Ekyamateeka Olwokubiri 4:1-49 LGCB2014 - Bible AI

1Kale nno kaakano, muwulire, Ayi Isirayiri, mutege amatu eri amateeka nʼebiragiro bye ŋŋenda okubayigiriza. Mubigonderenga era mubigobererenga, muliba balamu, mulyoke muyingire mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gyʼabawa mugyetwalire ebeere obutaka bwammwe obwʼenkalakkalira.

2Temwongerangako ku mateeka ge mbalagira, so temugatoolangako, naye mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbategeeza.

3Mwerabirako nʼamaaso gammwe gennyini ebyo byonna Mukama bye yakola e Baali Peoli. Abo bonna mu mmwe abaagoberera, era ne basinza Baali e Peoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza;

4naye mmwe abaanywerera ku Mukama Katonda wammwe, mukyali balamu leero.

5Kale, mulabe nno, mbayigirizza amateeka nʼebiragiro nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mulyoke mubigobererenga nga mutuuse mu nsi gye mugenda okuyingiramu, nʼokugyefunira ngʼobutaka bwammwe obwʼenkalakkalira.

6Mugagobererenga nʼobwegendereza, kubanga ekyo kiriraga ensi endala obugezi bwammwe nʼobutegeevu bwammwe. Ensi ezo bwe ziriwulira ku mateeka gano gonna zirigamba nti, “Ddala abantu bʼeggwanga lino ekkulu bategeevu era ba magezi.”

7Kubanga ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna bakatonda bʼabantu baalyo okumpi nʼabantu abo, nga ffe bwe tulina Mukama Katonda waffe, abeera okumpi naffe buli lwe tumukoowoola?

8Era ggwanga ki eddala ekkulu erimanyiddwa eririna amateeka nʼebiragiro ebyʼobwenkanya nga bino bye nteeka mu maaso gammwe leero?

9“Ekikulu, weekuume nnyo nga weerabirira mu ngeri gye weeyisaamu, olemenga kwerabira ebyo byonna amaaso go bye gazze galaba oleme okubiganya okuva mu mutima gwo ennaku zonna ezʼobulamu bwo. Biyigirizenga abaana bo, nabo babiyigirizenga abaana baabwe.

10Kirungi mujjukire nga bwe mwayimirira awali Mukama Katonda wammwe, ku lusozi Kolebu, bwe yaŋŋamba nti, ‘Kuŋŋaanya abantu bonna obandeetere wano we ndi, bawulire ebigambo byange, balyoke bayige okumpulira nga bantya; banzisengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala ku nsi, era ebigambo ebyo babiyigirizenga abaana baabwe.

11Mwasembera ne muyimirira wansi wʼolusozi, ne mulaba nga lwaka omuliro ogwatuukira ddala waggulu ku ggulu, nga gwetooloddwa ebire nʼekizikiza ekikutte.’

12Bwʼatyo Mukama Katonda nʼayogera nammwe ngʼasinziira wakati mu muliro. Mwawulira envuga yʼebigambo bye, naye ekikula kye temwakiraba; mwakoma ku ddoboozi lyokka.

13Yabategeeza endagaano ye eyali mu Mateeka Ekkumi, ge yawandiika ku bipande byʼamayinja ebibiri, nʼabalagira okugagobereranga.

14Era mu kaseera ako Mukama Katonda nʼandagira mbayigirize amateeka nʼebiragiro bye musaana okugonderanga, nga muli mu nsi gye mugenda okwefunira ngʼobutaka bwammwe obwʼenkalakkalira, nga mumaze okusomoka Yoludaani.”

15“Ku lunaku olwo Mukama Katonda bwe yayogera gye muli ngʼasinziira wakati mu muliro ku lusozi Kolebu, temwalaba kikula kye kya ngeri yonna. Noolwekyo mwekuumenga nnyo,

16mulemenga okweyonoona nga mwekolera bakatonda abalala, aba buli ngeri, abali mu bifaananyi ebiri ngʼomusajja oba ngʼomukazi,

17oba ebifaanana ngʼensolo ezʼoku nsi, oba ngʼennyonyi ezibuuka mu bbanga,

18oba ebifaanana ngʼebiramu byonna ebitambulira wansi oba ebyekulula ku ttaka; oba ebifaanana ngʼebyennyanja ebiri mu mazzi agali wansi wʼettaka.

19Era weekuumenga nnyo bwʼonooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, nʼolaba enjuba, nʼomwezi nʼemmunyeenye, nʼebitiibwa byabyo, nʼosendebwasendebwa nʼobiweereza, era nʼobivuunamira nʼobisinza; songa ebyo byonna bye bintu Mukama Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi wʼeggulu.

20Naye mmwe, Mukama yabaggya mu Misiri, mu mbiga esaanuusa ebyuma, mubeerenga bantu be abʼobusika bwe, nga bwe muli leero.

21“Ate nʼekirala, Mukama yansunguwalira ku lwammwe, ne yeerayirira nti Nze sigenda kusomoka mugga ogwo Yoludaani nnyingire mu nsi eyo ennungi Mukama Katonda wammwe gyʼabawa okubeera obusika bwammwe.

22Naye nze kinsaanira okufiira wano mu nsi eno kaakano mwe tuli, sigenda kusomoka mugga Yoludaani; naye mmwe muligusomoka ne mwefunira ensi eyo ennungi okubeera obutaka bwammwe obwʼenkalakkalira.

23Mwegenderezanga nnyo ne muteerabira ndagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yakola nammwe. Temwekoleranga bitali Katonda mu kufaanaanyiriza okwʼekintu kyonna Mukama Katonda wo kye yakugaana okukola.

24Kubanga Mukama Katonda wo muliro ogwokya ne gusaanyaawo, ye Katonda owʼobuggya.”

