1Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka, era tawuliriza magezi gamuweebwa.
2Omusirusiru tasanyukira kutegeera, kyʼasanyukira kyokka kwe kwogera byʼalowooza.
3Okukola ekibi bwe kujja nʼokunyooma kujjirako, era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.
4Ebigambo byʼomu kamwa kʼomuntu mazzi ga buziba, naye ensulo eyʼamagezi mugga ogukulukuta.
5Si kirungi kuttira mubi ku liiso, oba okusaliriza omutuukirivu.
6Akamwa kʼomusirusiru kamuleetera entalo era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.
7Akamwa kʼomusirusiru ke kamuleetera okuzikirira, era nʼemimwa gye mutego eri emmeeme ye.
8Ebigambo byʼomuntu ageya biri ngʼemmere ewoomerera, bigenda mu bitundu byʼomubiri ebyʼewala.
9Omuntu omugayaavu mu mirimu gyʼakola, waluganda nʼoyo azikiriza.
10Erinnya lya Mukama kigo kyʼamaanyi, omutuukirivu addukira omwo nʼafuna emirembe.
11Obugagga bwʼomugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe owʼamaanyi, era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.
12Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.
13Oyo addamu amangu mu nsonga gyʼateetegerezza, buba busirusiru bwe era buswavu.
14Omwoyo gwʼomuntu gumuwanirira mu bulwadde, naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?
15Omutima gwʼomwegendereza guyiga okumanya, amatu gʼomuntu omugezi gawuliriza.
16Ekirabo kyʼomuntu kimuseguliza, era kimutuusa ne mu maaso gʼabeekitiibwa.
17Asooka okweyogerako yʼafaanana ngʼomutuufu, okutuusa omulala lwʼamubuuza ebibuuzo.
18Okukuba akalulu kimalawo empaka, era kisalawo eggoye wakati wʼabawakana abʼamaanyi.
19Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe owʼamaanyi, okusinga okukomyawo owooluganda anyiize, era ennyombo ziba ngʼempagi zʼekigo.
20Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke; ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.
21Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era nʼabo abalwagala balirya ebibala byalwo.
22Azuula omukazi omulungi owʼokuwasa aba azudde ekirungi, era aganja eri Mukama.
23Omwavu yeegayirira, naye omugagga addamu na bbogo.
24Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira, naye wabaawo owʼomukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.