1Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi, era buli alaga mu kkubo ekyamu olwʼebyo talina magezi.
2Obusungu bwa kabaka buli ngʼokuwuluguma kwʼempologoma, nʼoyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.
3Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo, naye buli musirusiru ayagala okuyomba.
4Omugayaavu talima mu budde butuufu, kyanaavanga anoonya ebyʼamakungula nga talina kantu.
5Ebigendererwa ebiba mu mutima gwʼomuntu biba ngʼamazzi agʼebuziba, naye omuntu alina okutegeera alibiggyayo.
6Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo, naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?
7Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa; ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.
8Kabaka bwʼatuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka ngʼasala emisango, amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.
9Ani ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange, ndi mulongoofu era sirina kibi?”
10Ebipima obuzito ebitatuuka nʼebigera ebikyamu, byombi bya muzizo eri Mukama.
11Omuvubuka naye amanyibwa olwʼebikolwa bye, obanga birongoofu era nga birungi.
12Okutu okuwulira nʼeriiso eriraba byombi Mukama ye yʼabikola.
13Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala, tunula, obeerenga nʼebyokulya bingi.
14“Si kirungi, si kirungi,” bwʼayogera agula; naye bwʼagenda nʼalyoka yeenyumiririza mu kyʼaguze.
15Zaabu nʼamayinja agʼomuwendo weebiri, naye emimwa egyogera ebyʼamagezi kye kyʼomuwendo ekisingako.
16Omuntu bwʼaleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gwʼatamanyi, kitwalire ddala, na ddala bwʼabanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.
17Emmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya, naye emufuukira amayinja mu kamwa.
18Kola entegeka nga weebuuza ku magezi, bwʼoba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.
19Oyo agenda ngʼasaasaanya olugambo abotola ebyama, noolwekyo weewale omuntu ayogerayogera ennyo ebitaliimu.
20Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina, ettabaaza ye erizikizibwa nʼasigala mu kizikiza ekikutte ennyo.
21Ebyʼobusika ebifune ngʼekiseera kyabyo tekinnatuuka, ku nkomerero tebiba na mukisa.
22Toyogera nti, “Nzija kukusasula olwʼekibi kino!” Lindirira Mukama alikuyamba.
23Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama, ne minzaani ezʼobulimba tezisanyusa.
24Amakubo gʼomuntu gategekebwa Mukama, omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?
25Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama, naye oluvannyuma nʼafumiitiriza ku bye yeeyamye.
26Kabaka omugezi asengejja nʼaggyamu abakozi bʼebibi, nʼababonereza awatali kusaasira.
27Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gwʼomuntu, nʼenoonya mu bitundu ebyʼomunda ennyo.
28Okwagala nʼobwesigwa bikuuma kabaka mu butebenkevu, era obufuzi bwe bunywezebwa na kwagala.
29Amaanyi kye kitiibwa kyʼabavubuka, envi kye kitiibwa kyʼabakadde.
30Emiggo nʼebiwundu biggyawo ebibi, nʼembooko zitereeza ebifo ebyʼomunda ennyo.