Engero 10:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1Omwana owʼamagezi asanyusa kitaawe; naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.

2Ebyʼobugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa, naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.

3Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala, naye aziyiza abakozi bʼebibi okufuna bye beetaaga.

4Emikono emigayaavu gyavuwaza, naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.

5Omuvubuka owʼamagezi akungulira mu biseera ebituufu, naye oyo eyeebakira mu biro ebyʼokukunguliramu mwana aswaza ennyo.

6Omukisa gubeera ku mutwe gwʼomutuukirivu, naye akamwa kʼomukozi wʼebibi kajjula obukambwe.

7Omutuukirivu anajjukirwanga nʼessanyu, naye erinnya lyʼomubi linaavundanga.

8Alina omutima ogwʼamagezi agondera ebiragiro, naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.

9Atambulira mu bwesimbu yʼatambula emirembe, naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.

10Oyo atta ku liiso ngʼakweka amazima aleeta ennaku, nʼomusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.

11Akamwa akʼomutuukirivu nsulo ya bulamu, naye akamwa kʼomukozi wʼebibi kajjula bulabe.

12Obukyayi buleeta enjawukana, naye okwagala kubikka ku bibi bingi.

13Amagezi gasangibwa ku mimwa gyʼoyo alina okutegeera, naye omuggo gukangavvula oyo atamanyi kusalawo bulungi.

14Abantu abʼamagezi batereka okumanya, naye akamwa kʼomusirusiru kaaniriza kuzikirira.

15Obugagga bwʼomugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo, naye obwavu kwe kuzikirira kwʼomwavu.

16Empeera yʼomutuukirivu bulamu, naye empeera yʼomukozi wʼebibi emuleetera kubonerezebwa.

17Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo eryʼobulamu, naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.

18Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba, era omuntu akonjera, musirusiru.

19Mu bigambo ebingi temubula kwonoona, naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.

20Olulimi lwʼomutuukirivu ffeeza ya muwendo, naye omutima gwʼomukozi wʼebibi gugasa katono.

21Ebigambo byʼomutuukirivu biriisa abantu bangi, naye abasirusiru bazikirira olwʼokubulwa amagezi.

22Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga era tagwongerako buyinike.

23Omusirusiru asanyukira okukola ebibi, naye omuntu alina okutegeera asanyukira ebyʼamagezi.

24Omukozi wʼebibi kyʼatayagala kirimutuukako, naye abatuukirivu bye baagala biribaweebwa.

25Embuyaga bwʼejja, abakozi bʼebibi batwalibwa, naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.

26Ngʼomususa bwe gunyeenyeza amannyo, nʼomukka nga bwe gubalagala mu maaso, nʼomugayaavu bwʼabeera bwʼatyo eri abamutuma.

27Okutya Mukama kuwangaaza omuntu, naye emyaka gyʼababi girisalibwako.

28Essuubi lyʼabatuukirivu livaamu ssanyu, naye okusuubira kwʼabakozi bʼebibi tekulivaamu kantu.

29Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro kyʼabatuukirivu, naye abakozi bʼebibi libasaanyaawo.

30Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna, naye abakozi bʼebibi tebalisigala mu nsi.

31Akamwa kʼomutuukirivu koogera ebyʼamagezi, naye olulimi olwogera ebyʼobubambavu lulisalibwamu.

32Emimwa gyʼomutuukirivu gyogera ebisaanidde; naye emimwa gyʼomukozi wʼebibi gyogera ebyʼobubambavu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>