1Awo Musa nʼayambuka okuva mu nsenyi za Mowaabu, nʼalinnyalinnya Olusozi Nebo, nʼatuukira ddala ku ntikko eyitibwa Pisuga, eyolekedde Yeriko. Mukama Katonda nʼasinziira awo nʼamulengeza ensi yonna ensuubize: okuva ku Giriyaadi okutuuka ku Ddaani,
2ne Nafutaali yonna, nʼensi ya Efulayimu ne Manase, nʼensi yonna eya Yuda okutuuka ku Nnyanja eyʼEbugwanjuba,
3ne Negebu nʼolusenyi olwʼekiwonvu omuli Ekibuga kyʼEnkindu ekiyitibwa Yeriko okutuukira ddala ku Zawaali.
4
5Awo Musa, omuweereza wa Mukama, nʼafiira awo mu nsi ya Mowaabu, ngʼekigambo kya Mukama Katonda bwe kyali.
6Mukama nʼaziika Musa mu nsi ya Mowaabu, mu kiwonvu ekyolekedde Besupyoli, naye tewali nʼomu amanyi malaalo ge we gali ne ku lunaku lwa leero.
7Musa we yafiira yali nga yakamaze emyaka kikumi mu abiri egyʼobukulu; kyokka ngʼamaaso ge galaba bulungi, era nʼamaanyi ge nga tegakendeddeeko.
8Abaana ba Isirayiri ne bakaabira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku amakumi asatu, okutuusa ennaku ezo ezʼokukaaba nʼokukungubagira Musa bwe zaggwaako.
9Yoswa, mutabani wa Nuuni, yali ajjudde omwoyo ogwʼamagezi, kubanga Musa yali yamuteekako emikono gye. Abaana ba Isirayiri ne bamuwulira, ne bakola nga Mukama Katonda bwe yali alagidde Musa.
10Okuva olwo tewayimukangawo nnabbi mulala mu Isirayiri afaanana nga Musa, Mukama Katonda gwe yamanyagana naye amaaso nʼamaaso.
11Tewaaliwo yamwenkana olwʼobubonero nʼebyamagero Mukama Katonda bye yamutuma okukola mu nsi yʼe Misiri ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku nsi ye yonna,
12era nʼolwʼekitiibwa kye ekyʼamaanyi amangi, nʼobuyinza obwʼentiisa bwe yayoleka mu Isirayiri yenna.