1Okuddamu nʼeggonjebwa kumalawo ekiruyi, naye ekigambo ekyʼobukambwe kisaanuula obusungu.
2Olulimi lwʼomugezi lwogera byʼamagezi, naye akamwa kʼabasirusiru kafukumula busirusiru bwereere.
3Amaaso ga Mukama galaba buli wantu, alaba abatuukirivu nʼabakozi bʼebibi.
4Olulimi oluzimba muti gwa bulamu, naye olulimi olulimba lubetenta omutima.
5Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe, naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.
6Mu nnyumba yʼomutuukirivu mubaamu obugagga bungi, naye omukozi wʼebibi byʼafuna, bimuleetera emitawaana.
7Akamwa kʼamagezi kabunyisa okumanya, naye omutima gwʼabasirusiru si bwe gukola.
8Ssaddaaka yʼaboonoonyi ya muzizo eri Mukama, naye okusaba kwʼabalongoofu lye ssanyu lye.
9Ekkubo lyʼomwonoonyi lya muzizo eri Mukama, naye Mukama ayagala oyo anoonya obutuukirivu.
10Oyo aleka ekkubo ettuufu alikangavvulwa nʼamaanyi, nʼoyo akyawa okunenyezebwa alifa.
11Okufa nʼokuzikirira biri mu maaso ga Mukama, nʼokulaba alaba nnyo emitima gyʼabaana bʼabantu!
12Omunyoomi tayagala kunenyezebwa, era teeyeebuuza ku bʼamagezi.
13Omutima omusanyufu guleeta essanyu ku maaso, naye omutima omunyiikaavu gunafuya emmeeme.
14Omutima omutegeevu gunoonya okumanya, naye akamwa kʼabasirusiru kalya busirusiru.
15Omuntu bwʼaba omunyiikaavu, buli kimu kimwononekera, naye omutima omusanyufu gujaguza buli kaseera.
16Okuba nʼakatono ngʼotya Mukama, kusinga okuba nʼebingi naye ngʼoli mu mitawaana.
17Okulya emmere ngeriko enva endiirwa awali okwagalana, kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.
18Omuntu asunguwala amangu asaanuula oluyombo, naye omugumiikiriza akakkanya embeera.
19Ekkubo lyʼomugayaavu lijjula amaggwa, naye ekkubo lyʼomutuukirivu golokofu.
20Omwana omugezi asanyusa kitaawe, naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.
21Obusirusiru ssanyu eri oyo atalina magezi, naye omuntu ategeera atambulira mu kkubo eggolokofu.
22Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa, naye awali abawi bʼamagezi abangi ziyitamu.
23Okuddamu obulungi kisanyusa, era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.
24Ekkubo eryʼobulamu liyimusa omugezi, ne limuziyiza okukka emagombe.
25Mukama azikiriza ennyumba yʼabʼamalala, kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.
26Enkwe za muzizo eri Mukama, naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa.
27Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana, naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.
28Omutima gwʼomutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula, naye akamwa kʼomwonoonyi kafubutula ebitasaana.
29Mukama ali wala nʼaboonoonyi, naye awulira okusaba kwʼabatuukirivu.
30Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima, nʼamawulire amalungi galeetera amagumba obulamu.
31Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu, alituula wamu nʼabagezi.
32Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka, naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.
33Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi, nʼobwetoowaze kye kitiibwa kyʼomuntu oyo.