimbe ebito.

3Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama; mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe!

4Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu, nʼebikolwa bye byonna bya bwenkanya. Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa, Omwenkanya era omutereevu mu byonna.

5Beeyisizza ngʼabagwenyufu gyʼali, baswavu era tebakyali baana be, wabula omulembe omukyamu era ogwʼamawaggali.

6Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda, mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi? Si ye kitaawo eyakutonda, nʼakussaawo nʼakunyweza?

7Jjukira ebiseera ebyʼedda, fumiitiriza ku myaka egyayita edda. Buuza kitaawo ajja kukubuulira ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.

8 Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago abantu bonna bwe yabayawulayawulamu, yategeka ensalo zʼamawanga ngʼomuwendo gwʼabaana ba Isirayiri bwe gwali.

9Omugabo gwa Mukama Katonda be bantu be, Yakobo bwe busika bwe bwe yagabana.

10Yamuyisanga mu ddungu, mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta, Yamuzibiranga, nʼamulabiriranga, nʼamukuumanga ngʼemmunye eyʼeriiso lye.

11Ngʼempungu bwʼenyegenya ku kisu kyayo, nʼepaapaalira waggulu wʼobwana bwayo, era nga bwʼeyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, nʼebusitula, nʼebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,

12Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga; so tewabangawo katonda mulala.

13Yamuteeka ku ntikko zʼensozi ezʼensi eyo, nʼamuliisanga ku bibala byʼomu nnimiro. Yamukulizanga ku mubisi gwʼenjuki ogwʼomu njatika zʼenjazi nʼamafuta agaavanga mu mayinja amagumu

14ne bbongo eyavanga mu biraalo, nʼamata okuva mu bisibo, nʼamasavu agʼendiga ento nʼennume, nʼembuzi ennume nʼenduusi ezʼe Basani, awamu nʼeŋŋaano esinga obulungi, wanywanga wayini owʼejjovu eyavanga mu mizabbibu.

14

15Yesuluuni yakkuta nʼagejja nʼasambagala; ngʼojjudde emmere nga weezitoowerera nʼoggwaamu amaanyi. Yava ku Katonda eyamukola, nʼalekulira Olwazi olwʼObulokozi bwe.

16Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.

17 Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda, eri bakatonda be batamanyangako, bakatonda abaggya abaali baakatuuka bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.

18Weerabira Olwazi eyakuzaala, weerabira Katonda eyakuzaala.

19Mukama Katonda bwe yakiraba nʼabeegobako kubanga yasunguwazibwa batabani be ne bawala be.

20Nʼagamba nti, Nzija kubakweka amaaso gange ndabe ebinaabatuukako; kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu, abaana abatalinaamu bwesigwa.

21Bankwasa obuggya ne bakatonda abalala, ne banyiiza nʼebifaananyi byabwe omutali nsa. Ndibakwasa obuggya olwʼabo abatali ggwanga, ndibakwasa obusungu olwʼeggwanga eritategeera.

22Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro, ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe, gusenkenya ensi nʼebibala byayo, ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago.

22

23Nzija kubatuumangako emitawaana ne mbayiwangako obusaale bwange.

24Nnaabasindikiranga enjala namuzisa, nʼobulwadde obwokya, ne kawumpuli omuzikiriza; ndibaweereza ebisolo ebyʼamannyo amasongovu nʼebyewalula mu nfuufu ebyʼobusagwa.

25 Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere. Abavubuka abalenzi nʼabawala balizikirira abaana abawere nʼabasajja abʼenvi bonna batyo.

26Nalowoozaako ku kyʼokubasaasaanya wabulewo akyabajjukiranga ku nsi.

27Naye ne saagala abalabe baabwe kubasosonkereza, kubanga abaabalumbagana bandiremeddwa okukitegeera, ne beewaana nti, “Ffe tuwangudde, Mukama ebyo byonna si ye yabikoze.”

27

28Lye ggwanga omutali magezi, mu bo temuliimu kutegeera.

29Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde, ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.

30Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi, oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka, wabula nga Lwazi waabwe yʼabatunzeeyo, Mukama Katonda ngʼabawaddeyo?

31Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe, abalabe baffe bakiriziganya naffe.

32Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu, nʼennimiro zʼemizabbibu za Ggomola; ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa, ebirimba byazo bikaawa;

33wayini waazo bwe butwa bwʼemisota obusagwa obukambwe obwʼamasalambwa.

33

34Ekyo saakyeterekera, nga kuliko nʼenvumbo mu mawanika gange?

35Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula. Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera, obudde bwabwe obwʼokuzikirira busembedde, nʼokubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.

36Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya, alisaasira abaweereza be, bwʼaliraba ngʼamaanyi gonna gabaweddemu, omuddu nʼowʼeddembe nga tewasigadde nʼomu.

37Nʼalyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa, olwazi mwe beekweka.

38Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe, ne banywa wayini owʼekiweebwayo ekyokunywa? Basituke bajje babayambe, kale babawe obubudamo babakuume!

38

39Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye! Tewali katonda mulala wabula Nze; nzita era ne nzuukiza, nfumita era ne mponya; era tewali atangira mukono gwange nga gukola.

40Ngolola omukono gwange eri eggulu ne nangirira nti, ddala ddala nga bwʼendi omulamu emirembe gyonna

41bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa, nʼomukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango, nnaawalananga abalabe bange, ne neesasuzanga eri abanaankyawanga.

42Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi, nʼekitala kyange kirirya ennyama, nʼomusaayi gwʼabattiddwa nʼabawambiddwa, nʼogwʼemitwe egyʼabakulembeze bʼabalabe.

43Mujaguze mmwe amawanga awamu nʼabantu be, kubanga aliwalanira omusaayi gwʼabaweereza be, aliwalana abalabe be, era alitangirira olwʼensi ye nʼabantu be.

44Awo Musa nʼajja awamu ne Yoswa mutabani wa Nuuni, nʼaddamu ebigambo byonna ebyʼoluyimba olwo ngʼabantu bonna bawulira.

45Musa bwe yamala okuddamu ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isirayiri,

46nʼabagamba nti, “Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero nʼobuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga nʼobwegendereza ebigambo byonna ebyʼamateeka gano.

47Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna.”

48Ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda nʼagamba Musa bwʼati nti,

49“Yambuka olinnyerinnye ku Lusozi Nebo oluli mu nsozi za Abalimu mu nsi ya Mowaabu, osusse amaaso Yeriko olengere ensi ya Kanani gyʼempa abaana ba Isirayiri okuba obutaka bwabwe obwʼenkalakkalira.

50Ku lusozi olwo lwʼojja okulinnya kwʼolifiira okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo, nga muganda wo Alooni bwe yafiira ku lusozi Koola, nʼakuŋŋaanyizibwa eri abantu be.

51Kubanga mwembi mwanziggyamu obwesige mu maaso gʼabaana ba Isirayiri ku mazzi gʼe Meriba-Kadesi mu ddungu lyʼe Zini, olwʼokulemwa okussa ekitiibwa ekituukiridde mu butukuvu bwange mu maaso gʼabaana ba Isirayiri.

52Noolwekyo ensi ojja kugirengera bulengezi, so toligiyingiramu, ensi gye mpa abaana ba Isirayiri.”

>