1Awo Musa nʼakuŋŋaanya Isirayiri yenna, nʼabagamba nti, Wulira, Ayi Isirayiri, amateeka nʼebiragiro bye nkutegeeza ngʼowulira ku lunaku lwa leero.
2Mukama Katonda waffe yakola naffe endagaano nga tuli e Kolebu.
3Endagaano eyo Mukama Katonda teyagikola ne bazadde baffe, naye yagikola naffe abali wano era abalamu ku lunaku lwa leero.
4Mukama Katonda yayogera nammwe nga mwolekaganye naye, ye ngʼasinziira mu muliro ku lusozi olunene.
5Mu kaseera ako nze nnali nnyimiridde wakati wa Mukama nammwe okubatuusaako ekigambo kya Mukama Katonda, kubanga mmwe mwali mutidde omuliro, noolwekyo ne mutalinnya ku lusozi olunene. Nʼabagamba nti,
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22Ago ge mateeka Mukama ge yalangirira eri ekibiina kyammwe kyonna, nga muli wansi wʼolusozi Sinaayi, ngʼayogera nʼeddoboozi eryʼomwanguka eryava mu muliro, nʼekire, nʼekizikiza ekikutte ennyo; teyayongerako birala. Bwʼatyo nʼagawandiika ku bipande bibiri ebyʼamayinja, nʼabinkwasa.
23Bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza, ate ngʼolusozi lwaka omuliro, ne musembera gye ndi, nʼabakulembeze bonna abʼebika byammwe, nʼabakulu bammwe bonna.
24Ne mugamba nti, “Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye nʼobukulu bwe, era nʼeddoboozi lye ne tuliwulira nga lifuluma wakati mu muliro.
25Kale, kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi bwe guti gujja kutusaanyaawo, tufe tuggweewo, singa twongera okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe.
26Kubanga, ani mu bantu omuntu eyali awulidde ku ddoboozi lya Katonda omulamu ngʼayogerera wakati mu muliro, nga ffe bwe tuliwulidde, nʼasigala ngʼakyali mulamu?
27Ggwe, musemberere, owulirize bulungi byonna Mukama Katonda waffe byʼanaayogera. Olyoke otubuulire ebyo byonna Mukama Katonda waffe byʼanaakugamba. Tujja kubiwuliriza era tubigondere.”
28Mukama yawulira ebigambo byammwe, bwe mwayogera nange, Mukama Katonda nʼaŋŋamba nti, “Ebigambo abantu abo bye bakugambye mbiwulidde. Byonna bye boogedde bibadde birungi.
29Singa nno bulijjo emitima gyabwe gibeera bwe gityo; ne bantya, era ne bagonderanga amateeka gange gonna, ne balyoka balaba ebirungi awamu nʼabaana baabwe emirembe gyonna!
30Genda obagambe baddeyo mu weema zaabwe.
31Naye ggwe sigala wano nange, ndyoke nkutegeeze amateeka gonna nʼebiragiro, byʼojja okubayigiriza babikolerengako nga bali mu nsi gye mbawa okubeera obutaka bwabwe obwʼenkalakkalira.”
32“Noolwekyo mwegenderezenga nnyo, mukolenga nga Mukama Katonda wammwe bwʼabalagidde; mulemenga okukyama okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono.
33Mutambulirenga mu kkubo Mukama Katonda wammwe lyʼabalagidde, mulyoke mubenga balamu, mugaggawale, era muwangaalenga nga muli mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obwʼenkalakkalira.”