25“Bwʼolimala okuzaala abaana ngʼofunye nʼabazzukulu, era nga mu nsi omwo mumazeemu emyaka mingi nga mukaddiye; ne mugenda mweyonoonanga nga mwekolera bakatonda abalala abʼengeri zonna, ne mukolanga ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo ne mumusunguwazanga,

26nkoowoola eggulu nʼensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna.

27Mukama anaabasaasaanyanga mu mawanga amalala, era erisigalayo batono mu mmwe abalibeera mu nsi ezo Mukama Katonda gyʼanaabanga abasindiikirizza.

28Nga muli eyo munaasinzanga bakatonda abakolebwa nʼemikono gyʼabantu, mu miti ne mu mayinja, abatayinza kulaba, oba okuwulira oba okulya, wadde okuwunyiriza.

29Naye ngʼoli eyo, bwʼonoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga nʼomutima gwo gwonna awamu nʼomwoyo gwo gwonna.

30Ebintu ebyo byonna bwe binaakutuukangako nʼolaba ennaku nnyingi, olwo onookomangawo eri Mukama Katonda wo mu biseera ebyʼoluvannyuma, nʼomugonderanga.

31Kubanga Mukama Katonda wo ajjudde okusaasira, taakusuulirirenga wadde okukuzikiriza, oba okwerabira endagaano ye gye yakola ne bajjajjaabo gye yabalayiririra.

32“Kale, weebuuze leero ku byafaayo ebyʼebiro ebyʼedda, nga naawe tonnabeerawo, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonderako omuntu nʼamuteeka ku nsi; weebuuze okuva ku luuyi olumu olwʼeggulu okutuuka ku luuyi olulala. Waali wabaddewo ekintu ekikulu nga kino, oba waali wabaddewo akiwulirako?

33Abantu abamawanga amalala baali bawuliddeko ku ddoboozi lya Katonda ngʼayogerera mu muliro, ne basigala nga bakyali balamu, nga mmwe bwe mwaliwulira ne muba balamu?

34Nantiki, waali wabaddewo katonda eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga erimu ngʼaliggya wakati mu ggwanga eddala, ngʼataddewo ebigezo, nʼokukola ebyamagero, nʼobubonero, nʼebyewuunyo, nʼentalo, ngʼalaga omukono gwe ogwʼamaanyi, nʼomukono gwe omuwanvu; oba nʼebikolwa ebinene ebitiisa, okufaanana ngʼebintu Mukama Katonda wammwe bye yabakolera nga muli mu Misiri, nga mwenna mutunula?

35“Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga Mukama ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala.

36Yakuleka nʼowulira eddoboozi lye nga liva mu ggulu alyoke akuyigirize. Yakulaga omuliro gwe omungi ennyo ku nsi, nʼowulira ebigambo bye nga biva mu muliro ogwo.

37Olwʼokubanga yayagala nnyo bajjajjaabo naawe muzzukulu waabwe eyabaddirira, yakuggya mu nsi yʼe Misiri ngʼakozesa obuyinza bwe obungi.

38Yakuwangulira amawanga amakulu era agakusinga ggwe amaanyi, alyoke akuyingize mu nsi yaabwe, era agikuwe ggwe okubeeranga obusika bwo nga bwe kiri leero.

39“Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti Mukama ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala.

40Kale, mugonderenga amateeka ge nʼebiragiro bye, bye nkulagira leero; olwo nno ebyʼobulamu bwo nʼembeera yo biryoke bikugenderenga bulungi, ggwe nʼezzadde lyo eririddawo; bwʼotyo olyoke owangaalenga ngʼoli mu nsi Mukama Katonda wo gyʼakuwa okubeeranga obutaka bwo obwʼenkalakkalira.”

41Awo Musa nʼayawula ebibuga bisatu ku luuyi olwʼebuvanjuba olwʼomugga Yoludaani,

42nga mu bibuga ebyo, omuntu yenna anaabanga asse muntu munne nga tagenderedde, mwʼanaddukiranga, kubanga munne anaabanga amusse mu butanwa nga tamuliiko kiruyi kubanga tabangako mulabe we; anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo yeewonye naye okuttibwa.

43Bino bye byali ebibuga ebyo: Bezeri, nga kiri mu ddungu mu nsi engulumivu kyokka nga waggulu mbyabyatavu, nga kye kyʼAbalewubeeni; ne Lamusi mu Gireyaadi, nga kye kyʼAbagaadi; ne Golani mu Basani, nga kyʼekitundu kyʼAbamanase abaagabana oluuyi olwo.

44Gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso gʼabaana ba Isirayiri,

45era ono ye kalonda wʼobujulirwa, nʼamateeka, nʼebiragiro, Musa bye yategeeza abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri,

46nga bali mu kiwonvu ekiriraanye Besu Peoli ku buvanjuba bwʼomugga Yoludaani, mu nsi eya Sikoni kabaka wʼAbamoli, eyafugiranga mu Kesuboni, Musa nʼabaana ba Isirayiri gwe baali bamaze okuwangula nga bavudde mu nsi eyʼe Misiri.

47Ensi eyo baali bagitutte awamu nʼensi ya Ogi kabaka wa Basani, abo nga be bakabaka ababiri abaabanga ku luuyi olwʼebuvanjuba olwʼomugga Yoludaani.

48Ensi eyo yali eva ku Aluweri ekiri ku njegoyego yʼEkiwonvu Alunoni nʼokutuuka ku lusozi olunene Siriyoni era olwo ye Kerumooni,

49nʼezingiramu ne Alaba ekiri ku luuyi olwʼebuvanjuba obwa Yoludaani, okutuukira ddala ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja eyʼOmunnyo, wansi wʼolugulungujjo lwʼolusozi Pisuga.