1Wulira, Ayi Isirayiri. Osemberedde olunaku lwʼojja okusomokerako omugga Yoludaani, oyingire mu nsi omuli amawanga agakusinga obunene, ogyetwalire ogyefunire. Olisangamu ebibuga ebinene ebyebulunguddwa ebigo ebyawanvuwa okutuuka ku ggulu.
2Abantu baayo be batabani ba Anaki, ba maanyi era bawanvu. Obamanyi bulungi, era wawulirako dda nga boogerwako nti, “Ani ayinza okwolekera Abanaki?”
3Naye kitegeere leero nga Mukama Katonda wo yʼakukulembera buli gyʼoba olaga yonna, era ngʼali ngʼomuliro ogusaanyaawo buli kintu. Abʼamaanyi abo agenda kubasiguukulula abazikirize nga naawe olaba. Noolwekyo ogenda kubagobamu obamalirewo ddala mu kaseera katono, nga Mukama bwʼakusuubizza.
4Mukama Katonda wo bwʼalimala okugobamu amawanga ago gonna nga naawe olaba, teweewaananga nga weeyogerako nti, “Mukama ansobozesezza okuyingira mu nsi muno nʼokugifuna olwʼobutuukirivu bwange;” songa lwa butali butuukirivu bwa mawanga ago, Mukama kyanaava agagobamu mu maaso go.
5Ojja kuyingira mu nsi yaabwe ogitwale, si lwa kubanga oli mutuukirivu, oba omwesigwa; wabula lwa kibi kyʼamawanga ago Mukama Katonda wo kyanaava agagoba mu maaso go, atuukirize nʼekisuubizo kye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.
6Osaana okitegeere ngʼensi eno ennungi Mukama Katonda gyʼakuwa okugyefunira tagikuwa lwa kubanga oli mutuukirivu; kubanga oli muntu alina ensingo enkakanyavu.
7Ojjukiranga, era tosaana kwerabiranga, nga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo ngʼoli mu ddungu. Okuviira ddala ku lunaku lwe wava mu nsi eyʼe Misiri mubadde mujeemera Mukama nʼokutuusa lwe mutuuse mu kifo kino.
8Ku lusozi Kolebu mwanyiiza Mukama Katonda, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo nʼokwagala nʼayagala okubazikiriza.
9Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande ebyʼamayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana nʼekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi.
10Mukama Katonda nʼampa ebipande bibiri ebyʼamayinja nga biwandiikiddwako nʼengalo ya Katonda. Ku byo kwali kuwandiikiddwako amateeka Mukama ge yali abalangiridde ngʼali ku lusozi wakati mu muliro ku lunaku olwo nga mwenna mukuŋŋaanye.
11Ku nkomerero yʼennaku amakumi ana nʼebiro amakumi ana Mukama Katonda nʼampa ebipande ebibiri ebyʼamayinja nga bye bipande ebyʼendagaano.
12Awo Mukama Katonda nʼaŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.”
13Era Mukama Katonda ne yeeyongera nʼaŋŋamba nti, “Neetegerezza abantu bano, ne ndaba nga bantu abalina ensingo enkakanyavu, nga ggwanga lya mputtu.
14Leka mbazikirize, erinnya lyʼeggwanga lyabwe ndisangulewo wansi wʼeggulu. Ndikuggyamu eggwanga eddene era eryʼamaanyi okusinga eggwanga lyabwe.”
15Bwe ntyo ne nkyuka ne nva ku lusozi ne nserengeta, ne ndeka ngʼolusozi lwaka omuliro. Ebipande byombi ebyʼamateeka ebyʼendagaano nabirina mu mikono gyange gyombi.
16Bwe natunula ne ndaba nga mwonoonye mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mwali mwekoledde ekitali Katonda nga mukibumbye okufaanana ngʼennyana; mwali mukyuse mangu okuva mu kkubo Mukama lye yali abalagidde.
17Bwe ntyo ne nzirira ebipande byombi bye nnali nkutte mu ngalo zange ne mbikasuka wansi ne byatikirayatikira mu maaso gammwe nga nammwe mulaba.
18Ate ne nziramu okweyala wansi awali Mukama Katonda nga bwe nakola olubereberye ku Lusozi Sinaayi, Mukama bwe yali amaliridde okubazikiririza ddala yeefunire eggwanga eddala; ne sirya ku mmere wadde okunywa ku tuzzi okumala ennaku amakumi ana emisana nʼekiro, olwʼekibi kye mwali mukoze, bwe mwakola ebitasaana mu maaso ga Mukama Katonda ne mumusunguwaza.
19Ne ntya nnyo olwʼobusungu bwa Mukama Katonda nʼekiruyi kye, kubanga yali abasunguwalidde nnyo ngʼayinza nʼokubazikiriza. Naye era Mukama nʼampuliriza ne ku mulundi ogwo.
20Era Mukama yali asunguwalidde nnyo Alooni nga nʼokumuzikiriza ayinza okumuzikiriza. Naye mu kiseera ekyo ne Alooni ne mmusabira nnyo.
21Ne nzirira ennyana eyabaleetera okusobya, ne ngyokya mu muliro. Ne ngisekulasekula ne ngisa, nʼefuuka olufufugge. Olufufugge olwo ne nduyiwa mu kagga akaali kakulukutira ku lusozi olunene.
22Mukama, mwayongera okumusunguwaza bwe mwali e Tabera, nʼe Masa, nʼe Kiberosu Kataava.
23Era Mukama bwe yabasindika okuva e Kadesubanea, yabagamba nti, “Mwambuke mwetwalire ensi gye mbawadde.” Naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. Temwamwesiga wadde okumugondera.
24Kasookedde mbamanya, ebbanga eryo lyonna mubadde mujeemera Mukama Katonda.
25Bwe ntyo ne nambaala ku ttaka nga neevuunise mu maaso ga Mukama, okumala ennaku amakumi ana emisana nʼekiro; kubanga Mukama Katonda yali agambye nti ajja kubazikiriza.
26Ne nsaba Mukama nti, Ayi Mukama Katonda, bano be bantu bo, era obusika bwo bwennyini, be wanunula nʼobaggya mu nsi eyʼe Misiri nʼomukono gwo ogwʼamaanyi.
27Nkusaba ojjukire abaddu bo, era abaweereza bo, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo osonyiwe obukakanyavu bwʼeggwanga lino, nʼobunafu bwalyo nʼebibi byalyo.
28Abʼomu nsi mwe watuggya baleme okugamba nti, “Olwokubanga Mukama yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era olwokubanga yali abakyaye nnyo, kyeyava abaggyayo mu Misiri alyoke abattire mu ddungu.”
29Kubanga lino lye ggwanga lyo, be bantu bo abʼobusika bwo, be waggya mu Misiri nʼobuyinza bwo obungi, nʼomukono gwo ogwʼamaanyi.