Engero 16:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Omuntu ateekateeka byʼayagala okukola mu mutima gwe, Naye okuddamu kuva eri Mukama.

2Amakubo gʼomuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye, naye Mukama yʼapima ebigendererwa.

3Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama, naye anaatuukirizanga entegeka zo.

4Mukama buli kimu akikola ngʼalina ekigendererwa, nʼabakozi bʼebibi yʼabakolera olunaku lwe batuukibwako ebizibu.

5Buli muntu alina omutima ogwʼamalala wa muzizo eri Mukama; weewaawo talirema kubonerezebwa.

6Olwʼokwagala nʼolwʼobwesigwa, ekibi kisasulibwa, nʼokutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.

7Amakubo gʼomuntu bwe gaba gasanyusa Mukama, aleetera abalabe bʼomuntu oyo okubeera naye mu mirembe.

8Akatono akafune mu butuukirivu, kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.

9Omutima gwʼomuntu guteekateeka ekkubo lye, naye Mukama yʼaluŋŋamya bwʼanaatambula.

10Kabaka kyʼayogera kiba ngʼekiva eri Katonda, nʼakamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya.

11Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama, ebipimo byonna ebikozesebwa yʼabikola.

12Kya muzizo bakabaka okukola ebibi, kubanga entebe ye eyʼobwakabaka enywezebwa butuukirivu.

13Akamwa akogera ebyʼamazima bakabaka ke basanyukira, era baagala oyo ayogera amazima.

14Obusungu bwa kabaka buli ngʼababaka abaleese okufa, omusajja owʼamagezi alibukkakkanya.

15Kabaka bwʼasanyuka kireeta obulamu; nʼokuganza kwe, kuli nga ekire ekyʼenkuba[2] mu biseera ebya ttoggo.

16Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu, era nʼokufuna okutegeera kikira ffeeza!

17Ekkubo lyʼabagolokofu kwe kwewala ebibi, nʼoyo eyeekuuma mu kutambula kwe, awonya emmeeme ye.

18Amalala gakulembera okuzikirira, nʼomwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.

19Okubeera nʼomwoyo ogwetoowaza era nʼokubeera nʼabaavu, kisinga okugabana omunyago nʼabʼamalala.

20Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana, era alina omukisa oyo eyeesiga Mukama.

21Abalina emitima egyʼamagezi baliyitibwa bategeevu, nʼenjogera ennungi eyongera okuyamba okutegeera.

22Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina, naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa.

23Omutima gwʼomuntu owʼamagezi gumuwa enjogera ennungi, era akamwa ke kayigiriza abalala.

24Ebigambo ebirungi biri ngʼebisenge byʼomubisi gwʼenjuki, biwoomera emmeeme, ne biwonya nʼamagumba.

25Wabaawo ekkubo erirabika ngʼettuufu eri omuntu, naye ku nkomerero limutuusa mu kufa.

26Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola nʼamaanyi, kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola.

27Omuntu omusirusiru ategeka okukola ebitali bya butuukirivu, era nʼebigambo bye, biri ngʼomuliro ogwokya ennyo.

28Omuntu omubambaavu asiikuula entalo, nʼowʼolugambo ayawukanya abʼomukwano enfirabulago.

29Omuntu omukyamu asendasenda muliraanwa we nʼamutwala mu kkubo eritali ttuufu.

30Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona, nʼoyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi.

31Omutwe ogwʼenvi ngule ya kitiibwa, gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.

32Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi, nʼoyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.

33Akalulu kayinza okukubibwa, naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>