Engero 19:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga akamwa akʼomusirusiru akaweebuula.

2Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya, nʼokwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.

3Obusirusiru bwʼomuntu bwe bwonoona obulamu bwe, kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.

4Obugagga buleeta emikwano mingi, naye emikwano gyʼomwavu gimuddukako.

5Omujulizi owʼobulimba talirema kubonerezebwa, era oyo ayogera ebyʼobulimba taliba na buddukiro.

6Bangi banoonya okuganja mu maaso gʼomufuzi, era buli muntu aba mukwano gwʼoyo agaba ebirabo.

7Baganda bʼomwavu bonna bamwewala, mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala? Wadde abagoberera ngʼabeegayirira, naye tabalaba.

8Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye, nʼoyo asanyukira okutegeera, akulaakulana.

9Omujulizi owʼobulimba talirema kubonerezebwa, nʼoyo ayogera ebyʼobulimba alizikirira.

10Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya, kale kiwulikika kitya ngʼomuddu afuga abalangira?

11Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala, era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.

12Obusungu bwa kabaka buli ngʼokuwuluguma kwʼempologoma, naye ekisa kye kiri ngʼomusulo ku ssubi.

13Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira, nʼomukazi omuyombi ali ngʼenkuba etonnya olutata.

14Ennyumba nʼobugagga bisikirwa okuva ku bazadde, naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

15Obugayaavu buleeta otulo tungi, nʼomuntu atakola mirimu alirumwa enjala.

16Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe, naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa.

17Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olwʼekikolwa kye ekyo.

18Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi, oleme kumuwaayo mu kuzikirira.

19Omuntu omukambwe ennyo alisasula ebiriva mu bukambwe bwe, kubanga ne bwʼomununula ogusooka era oteekwa okukiddiŋŋaana.

20Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa, oluvannyuma lwa byonna oliba nʼamagezi.

21Enteekateeka zʼomuntu ziba nnyingi mu mutima gwe; byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.

22Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo, okuba omwavu kisinga okuba omulimba.

23Okutya Mukama kutuusa mu bulamu; olwo omuntu nʼawummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.

24Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya, nʼatagukomyawo nate ku mumwa gwe.

25Kangavvula omunyoomi, abatamanyi bayigire ku ye, buulirira ategeera, ajja kweyongera okutegeera.

26Omwana abba ebya kitaawe nʼagobaganya ne nnyina, aleeta obuswavu nʼobuyinike.

27Mwana wange konoolekayo okuyigirizibwa, onoowaba okuva ku bigambo byʼokumanya.

28Omujulizi omulimba atyoboola ensala eyʼamazima, nʼakamwa kʼababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu.

29Ebibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi, nʼembooko zaakolebwa lwa migongo gyʼabasirusiru.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>