1Omukazi owʼamagezi yeezimbira ennyumba ye, naye omusirusiru eyiye agyemenyera nʼemikono gye.
2Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Mukama, naye owʼamakubo amakyamu anyooma Mukama.
3Ebigambo byʼomusirusiru bye bimuviirako okukubwa, naye ebyʼabatuukirivu binaabakuumanga.
4Awataba nte nnume ezirima ebyagi biba bikalu, naye emmere ennyingi eva mu maanyi gaazo.
5Omujulizi owʼamazima talimba, naye owʼobulimba ayogera bya bulimba.
6Omukudaazi anoonya amagezi nʼatagalaba, naye okumanya kwanguyira omuntu ategeera.
7Teweeretereza muntu musirusiru, kubanga tewali byʼamagezi biva mu kamwa ke.
8Omutegeevu mugezi kubanga afaayo okutegeera byʼakola, naye atalina magezi musirusiru kubanga yeerimba nti amanyi.
9Abasirusiru banyooma okugololwa nga bakoze ensobi, naye abalongoofu baagala emirembe.
10Buli mutima gumanya okulumwa kwagwo, tewali ayinza kugusanyukirako.
11Ennyumba yʼabakozi bʼebibi erizikirizibwa, naye eweema yʼabatuukirivu erikulaakulana.
12Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu, naye ngʼenkomerero yaalyo kufa.
13Enseko zandibaawo naye ngʼomutima gujjudde ennaku, era nʼenkomerero yʼessanyu eyinza okufuuka obuyinike.
14Omuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olwʼebikolwa bye, nʼomuntu omulungi naye alisasulwa eyiye.
15Owʼamagezi amatono amala gakkiriza buli kigambo kyʼawulira, naye omuntu omutegeevu yeegendereza amakubo ge.
16Omuntu owʼamagezi atya Mukama nʼaleka okukola ebibi, naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza.
17Omuntu asunguwala amangu akola ebyʼobusirusiru, nʼomukalabakalaba akyayibwa.
18Abatalina magezi basikira butaliimu, naye abategeevu batikkirwa engule eyʼokumanya.
19Abakozi bʼebibi balivuunamira abatuukirivu, nʼaboonoonyi ne bavuunama mu miryango gyʼabatuukirivu.
20Omwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu, naye abagagga baba nʼemikwano mingi.
21Anyooma muliraanwa we akola kibi, naye alina omukisa oyo asaasira abaavu.
22Abateekateeka okukola ebibi, tebawaba? Naye okwagala nʼamazima binaabeeranga nʼabo abateesa okukola obulungi.
23Buli mulimu ogukolebwa nʼamaanyi gubaako amagoba, naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.
24Abagezi bafuna engule eyʼobugagga, naye obusirusiru bwʼabatalina magezi buzaala busirusiru.
25Omujulizi owʼamazima awonya obulamu bwʼabantu, naye omujulizi owʼobulimba aba mulimba.
26Atya Mukama alina ekiddukiro ekyʼamaanyi, era nʼabaana be balibeera nʼobuddukiro.
27Okutya Mukama ye nsulo yʼobulamu, kuleetera omuntu okwewala emitego gyʼokufa.
28Ekitiibwa kya kabaka kiri mu kuba nʼabantu bangi, naye omukulembeze ataba nʼabantu abeera mu kabi.
29Omuntu omugumiikiriza aba nʼokutegeera kungi, naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.
30Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu, naye obuggya buvunza amagumba ge.
31Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda, naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.
32Akacwano bwe kajja, omukozi wʼebibi agwa, naye omutuukirivu ne mu kufa aba nʼobuddukiro.
33Amagezi gabeera mu mutima gwʼomuntu alina okutegeera, era yeeyoleka ne mu basirusiru.
34Obutuukirivu buzimba eggwanga, naye ekibi kiswaza abantu abʼengeri zonna.
35Kabaka asanyukira omuddu akola ebyʼamagezi, naye obusungu bwa kabaka bunaabuubuukiranga ku oyo akola ebiswaza.