Engero 2:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Mwana wange, bwʼonookwatanga ebigambo byange, nʼotereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,

2era nʼossaayo omwoyo eri amagezi, era nʼossa omutima gwo eri okutegeera,

3ddala ddala singa oyaayaanira okumanya era nʼoyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,

4bwʼonooganoonyanga nga ffeeza, era nʼoganoonyanga ngʼekyobugagga ekyakwekebwa,

5awo wʼolitegeerera okutya Mukama, era nʼovumbula okumanya Katonda.

6Kubanga Mukama awa amagezi; era mu kamwa ke muvaamu okumanya nʼokutegeera.

7Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi, era aba ngabo yʼabo abatambulira mu bugolokofu.

8Abatambuliza mu makubo agʼobwenkanya, era bwʼatyo Mukama akuuma ekkubo lyʼabatukuvu be.

9Olwo lwʼolitegeera obutuukirivu, amazima nʼobwenkanya; weewaawo buli kkubo eddungi.

10Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo, nʼokumanya kulisanyusa omwoyo gwo.

11Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga nʼokutegeera kunaakukuumanga:

12Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo lyʼomubi, nʼabantu aboogera ebyʼobugwagwa,

13abaleka amakubo agʼobutuukirivu ne batambulira mu makubo agʼekizikiza,

14abasanyukira okukola ebikolwa ebibi, abanyumirwa ebyʼobusirusiru,

15abantu abo be bʼamakubo amakyamu, era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.

16Amagezi Mukama gʼawa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo lyʼomukazi omwenzi, nʼokukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,

17eyaleka bba owʼomu buvubuka bwe era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.

18Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa, nʼamakubo ge galaga eri abafu.

19Tewali nʼomu agenda ewuwe adda wadde okufunirayo amakubo gʼobulamu.

20Kale tambuliranga mu kkubo lyʼabo abatya Katonda era onywerere mu makubo gʼabatuukirivu.

21Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi, era abo abagolokofu baligisigalamu.

22Naye abakozi bʼebibi balifiirwa ebirungi ebyʼensi, nʼabatali beesigwa balizikirizibwa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.