1Buli asanyukira okukangavvulwa ayagala amagezi; naye oyo akyawa okunenyezebwa musirusiru.
2Omuntu omulungi aganja mu maaso ga Mukama, naye Mukama asalira omusango omuntu owʼenkwe.
3Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu, naye omulandira gwʼomutuukirivu tegulisigulwa.
4Omukyala owʼempisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we, naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.
5Enteekateeka zʼomutuukirivu ziba za mazima, naye amagezi gʼabakozi bʼebibi ge bawa gaba ga bulimba.
6Ebiteeso byʼabakozi bʼebibi kuyiwa musaayi, naye ebigambo byʼabatuukirivu bye bibawonya.
7Abakozi bʼebibi bagwa ne basaanirawo ddala, naye ennyumba yʼomutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.
8Ebigambo byʼomugezi bimuleetera okusiimibwa, naye ebyʼomusirusiru bimunyoomesa.
9Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera, asinga oyo eyeegulumiza nʼabulwa kyʼalya.
10Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye, naye omukozi wʼebibi abiraga bukambwe bwereere.
11Oyo eyeerimira aliba nʼemmere nnyingi, naye oyo anoonya ebitaliimu talina magezi.
12Abakozi bʼebibi baagala okubba omunyago gwa babbi bannaabwe, naye omulandira gwʼabatuukirivu gunywera.
13Ebigambo byʼomukozi wʼebibi bimusuula mu mitawaana, naye omutuukirivu awona akabi.
14Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala byʼebigambo byʼakamwa ke, nʼemirimu gyʼemikono gye gimusasula bulungi.
15Ekkubo lyʼomusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye, naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa.
16Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe, naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume.
17Omujulizi owʼamazima awa obujulizi obutuufu, naye omujulizi owʼobulimba ayogera bya bulimba.
18Ebigambo ebyanguyirize bisala ngʼekitala ekyogi, naye olulimi lwʼomuntu omugezi luwonya.
19Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna, naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.
20Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi, naye essanyu liri nʼabo abakolerera emirembe.
21Tewali kabi konna kagwa ku batuukirivu, naye abakozi bʼebibi tebaggwaako mitawaana.
22Mukama akyawa emimwa egirimba, naye asanyukira abʼamazima.
23Omuntu omutegeevu talaga nnyo byʼamanyi, naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe.
24Omukono gwʼomunyiikivu gulimufuula omufuzi, naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.
25Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika, naye ekigambo ekyʼekisa kimusanyusa.
26Omutuukirivu yeegendereza mu mikwano gye, naye ekkubo lyʼababi libabuza.
27Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe, naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali.
28Mu kkubo eryʼobutuukirivu mulimu obulamu, era mu kkubo eryo temuli kufa.