Engero 17:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Okulya akamere akaluma awali emirembe, kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.

2Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi, era alifuna ebyobusika ngʼomu ku baana bʼawaka.

3Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, nʼekikoomi kyʼokulongoosa lwa zaabu, naye Mukama agezesa emitima.

4Omubi assaayo omwoyo eri ebyʼobulimba, era nʼomulimba awuliriza olulimi olukuusa.

5Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda, nʼoyo asanyukira obuyinike bwʼabalala talirema kubonerezebwa.

6Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe, era nʼabaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.

7Enjogerannungi teba ya musirusiru, ngʼoweekitiibwa bwʼatasaana kwogera bya bulimba.

8Enguzi eri ngʼejjinja eryʼomufuusa mu maaso gʼoyo agigaba, alowooza nti buli gyʼakyukira eneemuyamba.

9Okwagala tekulondoola nsobi, naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya abʼomukwano enfirabulago.

10Okunenya kuyamba nnyo omuntu ategeera, okusinga okukuba omusirusiru embooko ekikumi.

11Omukozi wʼebibi anoonya bujeemu bwereere, era kyaliva asindikirwa omubaka omukambwe.

12Okusisinkana eddubu enyagiddwako abaana baayo, kisinga okusisinkana omusirusiru mu busirusiru bwe.

13Omuntu bwʼasasula ekibi olwʼobulungi, ekibi tekiriva mu nnyumba ye.

14Okutandika oluyombo kuli ngʼomuntu bwʼasumulula omudumu gwʼamazzi, noolwekyo vvaawo ngʼoluyombo terunnatandika.

15Eyejjeereza omukozi wʼebibi nʼoyo avumirira omutuukirivu, bombi ba muzizo eri Mukama.

16Omusirusiru agasibwa ki okuba ne ssente ezisasulibwa amagezi, ngʼate ye talina mutima gwegomba magezi?

17Omukwano ogwʼamagezi guba gwa lubeerera, era owooluganda yeesigibwa mu biro ebyʼennaku.

18Omuntu atalina magezi awa obweyamo ne yeetema okusasula amabanja ga muliraanwa we.

19Oyo ayagala ekibi anyumirwa ennyombo, nʼoyo akola omulyango omunene ogwʼomu maaso gwa bbugwe ye nga guyitiridde obunene gulimuteganya nnyo.

20Omuntu owʼomutima omubambaavu takulaakulana, nʼoyo owʼolulimi olulimba agwa mu katyabaga.

21Omwana omusirusiru aleetera kitaawe obuyinike, kitaawe wʼomusirusiru taba na ssanyu.

22Omutima ogwʼessanyu ddagala ddungi, naye omwoyo omunyiikaavu gukozza omubiri.

23Omuntu omubi alya enguzi mu kyama, alyoke aziyize amazima okweyoleka.

24Omuntu omutegeevu, ebirowoozo abissa eri amagezi, naye amaaso gʼomusirusiru gasamaalirira ensi gyʼekoma.

25Omwana omusirusiru buyinike eri kitaawe, era aleeta ennaku eri nnyina eyamuzaala.

26Si kirungi okuweesa omutuukirivu engassi eyʼobwereere wadde okukuba abʼekitiibwa embooko olwʼobwesimbu bwabwe.

27Omuntu omwegendereza mu bigambo bye abeera nʼokutegeera, nʼoyo alina omwoyo omuteefu aba muntu wa magezi.

28Omusirusiru bwʼasirika alowoozebwa okuba nʼamugezi, era aba mutegeevu bwʼafuga akamwa ke.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>