1Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe, naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.
2Omuntu asanyuka olwʼebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke, naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo.
3Oyo eyeegendereza byʼayogera akuuma obulamu bwe, naye oyo amala googera, alizikirira.
4Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka nʼatabaako kyʼafuna, naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.
5Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba, naye omukozi wʼebibi yeereetera kunyoomebwa.
6Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu, naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi.
7Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko kyʼalina, ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo.
8Obugagga bwʼomuntu buyinza okumununula, naye omwavu talina kyʼatya.
9Ekitangaala kyʼabatuukirivu kyaka nnyo, naye ettaala yʼabakozi bʼebibi ezikira.
10Amalala gazaala buzaazi nnyombo, naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.
11Ensimbi enkumpanye ziggwaawo, naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.
12Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima, naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.
13Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana, naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera.
14Okuyigiriza kwʼomuntu alina amagezi nsulo ya bulamu, era kuggya omuntu mu mitego gyʼokufa.
15Okutegeera okulungi kuleeta okuganja, naye ekkubo lyʼabateesigibwa liba zzibu.
16Omuntu omwegendereza akola amaze kulowooza, naye omusirusiru alaga obutamanya bwe.
17Omubaka omubi yeesuula mu mitawaana, naye omubaka omwesigwa aleeta kuwonyezebwa.
18Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu nʼobuswavu, naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa.
19Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima, naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.
20Oyo atambula nʼabantu abagezi ageziwala, naye oyo atambula nʼabasirusiru alaba ennaku.
21Emitawaana gigoberera aboonoonyi, naye okukulaakulana yʼempeera yʼabatuukirivu.
22Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika, naye obugagga bwʼomwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.
23Ennimiro zʼabaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi, naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.
24Atakozesa kaggo akyawa omwana we, naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.
25Omutuukirivu alya emmere ye nʼakkuta, naye abakozi bʼebibi basigala nga bayala.