Ekyamateeka Olwokubiri 6:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1“Kale nno, bino bye biragiro, nʼamateeka, Mukama Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza, mubikwatenga era mubigonderenga, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani nga muyingidde mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obwʼenkalakkalira.

2Bwʼotyo ggwe nʼabaana bo, nʼabaana bʼabaana bo oluvannyuma lwabwe, olyoke otyenga Mukama Katonda wo ennaku zonna ezʼobulamu bwo, ngʼogondera amateeka ge nʼebiragiro bye, bye nkuwa leero; olyoke owangaalenga.

3Noolwekyo, wulira, Ayi Isirayiri, ogonderenga ebiragiro ebyo nʼobwegendereza, ebintu byonna bikugenderenga bulungi, mulyoke muzaale mwalenga nnyo, mu nsi ekulukuta nʼamata nʼomubisi gwʼenjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.

4“Wulira, Ayi Isirayiri: Mukama Katonda waffe ali omu.

5Oyagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼomwoyo gwo gwonna, nʼamaanyi go gonna.

6Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo.

7Ogayigirizanga abaana bo nʼobwegendereza. Ogoogerengako bwʼonoobanga otudde mu maka go, ne bwʼonoobanga otambula mu kkubo, bwʼonoobanga ogalamiddeko, ne bwʼonoobanga ogolokose.

8Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obwʼokukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo.

9Onoogawandiikanga ku myango gyʼennyumba yo, era ne ku nzigi zo.

10“Mukama Katonda wammwe bwʼalimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, byʼotaazimba,

11nʼamayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, kyʼotaateekamu, nʼenzizi zʼotaasima, nʼennimiro zʼemizabbibu nʼemizeeyituuni zʼotaasimba; kale, bwʼonoomalanga okulya nʼokkuta,

12weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi eyʼe Misiri eyali eyʼobuddu.

13“Otyanga Mukama Katonda wo. Ye gwʼobanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mwʼobanga olayiriranga.

14Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda bʼamawanga aganaabanga gabeetoolodde;

15kubanga Mukama Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi.

16Temugezesanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakola nga muli e Masa.

17Munyiikirenga okukuumanga nʼokugonderanga amateeka nʼebiragiro Mukama Katonda wammwe byʼakuwadde.

18Okolanga ebyo Mukama byʼakkiriza ebituufu era ebirungi; olwo olyoke obe bulungi ngʼoyingidde mu nsi eyo ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugibawa,

19ngʼagobyemu abalabe bo bonna, nga Mukama Katonda bwe yasuubiza.

20“Mu biseera ebirijja, omwana wo bwʼakubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, nʼamateeka, nʼebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki?

21Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi eyʼe Misiri, naye Mukama Katonda nʼatuggya mu Misiri nʼomukono gwe ogwʼamaanyi.

22Mukama Katonda nʼalaga obubonero obwʼekitalo, nʼakola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo nʼabʼomu maka ge bonna, nga naffe tulaba.

23Nʼatuggyayo nʼatuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa.

24Mukama nʼatulagira okukwatanga amateeka gano gonna nʼokugagonderanga, nʼokutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero.

25Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo byʼayagala.’ ”