1Mugonderanga amateeka gonna ge nkulagira leero, mulyoke mubeerenga balamu era mwale, muyingire ensi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe ngʼobutaka bwammwe.
2Onojjukiranga emyaka gino gyonna amakumi ana Mukama Katonda gyʼazze ngʼakukulembera okukuyisa mu ddungu alyoke akugezese, akukakkanye obeere muwombeefu omwetoowaze, era yeekkaanye mu mutima gwo alabe obanga onookwatanga amateeka ge.
3Era yakukkakkanya nʼakulumya enjala, nʼakuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
4Mu myaka gino gyonna amakumi ana, engatto zo tezaakukaddiwako nʼebigere byo tebyazimba.
5Noolwekyo osaana okitegeere mu mutima gwo nti, Ngʼomusajja bwʼakangavvula mutabani we, ne Mukama Katonda wo bwʼakukangavvula.
6“Onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo ngʼotambuliranga mu makubo ge, era ngʼomutya, ngʼomussaamu ekitiibwa.
7Kubanga Mukama Katonda wo akutwala mu nsi ennungi ennyo: ensi erimu emigga, nʼebidiba, nʼensulo ezʼamazzi agakulukutira ku nsozi ne mu biwonvu.
8Ensi omukula eŋŋaano ne sayiri, nʼemitiini nʼemikomamawanga, ensi eyʼemizabbibu nʼomubisi gwʼenjuki;
9ensi, emmere gyʼeteebeerenga ya bbula, nga buli kyʼoneetaaganga onookifunanga; ensi, ngʼebyuma ge mayinja gaayo, era gyʼonoosimanga ekikomo mu nsozi zaayo.
10Awo bwʼonoolyanga nʼokkuta, weebazenga Mukama Katonda wo olwʼokukuwa ensi ennungi bwʼetyo.”
11“Weegenderezenga nnyo olemenga kwerabiranga Mukama Katonda wo, ngʼogaananga okukwatanga amateeka ge, nʼebiragiro bye, bye nkulagira leero.
12Si kulwa ngʼonoolyanga nʼokkuta, ne weezimbiranga amayumba amalungi, nʼotereera;
13amagana go nʼebisibo byo nga bigezze, ne zaabu yo ne ffeeza yo nga byaze, nga ne buli kintu kyʼonoobanga nakyo nga kyeyongedde okwala,
14kale olwo omutima gwo ne gujjangamu amalala, ne weerabiranga Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi eyʼe Misiri mu nnyumba eyʼobuddu.
15Eyakukulemberanga nʼakuyisanga mu ddungu eddene era ezzibu ennyo eritiisa, ekkalu omutali tuzzi, nga libunye emisota emikambwe egyʼobusagwa, nʼenjaba. Eyakuggyira amazzi mu lwazi.
16Yakuliisanga emmaanu mu ddungu, emmere bajjajjaabo gye baali batalabangako. Yali ngʼakwetoowazisa era nga bwʼakugezesa, ku nkomerero biryoke bikugendere bulungi.
17Weekuumenga, olemenga okulowoozanga mu mutima gwo nti, ‘Obugagga buno bwonna mbufunye olwʼobuyinza bwange nʼamaanyi gʼemikono gyange.’
18Naye ojjukiranga Mukama Katonda wo, kubanga yʼakuwa obuyinza okufuna obugagga, alyoke atuukirize endagaano ye gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kiri leero.”
19“Bwe kanaakutandanga ne weerabiranga Mukama Katonda wo, nʼogobereranga bakatonda abalala, nʼobasinzanga nʼobavuunamiranga, mbategeeza mmwe leero nti Ddala ddala mugenda kuzikirira.
20Nga bwe mulaba amawanga Mukama gʼazikiriza mu maaso gammwe, nammwe bwe mulizikirira bwe mutyo, bwe mutaligonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.”