1Mukama Katonda wo bwʼakutuusanga mu nsi mwʼojja okuyingira, ogyetwalire okuba obutaka bwo, nga nʼamawanga mangi amaze okugagobamu, nʼamawanga gano omusanvu agakusinga obunene nʼamaanyi: Abakiiti, nʼAbagirugaasi, nʼAbamoli, nʼAbakanani, nʼAbaperezi, nʼAbakiivi, nʼAbayebusi,
2
3Tofumbiriganwanga nabo. Towangayo muwala wo kufumbirwanga mutabani we, oba mutabani we okuwasanga muwala wo.
4Kubanga bagenda kukyamya mutabani wo alekerengaawo okugoberera Mukama, baweerezenga bakatonda abalala; era obusungu bwa Mukama bunaababuubuukirangako nʼakuzikiriza mangu.
5Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro.
6Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama. Mukama Katonda wo yakulonda okuva mu mawanga gonna agali ku nsi okubeeranga eggwanga lye, lye yeefunira lyʼasuuta ennyo.
7Mukama okugenda okubalonda nʼokubaagala ennyo bwʼatyo; si lwa kubanga mwe mwali musinga amawanga amalala gonna obungi; nedda, mwe mwali musinga obutono mu mawanga gonna.
8Naye lwa kubanga Mukama Katonda yabaagala, nʼakuuma endagaano gye yakola ne bajjajjammwe, nʼabanunula nʼomukono gwe ogwʼamaanyi ngʼabaggya mu nsi eyʼobuddu, nʼabawonya obuyinza bwa Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri.
9Noolwekyo osaananga okukitegeeranga nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa akuuma endagaano ye eyʼokwagala okutaggwaawo eri abamwagala era abagondera ebiragiro bye okutuuka ku mirembe olukumi.
10Naye
11Noolwekyo weegenderezenga nnyo ogonderenga amateeka nʼebiragiro bye nkugamba olunaku lwa leero.
12Bwe munaakwatanga amateeka ago, ne mugagonderanga nʼobwegendereza, ne Mukama Katonda wo agenda kukuumanga endagaano ye, gye yakola ne bajjajjaabo eyʼokwagala kwe okutaggwaawo.
13Agenda kukwagalanga, akuwenga omukisa; era alikwaza ne weeyongera obungi. Aliwa omukisa ezzadde lyo nʼebibala ebyʼoku ttaka lyo, nʼemmere yo eyʼempeke, ne wayini wo, nʼamafuta go, nʼennyana ezʼente zo, nʼabaana abʼendiga zo, ngʼoli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo, okugikuwa.
14Onoofunanga omukisa okusinga amawanga amalala gonna; tewaabengawo musajja oba mukazi mugumba mu mmwe, wadde ente zammwe ezitaazaalenga.
15Mukama takkirizenga ndwadde yonna kukukwata. So taakuleeterenga ndwadde ezo ezʼakabi, ze wamanyanga, ezʼe Misiri, naye anaazireeteranga abo bonna abakukyawa.
16Onoozikirizanga abo bonna Mukama Katonda bʼanaakuwanguzanga, tobatunuulizanga liiso lya kisa, tobabbiranga ku liiso. So toweerezanga bakatonda baabwe, kubanga ogwo gugendanga kukufuukira mutego.
17Oyinza okwebuuza mu mutima gwo nti, “Amawanga agʼamaanyi gatyo okutusinga, tulisobola tutya okugagoba mu nsi zaago?”
18Naye amawanga ago togatyanga; ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Falaawo ne Misiri yonna.
19Weerabirako nʼamaaso go gennyini ebibonoobono, nʼobubonero obwʼebyamagero, nʼebyʼekyewuunyo, Mukama bye yakozesa okukuggya mu nsi yʼe Misiri nʼomukono gwe omuwanvu ogwʼamaanyi. Mukama Katonda wo bwʼatyo bwʼanaakolanga amawanga ago gonna gʼotya.
20Ate Mukama Katonda wo anaaweerezanga ennumba mu balabe bo ne zibaluma, okutuusa nʼabo abanaabanga basigaddewo mu lutalo, nga beekwese, lwe ziribazikiririza ddala.
21Tobatyanga, kubanga Mukama Katonda wo abeera wakati mu mmwe, mukulu era wa ntiisa.
22Mukama Katonda wo amawanga ago anaagendanga agaggyawo linnalimu, mpola mpola. Toligazikiriza gonna mulundi gumu, si kulwa ngʼensolo ezʼomu nsiko zaala ne zikuyitirira obungi.
23Naye Mukama Katonda wo anaagagabulanga mu mukono gwo nʼageeraliikirizanga ngʼagatabuddetabudde, okutuusa lwe ganaazikirizibwanga.
24Anaagabulanga bakabaka baago mu mukono gwo nʼosangulira ddala amannya gaabwe okuva wansi wʼeggulu. Tewaabengawo muntu nʼomu anaayimiriranga mu maaso go okukwaŋŋanga, ojjanga kubazikiriza.
25Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga mu muliro. Teweegombanga zaabu na ffeeza anaabibeerangako. So tomwetwaliranga alemenga kukufuukira mutego; kubanga ekikolwa ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo.
26Toyingizanga mu nnyumba yo kintu kyonna ekyomuzizo, olemenga kuba mukolimire ngʼekintu ekyo bwe kiri. Onookikyayiranga ddala era onookitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa.