2Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba nʼamagezi nʼokuyiga, era nʼokutegeera ebigambo ebyʼobulabufu; ebyʼobulamu ebyʼamagezi nʼempisa.
3Sulemaani yayagala abantu okuba nʼempisa, nʼobulamu obwʼamagezi, okukolanga ebituufu, nʼokubeera abenkanya nʼokugobereranga ensonga;
4okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu, nʼabavubuka okufuna okumanya nʼokutegeera.
5Nʼabantu abʼamagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga nʼabategeevu beeyongere okubangulwa.
6Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero, enjogera nʼebikokyo.
7Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, naye abasirusiru banyooma amagezi nʼokulagirirwa.
9
10Mwana wange abakozi bʼebibi bwe bakusendasendanga, tokkirizanga.
11Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse, tunyage, tubbe nʼokutta; tokkirizanga;
12ngʼentaana bwʼemira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu, era nga balamba, ngʼabagenda mu bunnya obuwanvu;
13nga twefunira ebyʼobugagga bye tutakoleredde, ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;
14ngʼababi batuyita tubeegatteko, tugabane kyenkanyi ebibbe nʼebinyage.”
15Mwana wange totambuliranga wamu nabo, era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:
16Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi, era kibanguyira okuyiwa omusaayi.
17Nga kuba kumala biseera okutega omutego, ngʼekinyonyi kyʼoyagala okukwata kikulaba,
18naye abantu ngʼabo baba beetega bokka, baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.
19Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu. Obugagga obwʼengeri eyo busaanyaawo obulamu bwʼabo ababufuna.
20Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo; Gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi ebyʼomu bibuga.
21Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira, era gasinzira mu miryango gyʼekibuga ne googera:
22Mulituusa ddi mmwe abʼamagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga byʼamagezi, nammwe abʼamalala okunyoomanga ebyʼamagezi nʼabasirusiru okukyawanga okumanya?
23Kale singa muwuliriza okunenya kwange, laba, ndifuka omutima gwange nʼebirowoozo byange mu mmwe.
24Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza, ne ngolola omukono ne wataba nʼomu afaayo,
25era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa, era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,
26kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku, era mbakudaalire ngʼentiisa ebagwiridde.
27Entiisa bwʼeribajjira ngʼomuyaga omungi, ennaku nʼokubonaabona, okulumwa nʼobubalagaze,
27
28kale balinkoowoola, naye siriyitaba; balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.
29Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, nʼokumanya, era ne bamalirira obutatya Mukama.
30Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange; ne banyooma okunenya kwange kwonna.
31Kyebaliva balya ebibala ebyʼekkubo lyabwe ebbi, era ne bajjula ebibala ebyʼenkwe zaabwe.
32Obusirusiru bulitta abʼamagezi amatono nʼobutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
33naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe, ngʼagumye nga talina kutya kwonna.