Ekyamateeka Olwokubiri 33:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Guno gwe mukisa, Musa musajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isirayiri nga tannafa.

2Yagamba nti,

2“Mukama Katonda yajja gye tuli ngʼava ku Sinaayi nʼatutuukako ngʼava ku Seyiri; yamasamasa ngʼava ku Lusozi Palani. Yajja nʼobufukunya bwʼabatukuvu okuva ku bukiika obwaddyo obwʼensozi ze.

3Mazima gwʼoyagala abantu, abatukuvu bonna bali mu mikono gyo. Bavuunama wansi ku bigere byo ne bawulira ebiragiro byʼobawa.

4Ge mateeka Musa ge yatuwa ngʼekyokufuna ekyʼekibiina kya Yakobo.

5Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni abakulembeze bʼabantu bwe baakuŋŋaana nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.

5

6“Lewubeeni abenga mulamu; alemenga kuggwaawo nʼomuwendo gwʼabasajja be gulemenga kukendeera.”

7Kino kye yayogera ku Yuda: “Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda; omuleete eri abantu be. Yeerwaneko nʼemikono gye. Omuyambenga ngʼalwanyisa abalabe be!”

8 Bino bye yayogera ku Leevi: “Sumimu wo ne Ulimu wo biwe omusajja oyo gwʼoyagala ennyo. Wamukebera e Masa nʼomugezesa ku mazzi agʼe Meriba.

9Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti, ‘Abo sibafaako.’ Baganda be teyabategeeranga wadde okusembeza abaana be; baalabiriranga ekigambo kyo ne bakuumanga endagaano yo.

10Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo ne Isirayiri amateeka go. Banaanyookezanga obubaane mu maaso go, nʼebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyo.

11Ayi Mukama Katonda owe omukisa byonna byʼakola, era okkirize emirimu gyʼemikono gye. Okubirenga ddala abo abamugolokokerako okubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.”

12Bye yayogera ku Benyamini: “Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu, Katonda Ali Waggulu ngʼamwebulungudde bulijjo, omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”

13Yayogera bwʼati ku Yusufu: “Ettaka lye Mukama Katonda aliwe omukisa, nʼomusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulu nʼamazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi,

14nʼebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana, nʼamakungula aganaasinganga mu myezi gyonna;

15nʼebibala ebinaakiranga obulungi ku nsozi ezʼedda, nʼokwala kwʼebirime ku nsozi ezʼemirembe gyonna;

16nʼebirabo ebisinga byonna mu nsi nʼokujjula kwayo, nʼobuganzi obunaavanga eri oyo owʼomu kisaka ekyaka. Ebyo byonna ka bijjenga ku mutwe gwa Yusufu, mu kyenyi kyʼomulangira mu baganda be.

17Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye amayembe ge, ngʼamayembe ga sseddume endalu; anaagatomezanga amawanga nʼagayuzaayuza, nʼagagoberanga ku nkomerero yʼensi. Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu nga ze nkumi za Manase.”

18Yayogera bwʼati ku Zebbulooni: “Jaguzanga, ggwe Zebbulooni, bwʼonoofulumanga; ne Isakaali ngʼali mu weema zo.

19Banaakoowoolanga amawanga okwambuka ku nsozi ne baweerangayo eyo ssaddaaka ezʼobutuukirivu, banaalyanga ebyʼobugagga ebya mayanja, nga beeyambisa nʼebyobugagga ebikweke mu musenyu.”

20Yayogera bwʼati ku Gaadi: “Alina omukisa oyo agaziya ensalo zʼomugabo gwa Gaadi, Gaadi omwo mwʼabeera ngʼempologoma ngʼayuza omukono nʼomutwe.

21Yeerondera omugabo gwʼettaka erisinga obulungi, omugabo gwʼomukulembeze gwe gwamukuumirwa. Abakulembeze bʼabantu bwe baakuŋŋaana ye yabasalira emisango gya Mukama, nʼokukwasa Isirayiri amateeka ga Mukama Katonda.”

22Yayogera bwʼati ku Ddaani: “Ddaani mwana gwa mpologoma, ogubuuka nga guva mu Basani.”

23Yayogera bwʼati ku Nafutaali: “Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa Mukama Katonda era ngʼojjudde emikisa gye, onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.”

24Yayogera bwʼati ku Aseri: “Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri, ku baganda be gwe babanga basinga okwagala era emizabbibu[15] gigimuke nnyo mu ttaka lye.

25Enzigi zʼebibuga byo zinaasibwanga nʼeminyolo egyʼekyuma nʼekikomo nʼamaanyi go ganenkananga nʼobuwangaazi bwo.

25

26“Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni eyeebagala waggulu ku ggulu ngʼajja okukuyamba ne ku bire mu kitiibwa kye.

27Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo, era akuwanirira nʼemikono gye emirembe gyonna. Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba, nʼagamba nti, ‘Bazikirize!’

28Bwʼatyo Isirayiri anaabeeranga mu mirembe yekka, ezzadde lya Yakobo linaabeeranga wanywevu, mu nsi erimu emmere yʼempeke ne wayini, eggulu mwe linaatonnyezanga omusulo.

29Nga weesiimye, Ayi Isirayiri! Ani akufaanana, ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola? Ye ngabo yo era omubeezi wo, era kye kitala kyo ekisinga byonna. Abalabe bo banaakuvuunamiranga, era onoobalinnyiriranga.”

>